Sandra Nankoma

Sandra Nankoma, yali amanyiddwa nga Sandy Soul, munnayugandan akwata ennyimba ku butambi.

muwandiisi wa nnyimba, ateekateeka azannya katemba era ayimba ekika kya myuziki ayitibwa Afro-soul ne jazz. Amanyiddwa nnyo olw'oluyimba lwa Kaddugala okuva ku lutambi lwe olwasooka oluyitibwa Ye'nze bwe yangula engule ya AFRIMA y'omuyimbi omukyala asinze okuba n'oluyimba olukwata ku bantu mu 2018.

Sandra Nankoma
Obuzaale 27 Ogwekkuminogumu 1988 (myaka 33)

Disitulikiti y'e Mukono, Uganda

Omulimu Muyimbi, Muwandiisi wa nnyimba, ate muzannyi wa mizannyo
Omwagalwa Benjamin Lepez
Abazadde Samuel Wamubirigwe, Mary Nankinga
Omulimu gw'okuyimba
Ekika ky'ennyimba
Emyaka gy'amaze ng'akola 2013 okutuusa kati
Ekibiina mw'ayimbira Yeekozesa
Ekibanja www.nankomasandra.com

Emirimu

Nankoma yatandika okuyimba kw'ensimbi mu 2013. Yayimba ku mukolo gwa Bayimba Festival n'akooka oluyimba olwa hop lwe yayimba ne Sylvester Kabombo , "Fumbiro". Oluvannyuma lw'oluyimba lwe ng'ali yekka, akutte ennyimba endala nnyingi nnyo ku ntambi nga kuliko, Kaddugala, Musaiza Wei'ka, Babylon, ne Mercedes era lwalabikira ku RNW ‘oluyimba lwange ku pulogulaamu ya YouTube.

Sandra Nankoma yalambula Uganda era yayimba ku mikolo mingi nnyo egy'enjawulo okuli Bayimba Festival of the Arts Milege World Music Festival ogwategekebwa Milege, Pearl Rhythm Festival, World Music Day celebrations.

Mu 2014, Nankoma yakola bbandi, eyakolanga nga Sandy Soul. Nga Sandy Soul, Nankoma yalambula Africa, yayimba mu bibuga okuli Nairobi, Arusha, Abidjan, Kigali era yakolayo ekivvulu mu Paris e Bufaransa. Mu 2016, yayimba mu kivvulu kya MASA Arts mu Ivory Coast, nga ekitundu ku Afroman Spice, yatandikawo ssweeta ey'abakyala. Kampeyini ya Afroman Spice yali yaakukyusa ggwanga, era yaluubiriramu okulwanirira eddembe ly'abakyala. Omwaka ogwo gwennyini yayimba mu kivvulu kya Ubumuntu and at the Kigali Up Festival as Sandy Soul.

Mu 2017 Nankoma yatwala bbandi ye eya Soul Train mu Nairobi n'atandika okuyimbira eyo. Ayimbye n'abayimbi bangi okuva mu South Africa, bukiika ddyo, buvanjuba n'obugwa njuba bwa Africa okuli Jojo Abot (Ghana), Blinky Bill (Kenya), Jackie Manyelope, Prisca Ojwang and DJ Kampire. Sandra Nankoma era yali muwanguzi w'engule ya Visa Pour La Creation ku mukolo okwali abayimbi okuva mu Africa ne Latino America.

Mu 2018, yafulumya Alubaamu ye eyasooka eyitibwa Ye'nze eyakwatibwa era n'efulumizibwa mu Uganda ne France. Kaddugala (ekivvunulwa nti Melanin), lwafulumizibwa ng'oluyimba olulwanirira abawala abaddugavu naddala okuvumirira abo abaali befumba era lwalondebwa okuvuganya ku ngule ya AFRIMAS mu 2018 'All Africa Music Awards' AFRIMA 2018. Ye'nze era lwawangulira Nankoma engule ya AFRIMA omukyala asinze okuyimba oluyimba olulimu obubaka bw'okuzaamu essuubi mu Africa. Nankoma yatandika okulambula ensi n'oluyimba lwe olwo Ye'nze mu 2018.

