Omuyimbi Sera

Sarah Nampijja yazaalibwa nga Ogwomukaaga 8, 1990.

Yamanyibwa nga Sera eyali omuyimbi era omuwandiisi w'ennyimba owa Uganda. Yafuna ettutumu mu Uganda mu 2012 olw'oluyimba lwe olumu olwa "contagious" mwe yayimbira ne Jeff Blaise.

Obulamu bwe

Sera yazaalibwa mu 1990, nga ye mwana asooka mu baana abasatu aba John Kakooza ne Elizabeth Wolwa.

Ennyimba

Mu 2012 bwe yali ng'alabikira ku "Katogo" ku Record TV, yeeyogerako ng'omuyimbi wa fusion bweyategeeza nti "Nnakizuula nti ragga mulungi gye ndi, nzizuula nti dancehall nnungi gye nsobola era Rnb ansanyusa nnyo".

Sera yasooka okussa omukono ku ndagaano ye eyasooka mu 2009 ng'aweza emyaka 19 bwe yakkiriza omukago ne kkampuni y'ennyimba eyitibwa Swangz Avenue mu Kampala.

Sera yasooka kuyimbira ku mikutu gy'amawulire mu Uganda n'oluyimba "Delivered" mweyali n'omuyimbi KidFox. Yatuuka ku buwanguzi bwe yayimba oluyimba "Contagious" ne Jeff Blaze. Kino yakigoberera n'oluyimba lwa "Fire" olwali terummanyiddwa nyo mu ggwanga.

Mu kiseera ky'okufa kwe yali alowoozebwa okuba ng'akola vidiyo empya ey'oluyimba ng'agezaako okukomya embeera ye embi. Yali omu ku bayimbi 256 abakyasinze mu Uganda.

Okufa

Sera yafa obulwadde bwa alusa ez'omulubuto oluvannyuma lw'okufuna obuzibu ng'ava e Masaka gye yali agenze okuziika kitaawe w'omutendesi we Ken.

Okusinziira ku mukwano gwe ow'okulusegere era nga muyimbi munne Viboyo Oweyo eyali naye mu kaseera ke akasembayo, Sera yasooka kuzirika ng'ali mu kyalo e Masaka, nga tannaba kutwalibwa mu ddwaliro ly'omu kitundu kyokka eno abajjanjabi baamutegeeza okutwalibwa mu eddwaliro eddene erya Kitovu erisinga obunene, nga kigambibwa nti yafa nga atuusibwayo..

Oluvannyuma lw'okufa kwe, waaliwo olugambo olwali lutambuzibwa ku mitimbagano olugamba nti Julius Kyazze, omukulu w'ekitongole kya Swangz Avenue, yali akwatibwa nga byekuusa ku kufa kwa Sera naye yavaayo n'abimenyawo era n'ategeeza nti "Nsaba temukiriza bibagambibwa nti nkwaatidwa, ndi butaayi."

Maama wa Sera Elizabeth Wolwa naye yajja ku kuziika kwe okukakasa nti muwala we ne Kyazze baali ba mukwano nnyo era n'alaga nga bweyalinga amwogerako enyo mu mboozi zabwe.

Ebitabo ebyafulumizibwa oluvannyuma lw'okufa

Mu 2016 ekitongole ekya Swangz Avenue kyafulumya oluyimba oluyitibwa "One Ting Man" nga Sera yalimu ne K'millian ow'e Zambia.

Ebyafaayo

Ennyimba

Ebyawandiikibwa

Enkolagana ez'ebweru

Tags:

Omuyimbi Sera Obulamu bweOmuyimbi Sera EnnyimbaOmuyimbi Sera OkufaOmuyimbi Sera Ebitabo ebyafulumizibwa oluvannyuma lwokufaOmuyimbi Sera EbyafaayoOmuyimbi Sera EbyawandiikibwaOmuyimbi Sera Enkolagana ezebweruOmuyimbi SeraYuganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Okusiriiza entamuNapooleon BonapatOkusesemaEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiLuganda Scientific Concepts formed by Derivation from affixesOkuwangaala mu LugandaNkumi ttaanoAmakumi asatu mu ssatuOLWEZAEnsiENNAKU MU SSABIITIWalifu y'OlugandaKandidaEbyobufuna bya Buganda eyedda(the Political economy of precolonial Uganda)RigaBelarusDoodoOmusujja gw’omu byendaComorosNakasigirwaEnjatuzaOkubeera olubutoKatumba WamalaMukaagaEddagala eriyitibwa Mwambala zitonyaSamson KisekkaWikipediaEnkakaYengaKakadde kamuPulesaEkipulukoYoweri MuseveniDorothy HyuhaDdaazaOmujaajaEsomoka tewolomaSierra LeoneEmuMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaMediterranean SeaGeorge Cosmas AdyeboZimbabweSsekalowooleza Kibuuka OmumbaaleObuwakatirwaMunnassomabibuuzo(Omufirosoofa)Bazilio Olara-OkelloEnkwa Ebivu, n’ebiwuka ebirala by’ewale awamu n’endwadde zebireeta ku Ddundiro lyoAMANNYA GA KABAKALesothoGabonYitaleCameroonAmakumi abiri mu musanvuObulwadde bw’ekiwangaFinilandiKkumi na nnyaRwashaKiruhuraMichael EzraKrasnoyarskRegina Mukiibi🡆 More