Empisa

Mikwano gyange muli eyo yonna gye muli? Mbalamusizza mwenna era leero katutunuulire empisa mu ntambula eyoolukale.

Bangi tutambulira mu mmotaoka ezoolukale nga muno mwe muli Ttakisi, Bbaasi, eggaali y’omukka, ennyonyi( eno yaabalondemu wano mu Africa) naye omuntu yandyewaze biruwa nga ali mu ntambula ezoolukale ezigatta abantu abangi? Tetwandikoze bino? 1. Okuliiramu amaggi amafumbe anti mumanyi bwe gawunya ennyo. 2. Tewandiridde binyebwa nga oli mu ntambula eyoolukale anti biwunya bubi nga tobiridde.\ 3. Tewandifuuye taaba. 4. Tewndiwogganidde banno nga basirise noolegesa noosinga endegeya. 5. Tewandiyisizza mukono mabega wa munno mu takisi. 6. Teweegaziya nnyo kuba ne banno baagala okutuula oba tosobola gula eyiyo. 7. Tewandyefuuyidde buwoowo nga muli mu mmotoka eno oba eggaali yoomuka kuba abamu bubayiosa bubi. 8. Tewandisaniridde nviiri mu ntambula eno eyoolukale . 9. Tewandigeyezza bantu mu ntambula nga eno kuba kiba kikyamu , anti tomanya gwogeya ayinza okuba nga alina mukadde we ow’ensonga mu ntambula eyo. 10. Abasomera amawulire mu takisi si kibi naye mugakwata mwegaziyizza ne mubikka abantu amaaso kuba musoma mawulire. Mwandigazinzeeko noosoma omuko gumu gumu okusinga okugabamba ennyo. 11. Tewandigaayiza bya kulya biyiikka oba bitonnya oba bisammuka mu mmotoka kuba oyinza okusammuliza abalala. 12. Bwoba olina ekifuba kolorera mu katambaala okusinga okukola nga tokutte ku mumwa. 13. Bwoba ne ssennyiga era naye nga onyiza nyiza mpola mpola kuba oyinza okukuba banno ebiva mu nnyindo. 14. Toyambula ngatto nga oli mu ntambula eno anti tomanya oyinza okuba owunya ebigera Ttakisi noogitta oba eggaali yoomuka oba ennyonyi. 15. Weewale okuyisa omukka omubi / okwomnoona empewo kuba ojja kulwaza banno embuto. 16. Bwoba oli mulwadde wa ntunnunsi tuula kumpi n’eddirisa owone okutawaanya abali mu takisi nga abnyumiza nga bwoyagala empewo kuba oli mulwadde wa PPULEESA(HBP) 17. Nga oli kumpi kuvaamu laalika kondakita nga bukyali okusinga okwogera nga otuuse wooviiramu anti jjukira nti Ttakisi tesiba nga kagaali. 18. Nga bakuyisaizaawo toyomba manya ensobiyo nti ggwe wayogedde nga buyise. 19. Nga olina omugugu mu takisi tomala gagusindika anti gukuba abantu abalala abali mu Ttakisi 20. Sooka oweeweere nga tonnalinnya Ttakisi bwoba nga otambudde akagendo okutuuka woolinnyira takisi anti obeera otuyaanye ate nga oliko olutunkutunku. Weewale abantu okukuggya emize nga owunya nga akabuzi sooka owole. Ebirala mubirinde. Naye abatabikola temuyomba.

Tags:

Africa

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Boda-bodaEkigulumiro (Prism)OkutyaBusingye Peninah KabinganiEmbeera z'Obuntu(Human emotions)Eby'obutondeObukontanyo(Protons)AngolaNepalAmasannyalazeBukiikaddyoEkimuliBeninFred RwigyemaMatookeMbwaOlukangaga lw'amalwaliro mu UgandaDjiboutiBetty NamboozeObwongo (the Brain)Alfonse Owiny-DolloYugandaOMWETANGOTokyoEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiRema NamakulaBetty Oyella BigombeYisaaka NetoniSouth AmericaSpecioza KazibweEkikataPikachuSenegalRepublic of CongoEkyekebejjo (Empiricism)KenyaComorosOBWAVU N’OKUNONNYEREZA KU BIBUFAAKO MU BYALO MU’ ENKULAAKULANA EYA NAMADDALAJesca AbabikuIsilandiKibwankulataMbazziDEEDEnsikiso (Pulleys)Kampala Capital City Authority FCMukunyuRwashaBulobaEmbu z'EbigamboAkafubaMooskoEkibalanguloObuwangaaliro( Environment)OmuyirikitiOkunywa🡆 More