Anna Ebaju Adeke: Munayuganda munabyabufuzi

Anna Ebaju Adeke (yazaalibwa 27 November 1991) munnamateeka era munnabyabufuzi Munnayuganda .

Mu kiseera kino ye Mubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Soroti mu Palamenti ey’ekkumi n’emu (2021–2026). Yaliko omukiise wa palamenti mu kifo eky’abavubuka abakyala mu ggwanga mu palamenti ey’ekkumi (2016–2021). Y'amyuka Pulezidenti wa Forum for Democratic Change mu bitundu by’obuvanjuba.

Ebyafaayo n'obuyigirize

Adeke yasomera mu Our Lady of Good Counsel Gayaza ku O' Level n'oluvannyuma ku St Marys SS Kitende n'agenda mu A' Level. Alina diguli esooka mu mateeka okuva mu yunivasite y'e Makerere ne diguli ey'okubiri mu by'amateeka okuva mu Law Development Center . Nga 17 May 2021, Adeke yatikkirwa diguli ey'okubiri mu mateeka okuva mu yunivasite y’e Makerere, ku lunaku lwe lumu lwe yalayira ng’omubaka wa Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu (2021–2026).

Emirimu

Okuva mu 2013 okutuuka mu 2014, Adeke yaweerezanga akulira abayizi e Makerere Yunivaasite, yeesimbawo n’awangula ng'ali mu kibiina ky’eby'obufuzi Forum for Democratic Change. Okuva mu 2015, bwe yamaliriza emisomo gye egy’amateeka, yaweebwa ekifo mu Uganda Bar. Akola nga munamateeka mu M&K Advocates, mu Kampala.

Mu March wa 2016, Adeke yalondebwa nga omubaka omukyala ow'abawala mu ggwanga mu kulonda kw’eggwanga okwakolebwa mu kibuga Hoima e Bugwanjuba bwa Uganda . Mu kulonda kw’eggwanga, yeesimbawo nga talina kibiina. Ng’omubaka wa Palamenti, alwanirira okwawulwa kwa minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi, abavubuka n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, okutondawo minisitule y’abavubuka eyetongodde. Era akola kampeyini z’okwongera ku nsimbi eziweebwa enkiiko z’abavubuka ku mitendera egy'enjawulo egy'eggwanga. Yali mmemba ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’enfuna by’eggwanga, mu Palamenti ey’ekkumi.

Mu 2019, Adeke yalondebwa ku bwassentebe wa Uganda parliamentary Forum on Youth Affairs. Era yaliko minisita w’ekisiikirize avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana, era mmemba w’ekibiina ky'abakyala ekya Uganda women parliamentary association (UWOPA), mu Palamenti ey’ekkumi (2016 - 2021).

Emirimu emirala

Adeke yalabikira mu lupapula lwa Vogue Italia mu September wa 2017. Mu March 2017, The Ugandan Magazine yamuwandiika mu "bakyala 10 abasinga amaanyi mu byobufuzi bya Uganda mu 2017. Ye Mukatoliki wa Rooma. Era ayagala nnyo ensonga z'ekikula ky'abantu n'abakyala era avumirira okutulugunyizibwa mu by'okwegatta, era akubiriza abakyala n'abantu bonna okwogera ku bibi ebiri mu kutulugunya okutulugunyizibwa n'okukirwanyisa. Ono era yavaayo munna palamenti munne eyali agezaako okumukabasanya bwebali ku lugendo ebweru w’eggwanga.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

Ebiyungo eby’ebweru

Tags:

Anna Ebaju Adeke Ebyafaayo nobuyigirizeAnna Ebaju Adeke EmirimuAnna Ebaju Adeke Emirimu emiralaAnna Ebaju Adeke Ebiwandiiko ebikozesebwaAnna Ebaju Adeke Ebiyungo eby’ebweruAnna Ebaju AdekeOlukiiko olw'Enkyukakyuka mu Bufuzi bwa demokulasiyaSoroti (disitulikit)Yugandaen:Parliament of Ugandaen:Politicianen:Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Ekibazamukisa(Probability)BomboAlubbaati AnsitayiniOkusengekensonga okw'ekibalo(Mathematical logic)AloiTogoManafwa (disitulikit)EbijanjaloEnnambaKabakaOkugajambula(Predation)Mustafa Ishaq BoushakiBudadiriOmwesoPeruOkulima ebitooke ebyomulembeYitaleBernadette OlowoOmumbejja Elizabeth ow'e TooroEddagala eriyitibwa Mwambala zitonyaBaltic SeaEssomakumanya(Epistimology)Akaziba ka ayidologyeni (hydrogen atom)Engozo n'Engolo(Cams and Cranks)UfaUganda National Cultural CentreAmakumi ataanoKikanja john baptist/sandboxEmbizziLugajambula (Predator)Koboko (disitulikit)Omubalanguzi(mathematician)Paul HasuleObumenyefuMaliFrida KahloJackson County, GeorgiaKakadde kamuKibingo, KenyaBuyonaaniENKYUKAKYUUKA MU MBEERA Y’OBUDDE BW’ENSI N’ENTEEKATEEKA MU BITUNDU OMULI ENNYANJA NNALUBAALEEmbu z'EbigamboGirimaneEnjobeFreda Mubanda KasseGallery GalschiøtObulwadde bw'Obutalaba biri walaTunisiaMolingaVladimir PutinHanifa KawooyaAmakumi abiri mu ssatuKyendaApollo MakubuyaDokoloEkibalanguloBuliisa (disitulikit)Ba RiaObulungi bw'entangawuziEnkakaObukwafu n'Obukwafuwavu(Thickness and density)Esigalyakagolo🡆 More