Sylver Kyagulanyi: Munnayuganda Omuyimbi

  Sylver Kyagulanyi MunnaYuganda omuyimbi , mufulumya wa nnyimba, muwandiisi era Munna mateeka.

Y'omu ku bawandiisi bennyimba abaatiikirivu mu Yuganda mu myaka mu myaka kkumi egiyise.

Mu 2019, Y'omu ku Bawolereza b'amateeka 144 abeewandiisa nga Bannamateeka mu Kkooti Enkulu mu Kampala, Yuganda. Yatikkirwa ne Dipuloma mu kutendekebwa mu mateeka nga yasomera mu Law Development Centre (LDC) mu 2018.

Obuto bwe n'okusoma kwe.

Kyagulanyi yasomera ku Seminaaliyo y'abato eya Nswanjere Junior Seminary gye yamalira ekibiina Eky'omusanvu. Siniya yagisomera ku Kisubi Seminary ne St Charles Lwangwa Secondary School. Yayingizibwa ku Ssettendekero wa Makerere okusoma Eby'amawulire by'ataakola naasalawo akole Diguli mu Ngennyimba, Amazima nekatemba era naalondawo essira alisse ku bya nnyimba.

Okuyimba kwe

Okuyimba yakutandika akyali mu Kkwaya ya Christ the King mweyayimbiranga soprano ku ntandikwa y'emyaka gya Lukumi mu Lwenda Kyenda(1990s). Ng'ali mu Siniya ey'okusatu, oluyimba lwe lw'awangula mu Kijaguzo Kya Youth Alive National Music Festival ekyaliwo mu 1995. Oluvannyuma lw'okuwangula okwo, Kyagulanyi yagenda mu maaso nookukuza ekitone kye. Ng'ali mu luwummula lwe oluwanvu oluvannyuma lw'okumaliriza Siniya ey'omukaaga mu 1999, yafulumya oluyimba oluyitibwa "Ekyasa Kyabakyala", oluyimba olukwata ku kutumbula eddembe ly'abakyala, olwamutumbula ennyo. Ng'ali ku Ssetendekero e Makerere, Kyagulanyi yakola era n'afulumya olutabi oluyitibwa "Omuzadde Katonda", olwakyusiza ddala obulamu bwe. Okubeera kwe Omukirisitu kweyolekera mu nnyimba ze ezimu nga, Katonda Gwe nsinza, Olunaku luno ne Tondeka Mukama, olukwata ku myoyo gy'abawagizi be.

Ennyimba ze

  • Ekisa kyabakyala
  • Omuzadde Katonda
  • Abaana bo
  • Okusiima
  • Tebalemwa maka
  • Olunaku luno
  • Nkuuma
  • Guma

Ebijuliziddwa

Ebijuliziddwa okuva wabweru wa Wikipediya

Tags:

Sylver Kyagulanyi Obuto bwe nokusoma kwe.Sylver Kyagulanyi Okuyimba kweSylver Kyagulanyi Ennyimba zeSylver Kyagulanyi EbijuliziddwaSylver Kyagulanyi Ebijuliziddwa okuva wabweru wa WikipediyaSylver Kyagulanyien:Advocateen:Demographics of Ugandaen:Music of Ugandaen:Record produceren:Songwriter

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Ensengeka edda waggulu(ascending order)Judith Peace AchanEppaapaaliMuteesa I of BugandaAchia RemegioAmaanyiNakasigirwaLawrence MulindwaIrene Ovonji-OdidaMulyangogumuEbirwaza(Diseases)EDAGALA LY'AMANNYI G'EKISAJJA ERYEKINANSIParisNigerYisaaka NetoniBufalansaJosephine OkotObulemu ku maasoWashington County, MissouriKampalaKatongaRonald ReaganLumonde awusseEmmere gyoowa ebisolo n’ EbiriisaJackie SenyonjoPaul HasuleOmwoloolaOKULUNDA EBYENYANJAMooskoOkukola ebyotoOKULUNDA EKOOKO ENANSI NENZIJAJABATtiimu ya Vipers SCEmbu z'EbigamboMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBAAbantuMauritiusBernadette OlowoYoweri MuseveniObuyuteObuwangaaliro obw'Obutonde(the natural environment)Philippa Ngaju MakaboreJackson County, GeorgiaEbyobulimi mu UgandaObuwakatirwaNamungina z'ebipimoEngozo n'Engolo(Cams and Cranks)BubirigiMoses Magogo HassimMeriwether County, GeorgiaEnvaOkulamusaLibyaBulaayaSusan Nalugwa KiguliObuufu oba Obuyitiro (Mathematical Locus)Amasoboza ag'amasannyalazeOkuwugaBujuukoEkitangaalaBuliisa (disitulikit)MoroccoAbantu abasinga tebamanyi mugaso gwa ntobaziEddagala erigema olukusenseIShowSpeedOmwesoOkuwangaala mu LugandaAlgeriaJustine Lumumba Kasule🡆 More