Nga munnakatemba

Nankoma yazannyira mu ssweeta eziwerako ng'akola emizannyo wamu n'okuyimba. Yali omu ku baatandikawo ekibiina kya Afroman Spice, ekirwanirira eddembe ly'abakyala ne munne Rashida Namulondo wamu ne Linda Nabasa. Ekibiina kino ky'atandika okuzannya emizannyo n'okuyimba nga kijjayo obubaka n'emiramwa omuli ebizibu ebiruma Uganda ne Africa okutwaliza awamu. Bbandi ya Nankoma eya band Sandy Soul yayimba n'ebibiina ebirala mu Uganda, Kenya ne Ivory Coast.

Obulamu bwe n'okulwanirira eddembe ly'obuntu

Sandra Nakoma yazaalibwa era n'akulira mu Disitulikiti y'e Mukono mu Buganda. Olw'okuba yali muddugavu kagongolo, yakolebwangako efujjo ku ssomero era okuva olwo yatandikawo kaweefube w'okulwanirira obusosoze mu laangi n'oluyimba lwe Kaddugala olwakola ennyo okulwanirira abakyala abaali basingaana obuzibu nga buno obw'okusosolebwa. Nankoma yasomera ku Ssentekero wa Uganda Christian University e Mukono, gye yafunira ddiguli mu by'emisono wabula ng'okusinga essira yaliteeka mu bibajje.

Ennyimba

Engule z'awangudde

  • Visa Pour La Creation by Institute Francaise France 2017 (Yawangula
  • AFRIMA Award for Best Female Artist in African Inspirational Music 2018 (Yawangula)
  • AFRIMA engule y'omukyala asinze bu buvanjuba bwa Africa mu 2018 (yalondebwa)

Ebijuliziddwa

Emikutu gya yintaneeti

Tags:

Sandra Nankoma EmirimuSandra Nankoma Nga munnakatembaSandra Nankoma Obulamu bwe nokulwanirira eddembe lyobuntuSandra Nankoma EnnyimbaSandra Nankoma Engule zawanguddeSandra Nankoma EbijuliziddwaSandra Nankoma Emikutu gya yintaneetiSandra Nankomaen:All Africa Music Awards

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

OMUSUIan WrightTunisiaBawala ba Maria, Bannabikira bwandaOKULUNDA EKOOKO ENANSI NENZIJAJABABulaayaBuddoAisa Black AgabaLugajambula (Predator)OKULUNDA EBYENYANJANigeriaApollo MakubuyaNnyaNzikiriza ey'eNiceaJustine NabbosaSheebah KarungiLuganda - Lungeleza dictionaryMbazziKatongaEsther Mayambala KisaakyeEritreaMulyangogumuRema NamakulaBernadette OlowoNamungina z'ebipimoOkulamusaZambiaEbyobuzimbeAligebbulaRonald ReaganEkibazamukisa(Probability)Donald TrumpBuliisa (disitulikit)AmaanyiPayisoggolaasiObulwadde bw’ekiwangaOkugajambula(Predation)Okusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)PpookinoAluminiyamuCleopatra KoheirweBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abeddaRosemary SenindeOLWEZAEkigaji ddagalaEsigalyakagoloChileTororo (disitulikit)Lumonde owa Kipapaali mulime owonnya obwavuObuwakatirwaIsilandiBbuulweOkwagala(Love)ParisPowell County, KentuckyAchia RemegioForceMustafa Ishaq BoushakiChadPhyllis ChemutaiSalim SalehSsekalowooleza Matayo Kisuule OmubunduLangiEmpalirizo(Force)Katie Kibuka🡆 More