Blu*3

 

Blu 3 kyali kibiina ky'abawala bokka abanayuganda abayimbi, ga kyatondebwawo mu Gwokuna mu 2004 oluvannyuma lw'okuwangula empaka z'okuyimba ezaali nga ku ttivi nga ziyitibwa Coca Cola Popstars. Erinya lyatondebwawo okutegeeza abakyala abalungi basatu oba abadugavu okuva mu Uganda. Abaakirimu okusokera ddala yali Jackie Chandiru, Lilian Mbabazi ne Cinderella Sanyu. Oluvannyuma lw'okuwangula empaka, beeyongerayo okukwata olutambi olwali luyitibwa Hitaji mu 2004 wamu nerwebayita Burn mu 2007. Olutambi oluyitibwa Hitali lwafulumizibwaako ennyimba nga ezaakwata abantu omubabiro nga "Hitaji", "Frisky" wamu n'olw'ekika kya afro beat lwebayita "Tomalaako". Abawala bano baatongoza olutambi luno olwa Hitaji ku kisaawe ky'e Lugogo Cricket stadium mu Gwekumineebiri mu 2004, ng'eno namungi w'abawagizi yeeyiwayo. Vidiyo ya Hitayi yagenda mu maaso n'ewangula engule ya Pearl of Africa Music Awards nga bagironze nga vidiyo y'omwaka.

Sanyu yalekulira ekibiina kino n'agenda okukola emirimu emirala nga mu kifo kye bazaamu Mya Baganda. Erinya ly'ekibiina lyakyusibwa nebalifuula Blu 3, nga muno emunyeenye egiddwamu.

Mu 2006, ekiibina kya Blu 3 kyadamu okugenda mu situdiyo n'eyali aabyamba okufulumya ennyimba zaabwe era nga baludde naye Steve Jean, nebakwata olutambi olwali oluwanvu lwebayita ''Burrn''. Oluyimba luno lwali Navio omuyimbi okuva mu kibiina ekiyitibwa Klear Kut. Ennyimba endala ezaali ku lutambi luno ezaakwata abantu omubabiro kwaliko ezaawandikibwa Sylver Kyagulanyi gamba nga "Nsanyuka Nawe", "Ndibeera Nawe" wamu ne "Nkoye". "Burrn" lwawangula awaadi y'okubeera nga lwalina vidiyo y'omwaka mu bikujuko bya Pearl of Africa Music Awards (PAM Award). Bano baalondebwa era ku ky'okufuna awaadi ez'enjawulo gamba nga Kora Awards, Channel O Music Video Awards, ng'era baawangula ebirabo bya mirundi ebbiri ebya Kisima Awards,PAM Awards satu wamu n'endala eziwerako. Ekibiina kino kirambudde amawanga agawerako nga muno mwemuli Kenya, Rwanda, Tanzania, South Afrika, Ghana, Nigeria, Bungereza wamu ne Ethiopia. Olutambi olupya lwali muntegeka ez'okufulumizibwa mu 2008, nga lukwatiddwamu abafulumya ennyimba okuva kumutendera gw'ensi yonna gamba nga Charlie King wamu ne Aydee owa Goodenuffa nga naye yeegata ku pulojekiti eno. Erinya eryali ligenda okubeera nga likozesebwa mu pulojekiti eno lyali B3, nga lisuubirwa okuggwa mu Gwekumi mu 2009. Oluyimba olwali lusiibirwa okubeera nga lwelusooka ku lutaambi luno lwali lutabikiddwamu engeri y'olulimu olulatini ng'era luyitibwa ''Together'', nga lufumiziddwa Steve Jean.

Ku lwokusatu mu Gwekumineebiri nga Lilian Mbabazi yagenda ku mikutu gimukwanira wala n'akyasanguza nga abasatu bano webaali bagenda okuddamu okuyimbira awamu ku siteegi, mu kifulu kyebaali bagenda okuyita ba Blu 3 okudda okwegata oba ''The Blu3 Reunion'' kunaku z'omwezi ezitayogerwa, nga bali ku woteeri nya Protea Hotel Kampala Skyz, ng'eno esinganibwa Naguru, mu Kampala.

