Kookolo W'amawuggwe

Kookolo w'amawuggwe] kwe kubaawo kw'obutaffali bwa kookolo w'amawuggwe agenda ng'ameruka era ng'asaasaana ebitundu by'amawuggwe byonna, era nga singa kiba tekijjanjabiddwa mu budde, kookolo ono ayinza okugenda ng'alya era n'okusaasaanira mu bitundu by'omubiri ebirala ebiriraanye amawuggwe ng'ayita mu nkola eyitibwa Metastasis.

Kookolo ow'ekika kino asinga kweyolekera mu bubonero ng'okukolola ennyo (nga mwe muli n'okukolola ebitole by'omusaayi), okukogga, okukaluubirizibwa ng'ossa, okwo ssaako okulumizibwa mu kifuba. Okufuuweeta/okunywa sigala oba taaba okumala ekiseera ekiwanvu kye kisinga okuleeta kookolo ono ow'amawuggwe era nga kutwala ebitundu kinaana mu bitaano ku buli kikumi(85%) kyokka ng'ate bo abantu abakwatibwa kookolo ono okuva ku bitundu kkumi okutuuka ku kkumi nabitaano ku buli kikumi(10-15%) baba tebanywangako ku sigala oba taaba. Embeera eno okubaawo kitera kuva ku bintu eby'enjawulo okuli ebintu ng'okuyingiza omukka ogw'obulabe ennyo eri obulamu bw'omuntu gamba ng'ogufuumuuka mu makolero, okussa/okusika omukka gwa sigala okuva kw'oyo afuuweeta sigala n'ebirala.

Obulwadde buno busobola okuzuulwa nga bayita mu kukuba ekifaananyi ekikubibwa mu kifuba (ekisule) okusobola okulaba endwadde eyo. Naye ng'okukebera n'okuzuula endwadde eno eya kookolo w'amawuggwe kukolebwa mu nkola eyitibwa 'Biopsy' nga y'enneekebejja ebeeramu okukebera ebitundu by'omubiri n'ebirala ng'omusaayi okuzuula endwadde ebeera eri mu mubiri oba ekyo ekiba kigireese.

Tuyinza okwetangira kookolo ono nga twewala ebintu ng'okufuuweeta/okufuuwa sigala awamu n'okusika omukka/empewo embi eri obulamu bwaffe. Kyokka obujjanjabi bwa kookolo ono businziira ku bintu ng'ekika kye, omutendera kwaba atuuse mu kulya amawuggwe ssaako embeera y'omulwadde oyo okutwaliza ewamu, naye nga kookolo ono ebiseera ebisinga tawona!

Mu mwaka gwa 2012 okunoonyereza okwakolebwa mu nsi yonna kwalaga nti abantu abali mu kakadde kamu mu emitwalo kinaana (1,800,000) baazuulibwa ng'abalina kookolo ono era nga kuno kwafaako abantu abawerera ddala akakadde kamu mu emitwalo nkaaga(1,600,000) ne kiba nga kookolo ono y'akyasinze okutta abasajja bw'omugeraageranya ku birwadde bya kookolo ebirala byonna, era n'akwata kisooka ne ku bakazi ng'oggyeeko kookolo w'amabeere. Naye nga kookolo w'amawuggwe asinga kuzuulibwa mu bantu abawezezza emyaka nga nsanvu (70).

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Allen KaginaZzaabuAnita AmongBetty NamboozeEbirogologoBettinah TianahEntababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)TokyoBakitiiriyaLugandaBeninMabira ForestNolweENIIMUEkizzaŋŋandaChristine Amongin AporuKampalaMozambiqueEmpewo eya kiwanukaRonald ReaganOkutyaEndwadde z'EkikabaPeace MutuuzoGodfrey WalusimbiAmakumi asatu mu nnyaBarbie KyagulanyiUgandaEnsiMiria MatembeSt. Anthonys Secondary School KayungaUfaBukiikaddyoBalubaale(the Departed Thinkers/Wisepersons of Buganda)GuluKAYAYANAKibwankulataOmusujja gw'EnkakaPikachuOmwesoMilton OboteAbu KawenjaEgyptOMWETANGOEndwadde y’omutimaNakasigirwaNnamusunaOkulambika ebirowoozo(Inductive reasoning)Polotozoowa(Protozoa)MooskoOKUMEZESA ENDOKWA Z'EMITI N'OKUZIRABIRIRAAmasannyalazeJens GalschiøtEkirembewazo n'ekirembewazi(Police Department and Police Station)Essomero lya Christian UpliftmentOkubalaEppetoOmusingi gw'Ebyenfuna(The Economic Base)🡆 More