Maggie Kigozi

 

Margaret Blick Kigozi, gwebsinga okumannya nga Maggie Kigozi, Munayuganda omusawo ajanjaba abantu, eyeebuzibwako mu bya bizineensi ng'era mukyala mu nabyamizannyo.Yeebuzibwaako mu kitongole ky'amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku by'enkulakulana by'amakolero. Yaliko akulira ekitongole ekikwasaganya bamusiga nsiimbi mu Uganda, okuva mu 1999, okutuuka mu 2011. s

Obulamu bwe

Yazaalibwa nga amannye ge ye Margaret Blick mu Fort Portal, nga kitaawe yeeyali George William Blick, eyali yinginiya nadala mu by'okuzimba ne Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku by'emirimu n'eby'entambula nga Molly Johnson Blick yeeyali maama eyali akola ku by'emisono gy'abantu. Bazadde bbe bombi baalina bataata baabwe nga bazungu, ng'ate banyaabwe baali baganda. Kitaawe ne baganda bbe baali ba kafulu era bakyampiyoni mu kuvuga piki piki z'empaka mu Uganda wamu ne mu Buvanjuba bwa Afrika mu myaka gya 1960 wamu ne 1970. Margaret naye mwenyini yalina okwagala mu kuvuga piki piki. Yasomerako ku Aga Khan Primary School erisinganibwa mu Kampala, Gayaza High School mu Disitulikiti ye Wakiso gyeyatuulira S4, wamu ne Kololo Senior Secondary School, mu Kampala gyeyamalira S6. mU 1970, nga tanaba kuweza myaka 20, yayingira Yunivasite y'e Makerere kusomero gyebayigiriza obusawo, nebamutikira mu 1974 ne Diguli mu Busawo n'okulongoosa.

Emirimu gye

Oluvannyuma lw'okugenda okuyigirizibwa n'okwongera okubangulwa okumala omwaka gumu ku byeyali asomeseddwa ng'amaliriza, yasenga n'agenda mu ggwanga ly'e Zambia mu Bukiika kkono lya Afrika, nga eno gyeyatandika okuteeka mukola byeyali atikiddwa eby'okubeera omusawo, okuva mu 1997 okutuuka mu 1979. Yakomawo mu Uganda mu 1979 oluvannyuma lw'okubeera nga Idi Amin yali agiddwa mu buyinza, naye nga yalina okudukira ku mulirwaano e Kenya, oluvannyuma lwa Milton Obote okubeera nga yali awambye obuyinza mu 1980. Yasigala yeenyigira mu by'okubeera omusawo mu Kenya okutuuka mu 1986, bweyaddamu n'akomawo mu Uganda, oluvannyuma lw'okubeera nga gavumenti yali ekyusiddwa mu Kampala. Yakola nga omusawo ajanjaba ababaka ba Paalamenti ya Uganda wamu ne famire zaabwe, okuva mu 1986, okutuuka mu 1994. Kyali kigamba yalina okwagala kw'okujanjaba abaana n'eddwadde zaabwe mu kaseera keyali akola nga omusawo.

Mu 1994, oluvannyuma lwa baawe okufa mungeri eya kibwatukira, yeegata ku kampuni ekola sooda nadala owa Pepsi eyaCrown Bottlers Uganda Limited , nga akulira eby'abakituunzi. Mukaseera keyamala mu kampuni eno eya Crown Bottlers, yaweebwa eky'okubeeta omu kubaali ku kakiiko akadukanya ekitongole ekigata banamakolero wamu n'abakola ebintu ebifulumizibwa ekya Uganda Manufacturers Association. Yakolako ku kampuni ekola amaccupa okutuuka weyaweebwa eky'okubeera nga y'akulira ekitongole ekikwasaganya bamusiga nsiimbi mu Uganda mu 1999. Ye muntu eyasooka era omukyala eyasookera ddala okubeera nga awereza mu kifo kino eky'ekitongole ky'abakwasaganya bamusiga nsiimbi mu Uganda.