"Okulinda kuwedde eri abaagala ennyimba ne muziki, nga kino, essanyu linzita okugabana amawulire gano, nti ekibiina ky'abawala abayimbi abaakola erinya mu muziki wa Uganda, ekya BLU3 kigenda kuba kidda okusisinkana okucamula abantu nga 14 Ogwekumineebiri mu 2023 nga bino Mbabazi yabiteeka ku mukutu gwe ogwa Instagram.

" Mutwegateko bwetubabeera tuyuguumya siteegi, nga tukomyawo ennyimba ezaabugumya ng'emitima wamu n'amassanyu agatayinza kwerabirwa. Y'esswa ey'okusaasaanya omukwano wamu n'okukuba kukerere.

Ngali ku mukutu gwe ogwa Instagram, Chandiru yateekako, kunkomerero, akaseera buli omu k'abadde alindirira. Nga omu kubali mu kiibin kya blu3 omusanyufu, ekibiina ky'abawala eky'abayimbi mu Uganda eky'enjawulo, sisobola kukwatirira ssanyu lyenina okulangirira nga wetugenda okubeera nga tuddamu okusisinkana oluvannyuma l'wemyaka 10. Mwetegeke okwerolera ku kukomawo kwafe nga 14 Ogwekumineebiri mu 2023 ku woteeri ey'enjawulo eya Skyz Hotel e Naguru!

Cindy Sanyu yali tanaba kuteekayo ku mikutu gye ebikwatagana ku kivulu kino.

Abasatu bano baasisinka nga abavubuka mu biseera by'empaka z'okunoonya abayimbi ezaali ziyitibwa Coca-Cola Pop Stars, nga oluvannyuma lw'empaka zino, abasatu bano, mu 2005 beegata nebatandikawo ekibiina kyebaali bayita Blu*3 ekyali kidukanyizibwa Steve Jean, omufulumya w'ennyimba ow'ebyafaayo, ng'era ye nannyini Fenon Records.

Wabula ekibiina tekyawangaala kumala banga ddene oluvannyuma lw'okubeera nga Cindy yali agobeddwa, nga oluvannyuma lw'emyaka ebbiri, baaleeta Mya Baganda okumudira mu bigere, olwo erinya nerikyusibwa okudda ku Blu 3 nga temuli kamunyeenye. Abasatu bano abapya baali bonna okumala akaseera katono, era oluvannyuma nebasalawo okwawukana buli omu agende ayimbe yekka.

Ekivulu kyabwe kyakyusibwa enaku z'omwezi ng'era kisuubirwa okubeerayo mu Gwomukaaga nga 22 mu 2024 ku woteeri ya Sheraton Gardens mu Kampala.

Awaadi

Ze baawangula

Zebabalonda okuvuganyizaamu

Ebijuliziddwaamu

Ewalala w'oyinza okubigya

Tags:

Blu*3 AwaadiBlu*3 EbijuliziddwaamuBlu*3 Ewalala woyinza okubigyaBlu*3

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

EnjubaObusannyalazo(Electrons)Otema AllimadiYisaaka NetoniEnkakaAmerikaObulemu ku maasoAngolaOkubalaChileZzaabuKAYAYANAJapanLibyaBaibuliZari HassanComorosBufalansaENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBABalubaale(the Departed Thinkers/Wisepersons of Buganda)EnzikuAmasannyalazeNigeriaBrooks County, GeorgiaEbirogologoBulgariaPhiona MutesiOmweziMariam NajjembaMatookeOlutiko (Mashroom)Ekirembewazo n'ekirembewazi(Police Department and Police Station)Bobi WineBacon County, GeorgiaEntry InhibitorMooskoEmbu z'AmannyaLungerezaLesothoRwandaKkumi na ssatuOlukangaga lw'amalwaliro mu UgandaWalifu y'OlugandaWinnie KiizaHanifa NabukeeraMoroccoSenegalObuwangaaliro obw'Obutonde(the natural environment)EnsimbuTokyoBetty Oyella BigombeAisa Black AgabaSusan NsibirwaEquatorial GuineaMusanvuBukwa (disitulikit)OKULUNDA EBYENYANJABulaayaOmulangiriziENIIMUCameroonEkibanduso (A Primer of Change)EMMYEZIGambia🡆 More