Ebiramu Eby’enjawulo

Ekigambo, ebiramu eby’enjawulo kisobola okunnyonnyolwa mu makulu agaawamu nga obungi n'obuzaazi bw'obulamu ku Ssengendo Ssensi.

Emu ku nnyinyonnyola ezisinga okukozesebwa y’eraga enjawulo wakati w'ebika by'ebitonde eby'enjawulo, enjawulo eri mu kika ky'ebitonde ekimu, wamu n'eyo ebaawo wakati w'ebibinja by'ebitonde by'enjawulo ebiri mu butonde obutwetoolodde. Kino kisobola okutusongera ku njawulo mu butoffaali obw'emibiri gy'ebitonde eby'enjawulo, wamu n'enjawulo mu butonde bwabyo mu kitundu ekimu. Obungi bw'obulamu obw'olukalu bulabikira nnyo ku lukuubo mwabuluzansi olwa Equator olw'ensonga nti waliwo embeera y'obudde ebuguma esobozesa ebimera okukyusa ebirungo by'obutonde ebiva mu byo okusobola okukola emmere eyaabyo. Kino kirabikira mu bitundu omuli obutonde obwa kiragala. Bwo obungi bw'obulamu obw'oku mazzi bulabikira ku lubalama lw'obugwanjuba bw’eriyanja Pacific kubanga ebbugumu kungulu kw'amazzi gaakyo lingi nnyo. Obungi bw'obulamu bulabikira nnyo mu bitundu ebibeeramu ebbugumu okusinga ebirala wabula nga kino kiteeberezebwa okugenda nga kikyuka emyaka egijja.

Omuwendo n'ebika by'ebirime, ebisolo n'ebitonde ebirala kye kiyitibwa obungi bw'obulamu. Ebintu bino bya mugaso nnyo eri obulamu bw'omuntu, nga bimulabirira n'emmere, enku, ebikozesebwa okuzimba amayumba, eddagala n'ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo ebirala. Obungi bw'obulamu mu kitundu businziira ku mbeera y'obudde eri mu kitundu ekyo. Ebiramu byawulwamu ebiti bibiri okuli: ebimera n'ebisolo. Ebika by'ebimera ebimanyiddwa mu kiseera kino biri emitwalo musanvu (70,000), ate nga mu bisolo (fauna) tulinamu ebika nga: eby'ennyanja, ebinyonyi, ensolo ezirina ezizaala abaana, ebiwuka, amayanzi n'ebirala. Enkyukakyuka z'obudde eziyitiridde zireetedde ebiramu bingi okusaanawo era ng'ebitundu 99% n'okusoba eby'ebika by'ebiramu ebyali ku nsi kuno ebiwerera ddala obuwumbi butaano byasaanawo dda. Okuteebereza kulaga nti ebika by'ebiramu ebiri ku nsi mu kiseera kino biri wakati w'obukadde ekkumi n'ekkumi n'obuna (10-14) wabula nga ku bino akakadde kamu n'emitwalo abiri bye byakassibwa mu buwandiike ate nga 86% tebimanyiddwa. Gye buvuddeko mu mwezi Gwokutaano omwaka 2016, bannassaayansi baakola okunoonyereza ne bafulumya alipoota eyalaga nti akatabalika kalamba ak'ebika by'ebiramu ke kasuubirwa okubeera ku nsi. Sseŋŋendo Ssensi agambibwa okuba ng’awangadde emyaka obuwumbi buna n’obukadde ataano mu buna era ng’ewaniridde obulamu okumala ebbanga lya myaka obuwumbi busatu n’obukadde butaano okusinziira ku kunoonyereza okwasookera ddala ate nga tekukyukanga. Okusinziira ku omu ku banoonyereza agamba nti “Singa obulamu bwawanirirwa mu bwangu ku Ssengendo Ssensi….olwo bwalibadde kuli ssengendo okwetoloola ensi yonna.” Okuva lwe kiri nti obulamu bwatandikira ku Ssengedo Ssensi, okusaanawo okwamaanyi kwa mirundi etaano n’obulala obutonotono bye biviiriddeko omuwendo gw’ebiramu ebiri ku nsi okugwa mu ngeri ey’ekibwatukira. Ekiseera okuva omuntu lwe yatandika okubeera ku nsi kikendeezezza nnyo ku bika by’ebiramu eby’enjawulo. Kino kiyitibwa okusaanyizibwawo okw’omulundi ogw’omukaaga okuleetebwawo okubeerawo kw’omuntu n’okusingira ddala mu kusaanyaawo amaka g’ebiramu eby’enjawulo. Ku ludda olulala ebiramu eby’enjawulo nabyo birina engeri gye bikyusaamu obulamu bw’omuntu mu ngeri ennungi oba embi. Okwetoloola ensi yonna, obungi bw’ebiramu ne gye bigasiza okubeerawo kw’omuntu kifuuse eky’okuteesaako eri bannabyabufuzi oluvannyuma lwa bannassaayansi okuvaayo okulaga nti embeera y’ebyobulamu okwetoloola wonna mu nsi ekosezza ebiramu eby’enjawulo ku nsi. Ensonga eno era teyawukana nnyo na nkyukakyuka mu mbeera ya budde, ng’obulabe bungi mu mbeera z’obulamu obuva ku nkyukakyuka eno era nga buleetawo enkukakyuka mu bitonde ebiri ku nsi. Kino kijjawo olw’enonga nti ebiramu ebisobola okutangira endwadde ez’omutawaana okutuukira ku bantu bifa ne wasigalawo ebyongera okusasaanyaawo endwadde okugeza akawuka ak’omu bitundu eby’omu bugwanjuba bw’omugga Kiyira. Obwetaavu n’ebbula ly’amazzi aganywebwa ku Ssengendo Ssensi byongera okulaga okusomooza okutwolekedde mu biseera ebijja mu nsonga z’obulamu bwaffe. Ekizibu kino ekimu ku bikireeseewo be bantu abasaasaanya amazzi okweyongera kyokka ng’ate tebasobola kukuuma bifo gye baggya na kukuumira mazzi ago. Newankubadde nga waliwo ebitundu ebifuna amazzi amayonjo, wabula wakyaliwo ebitundu ebitalina mukisa guno. Okusinziira ku kiwandiiko ky’ensi yonna ekya 2008, ebitundu 62% byokka waakiri bye bisobola okufuna amazzi amayonjo.

