Okwebaka

Okwebaka kwe kubeera mu tulo oba okugalamira wansi olw’okuwummulako.

Okwebaka kye ki?

Newankubadde nga ekitundu kimu kya kusatu mu bulamu bwaffe tukimala nga twebase, bangi ku ffe tetumanyi nsonga etwebasa, tetumanyi ddi lwe tusaana kwebaka n’engeri gye tuteekwa okwebakamu.

Engeri z’okwebaka

Okusumagira: okusumagira kwe kuba n’otulo otuleetera omuntu okuba ng’azibirizaamu ku maaso ate n’agazibula mu ngeri ey’omuddiring’anwa. Omuntu ayinza okusumagira n’amala akaseera nga bw’afuna ekimuwawamula otulo tugenda ate ne tudda. Okutema ebisiki: eno ngeri ya kwebaka ng’omuntu alinga asumugira; otulo bwe tumukwata atandika okubeera “ng’akoonoka” ate nga bw’addawo. Okutema ebikisi kuleetebwa bukoowu mu mubiri gwonna. Omuntu akoowa n’aba nti bw’abaako w’atudde omubiri gwonna gubeera ng’oguwummudde ne gujjirwa otulo.

Okubongoota: okubongoota kwe kubeera ng’asumagira olw’okukoowa. Okubongoota kufaananako n’okusumagira, wabula abongoota tazibiririza ddala maaso, gaba ng’agazibirira naye ng’ate tegazibirira ddala. Kwe kugamba, kibanga nti ebikowe by’omuntu bye bikooye ne byagala okuwummuzibwamu. Okwebaka empologge: kuno kwe kwebaka ennyo nga tozuukuka. Gamba, oli ne yeebaka okuva ku ssaawa bbiri ez’ekiro n’azuukuka ku ssatu ez’enkya.

Okwebaka Mukeerere tazindwa: kuno kwe kwebaka ennyo nga tolina na kulowooza nti wayinza okubaawo akabi akakutuukako. Kwe kugamba nga bwe kiba kisoboka, oyinza n’obutaggalawo luggi ne weebaka, kubanga tolina kikweraliikiriza.

Okwebaka emboleera: kuno kwe kwebaka ennyo okumala ebbanga eggwanvu nga tozuukuka. Eyeebaka emboleera ayinza n’okubeera mu buliri ng’awulira naye nga tazuukuka; abalala bonna bamuleka mu buliri ne bagenda okukola kyokka nga ye tava mu buliri. Wano we waava n’enjogera eno, “Okwebaka emboleera ng’omunafu omulekere obuliri.” Kitera okugambibwa nti abeebaka emboleera baba banafu!

'Okuwujjaala: kuno kwe kugalamirako wansi olw’okuwummulamu. Mu ngeri eno otulo tuyinza okukukwata naye nga owulira oba oyinza okuba nga owulira. Okuwujjaala kubaawo ng’oli amaze okulya ekyemisana oba ng’oli annyuse n’ayagala okwewummuzaamu atoowolokoke.

Okwewunzikako: okwewunzikako nakwo kufaananira ddala n’okuwujjaala. Enjawulo w’eri ly’ebbanga eririwo oli ly’amala. Okwewunzikako kumala akaseera katono okusinga okuwujjaala.

Okubulizaako: kuno kwe kwebaka n’obeera mu tulo otungi ennyo ddala nga toyinza na kuwulira kintu kyonna. Okufuluuta: okufuluuta lye eddoboozi eriva mu muntu nga yeebase. Okufuluuta kabonero akooleka nti omuntu talina mukka gumumala bulungi nga yeebase. Omuntu gy’akoma okugenda ng’akula, gy’akoma okusemberera okufuluuta. Okumaliza amatu wansi: kuno kuba kwebaka nnyo nga tolina kintu na kimu ky’oyinza kuwulira mu kiseera w’obeerera nga weebase. Omuntu asobola okwebaka ng’amalizza amatu wansi ate era asobola okwebaka nga tamalizza matu wansi; kwe kugamba ng’awulira buli kimu ne bw’aba nga yeebase.

Okwebaka otulo otw’embwa: okwebaka kuno kuba kwa kabanga katono ddala omuntu n’azuukuka. Embwa yeebaka otulo naye bw’efuna ekigikanga, agugumuka n’ezuukuka era otulo ne tugiggwaako. Otulo otwo tuyinza okuba nga twa maanyi naye nga tumala akabanga katono ddala. Okwebaka ejjanzi n’erituuka n’okusamba oluggi: okwebaka okw’engeri eno kumala ebbanga ggwanvu ddala ng’omuntu azuukuka mu kiseera kya kalasamayanzi. Akasana bwe kaaka, amayanzi gatandika okubuuka nga bwe gakoona ku bintu eby’enjawulo omuli n’enzigi. Kale nno omuntu eyeebaka n’alinda ejjanzi lisambe oluggi lwe, aba agolokoka ku ssaawa nga ssatu oba nnya ez’enkya.

Okwebaka amavumira: kuno kwe kwebaka ng’omuntu awawamukawawamuka, nga yeekangakanga, nga yeebakira akaseera katono ate n’azuukuka. Engeri eno etera kuleetebwa kwekanga oba oli nga yeebase naye ng’alina ekimuteganya oba ng’aliko olugendo olumusala nga tawulira mirembe kuwummulira ddala. Okwebaka kulungi, kunyuma, kutoowolokosa, kujjanjaba naye ate kwetaaga okwegendereza kubanga kusobola okuvaamu obunafu obw’ekitalo.

Awo nno weegendereze, otulo tuyinza okukunyumira ate obulamu bwo obw’oluvannyuma ne butanyuma!

Engero n’enjogera ebiva ku kwebaka

Engero n’enjogera

1. Tetumanya alirira nnyina. Mu makulu ag’okungulu, olugero luno lutegeeza nti omuntu ne bw’abeera mu bulumi oba mu buzibu obufaanana butya otulo tusobola okumukwata. 2. Okwebaka kufa – enjogera eno etegeeza nti omuntu eyeebase kumpi afaanana n’oyo afudde, anti bonna ebifa ku nsi baba tebabimanyi

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

ENTOBAZISenegalDavid LutaloAmabwa agatawonaWashington County, MissouriEkibalanguloJens GalschiøtKampalaEnyanjula y’EntobaziAlubbaati AnsitayiniNnaabagereka Sylvia owa BugandaNzikiriza ey'eNiceaEngozo n'Engolo(Cams and Cranks)CzechiaAisa Black AgabaMoses Magogo HassimParisEritreaIngrid TurinaweKabakaBomboFrida KahloOmwesoEddagala eriyitibwa Mwambala zitonyaFrancis ZaakeSusan Nalugwa KiguliPalabek KalOkwagala(Love)MbwaBujuukoNkikimboDonald TrumpEkibazamukisa(Probability)Amelia KyambaddeJohn Chrysestom MuyingoEnergyCayinaOkwekuumaBa RiaKayunga (disitulikit)EMMYEZINzikiriza y'AbatumeMauritiusKazannyirizi(Character)Democratic Republic of CongoBlack SeaPaul HasuleEddy KenzoDenimaakaTogoLithueeniaKoboko (disitulikit)Yei Joint Stars FCObunnafu mu mubiriCentral African RepublicRomeSpecioza KazibweEkirongoosabirwadde (Surgery)Beti Kamya-TurwomweJessica AlupoJackie SenyonjoEkibulunguloDavid Bahati🡆 More