Mu kwongerako, ku buvunaanyizibwa bweyali alina, Kigozi yalina ebirala byeyali ayongerezaako nga :

  • Akulira abanoonyereza mu kibiina ekigata abanoonyereza mu Uganda
  • Yali omu kubakenkufu mu by'enfuna ku Yunivasite ye Makerere
  • Omu kubaali ku kakiiko akawi k'amagezi mu baanka ya Global Banking Alliance for Women (GBA)
  • Omuyima wa Uganda Change Agents and Junior Chamber International
  • Akulira akaiiko akavunaanyizibwa ku by'okutumbuula eby'amaguzi ebifulumizibwa mu ggwanga
  • Omu kubaali ku kakiiko k'abadukanya kampuni ya Crown Beverages Limited, abakola wamu n'okusaasaanya sooda wa Pepsi Cola mu Uganda
  • Eyatandikawo ekitongole ekikwasaganya bamusiga nsiimbi mu Uganda, ekigata abakyala abatandikawo bizineensi
  • Yakola nga okulaba nga obubaka butuuka eri abantu abatuufu mu lukungaana lwa Africa Asia Business Forum
  • Omuyia w'ekibiina ekigata banayuganda abasinganibwa mu bitundu by'ensi eby'enjawulo
  • Omukyala munabyamizannyo eyakiikirira Uganda mu mizannyo nga lawn tennis, tena w'okumeeza hockey wamu ne squash.
  • Akaseera akatuuka mu 2011, Dr. Kigozi yeeyali akulira ebyali bigenda mu maaso ku Yunivasite ye Nkumba .

Ebimukwatako nga omuntu

Nga tanalekulira Uganda kugenda mu Zambia mu 1977, Blick yafumbirwa Fredrick Serwano Kigozi, nga wamu bombi baalina abaana basatu, okuli; Fred, Michelle ne Daniel Kigozi. Fredrick Kigozi yafa mu bwangu mungeri eyali tesuubirwa mu 1994. Ye maama w'omuyimbi w'ennyimba ez'ekika kya hip-hop amannyikiddwa nga Navio.

Laba ne bino

Ebijuliziddwaamu


Ewalala w'oyinza okubigya

Tags:

Maggie Kigozi Obulamu bweMaggie Kigozi Emirimu gyeMaggie Kigozi Ebimukwatako nga omuntuMaggie Kigozi Laba ne binoMaggie Kigozi EbijuliziddwaamuMaggie Kigozi Ewalala woyinza okubigyaMaggie Kigozi

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

GuineaThe mithOmuyirikitiAkafuba bulwaddeBrasilSenegalBaskin-RobbinsEbirogologoKampala Capital City Authority FCNzikiriza y'AbatumeBakakensa ba Buganda abedda (the Scientists and Philosophers of ancient BugandaMbwaSeychellesMaliObwongo (the Brain)James Nsaba ButuroEnergyEkkajjolyenjovuAngolaBufalansaGodfrey WalusimbiOmusujja gw'ensiriSembuya Christopher ColumbusLawrence MulindwaOlukangaga lw'amalwaliro mu UgandaEkirembewazo n'ekirembewazi(Police Department and Police Station)BakitiiriyaAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaPeace ButeraOKubalirira (Arithmetic)EbyawuziAmayengo (Waves)PallasoVilla Maria, YugandaMiria MatembeGhanaEntababimira (vegetation)Eleanor NabwisoNtauliraHope EkuduEkigaji ddagalaMbogoObufo,Obusangiro, Obwolekero (Position, Location, and Direction)LibyaEbirwaza(Diseases)The concepts necessary for Luganda discourse on instincts(Engerekera)OBUTONDE BW’ENSIAmelia KyambaddeEssomero lya Rubaga CommunityKisubi kya kyaayiGambiaZzaabuObusannyalazo(Electrons)Ekigulumiro (Prism)Jesu KristoSarah Nabukalu Kiyimba🡆 More