Endagabuzaale Ennemumutated Genes

Ennabuzaale ennemu

           (Mutated genes) 

Zino era oyinza okuziyita endagabuzaale ennema oba ennabuzaale ennema . Mu kunoonyereza kwe ku "essomabuzaale"(genetics) ,Muwanga agamba nti emiramwa emikulu egyetaagisa okunnyoknnyoka essomo lino giri esatu:

(i) Obusekese(Chromosomes)

(ii) Endagabutonde oba Ennabutonde (DNA)

(iii) Endagabuzaale oba ennabuzaale(Genes).

Nga bw'olaba ekinywa ky'enku ekiganda, "akasekese"(chromosome) , kaba kanywa ka ndagabutonde akasirikitu ate endagabutonde (DNA) ne kiba ekinywa ky'endagabuzaale(ennabuzaale) era eyitibwa endagabiragiro (genes). Endagabuzaale(endagabiragiro) ze ziwa oba eza ziraga endagabutonde ebiragiro:

(a) okukola ebizimbamubiri(proteins) ebyetaagibwa mu mubiri gw'ekiramu

(b) Okukola obuzaale bw'ekiramu ekito mu kaseera ekisajja we kiwakisiza ejji ly'ekikazi.

"Nnabuzaale ennemu"

      (Mutated genes) 

Nnabuzaale mu butonde bwazo zirina kuba nga nnamu mu nkula yazo naye oluusi nnabuzaale ziyinza okuba n'obulemu, ekitegeeza nti nnema, ezitali mu nkula yaazo ey'obutonde ezisobozesa okukola emirimu gyazo egya bulijjo okukuuma omubiri nga mulamu. Nnabuzaale(genes) zino ziyitibwa "nnabuzaale ennemu"(mutated genes) kubanga:

(a) ziba "nnema" ezitali mu nkula yaazo ey'obutonde. 

(b) Ziba ziremererwa okukola emirimu egizeetaagisa okukola mu mubiri nga okuwa endagabutonde(DNA) ebiragiro ebituufu oba ebyetaagibwa

Nnabuzaale okuba ennemu, kiviirako n'obutaffaali bwazo mwe zisangibwa okuba obulemu obutasobola kukola mirimu gyabwo egyetaagisa okukuuma omubiri nga mulamu. Ebirwadde bino mulimu ekirwadde kya "obutaffaali obulamawavu" (sickle cells). Ekigambo bulemawavu kitegeeza nti "bulema kiwanvu", anti bubugaana omubiri gwonna mu bulemu bwabwo, sso si kitundu kya mubiri kimu nga bwe guli n'obutaffaali obwa kkookolo(cancer).

"Obutaffaali obulemawavu" buba butaffaali bwa musaayi obumyufu(red blood cells), obulina okuba nga omwezi ogw'eggabogabo era nga bugonderera bulungi naye ate ne buba nga bweweseemu nga eggabo ly'eggaali , bbo abazungu kye baayita enkula eya najjolo(sickle), ejjambiya eyeweseemu nga omwezi omuto mu bwengula. Obutaffaali obulina okuba nga pmwezi ogweggaboigabo okuba mu nkula ey'eggabo ly'eggaali , buba bulemu(bulema) obulemesa obutaffaali buno okukola emirimu gywabwo emitongole mu mubiri , kino ne kifuuka obulwadde.

Mu luganda buno kakensa Charles Muwanga bw'ayise "obutaffaali obulemuwavu"(obulema ekiwanvu), olwokuba nga buba bwalemala mu nkula yaabwo ne bwewetamu ate nga bubugaanye mu musaayi mu mubiri gwonna, omungereza bw'ayiga obutaffaali obw'eggabo(sickle cells).

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

OLukalala lw'Emiramwa egy'Ekibalangulo(a List of Luganda mathematical terms)Ibrahim SekagyaEMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIREBusolweBebe CoolMcLennan County,TexasPakubaVayiraasiMediterranean SeaSanyu Robinah MwerukaRachael KunguBhumibol AdulyadejLumala AbduBarbara MulwanaBen TreEkinyaalikaBlu*3EkibulunguloKabaliraJohn Chrysestom MuyingoEbigimusa okuvamu nnakavundiiraSarah NajjumaOLUSENKEGrace Nambatya KyeyuneRadio West (Uganda)Ibrahim Ssemujju NgandaAligebbulaEmiramwa egisookerwako mu Luganda Olwa SayansiEnnengeza(Telescope)NnyaWinnie KiizaArmeniaJens GalschiøtObulwadde bw'OkwebakaRonald ReaganFernando AlonsoObulungi bw'entangawuziBufalansaChattooga County, GeorgiaJapanPayisoggolaasiOkuwangaala mu LugandaNakongezalinnyaMexicoObulwadde bw’KkakootoYirediyaamu (Irdium)KalifuwaEttundiro ky'eddagala(Drug shop)Amakumi abiri mu emuEkirwadde kya CholeraSan MarinoEmisuwa egikalubaBuwengeEkisaawe kya Mutesa IIKookolo w'EkibumbaEbyobufuna bya Buganda Eyedda (the Political economy of precolonial Buganda)Jalia BintuPeter OdekeCayinaOkugunja ebigambo(Conceptualisation)Kizito omuto omujulizi omutuukirivu🡆 More