Obungi bw’obulamu, eby’obusuubuzi n’amakolero

Amakolero mangi ebintu bye gakozesa bisibuka butereevu mu butonde. Muno mulimu ebikozesebwa mu kuzimba, ebigoogwa, langi, amasanda (rubber) ne “oil”. Ebiramu eby’enjawulo era bya mugaso nnyo mu kukuuma amazzi, okutuwa embaawo, empapula n’emmere. Noolwekyo okukendeeza ebiramu ebyo mu nsi buba bulabe bw’amaanyi ku nkulaakulana y’obusuubuzi era nga kya kusomooza eri kinene eri eri ebyenfuna. Mu mwaka gwa 2006 ebika by’ebitonde bingi byali bitwalibwa okuba nga bya bbula nga bannassayansi bangi baakiteebereza okuba ng’obukadde bw’ebika by’ebiramu bungi buli mu katyabaga akabadde k’okusaanyizibwawo akaali katannaba kuzuulibwa. Jared Diamond kino akinnyonnyola nga “Evil Quartet” omuli okwonoona okususse, okutta ennyo, n’okusanyaawo okw’eddaala ery’okubiri. Ate ye Edward O Wilson naye atulaga ebintu kumpi bye bimu ng’ebya Diamond.

Ebifo ebikuumibwa

  1. Amakuumiro g’ebisolo ag’eggwanga
  2. Amabudamizo g’ebisolo eby’omu nsiko.
  3. Ebitundu eby’ebibira.

Ebirina okukolebwa okukuuma ebibira

  1. Enkola ey’okusimba emiti erina okussibwamu amaanyi.
  2. Okutema amakubo amalala ag’okufunamu eby’okufumbisa ebitakosa butonde bwa nsi.
  3. Okusala amagezi ag’okuziyiza ebibira okukwata omuliro kubanga kisaanyaawo ebintu bingi ebirina obulamu nga bya mu kibira.
  4. Okuziyiza okulundira ente ku ttaka okumala ebbanga eddene mu kifo ekimu.
  5. Okuwera okuyigga ensolo wamu n’okuzitta olw’okubifunako ebintu ng’amaliba, amayembe n’ebirala.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Endwadde y’omutimaKibalirampuyibbiri(Integers)MbogoBrasilThe mithOlujjuliroYisaaka NetoniEquatorial GuineaAlex MukuluOBWAVU N’OKUNONNYEREZA KU BIBUFAAKO MU BYALO MU’ ENKULAAKULANA EYA NAMADDALAEntababimira (vegetation)OsakaPeace MutuuzoLiberiyaOlukangaga lw'amalwaliro mu UgandaLatviaEnnandaCatherine NanziriENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBAEssomero lya Rubaga CommunityObuwakatirwaOtema AllimadiMichael EzraGambiaZiria Tibalwa WaakoBukiikaddyoEssomabuzaaleAmelia KyambaddeNigerEkikataOmusujja gw'ensiriHenry Oryem OkelloKabambaEthiopiaEkimuliPhysicsFort PortalKookolo w’omu lubutoBarbie KyagulanyiEkibanduso (A Primer of Change)EkitangaalaMuteesa I of BugandaEkirembewazo n'ekirembewazi(Police Department and Police Station)Katunguru, YugandaLungerezaOkuyimba mu UgandaOlupapula OlusookaEritreaPeruJoel SsenyonyiMolingaDjiboutiSiriimuAkafuba bulwaddeNigeriaMbazziOmulangiriziBurkina Faso🡆 More