Emizannyo Gy'abaganda

Buli ggwanga libeera n’ebyalyo bye tuyinza okuyita eby'obuzaaliranwa era eby'ensonga mu kitundu ekyo ne mu bantu aboogerwako.

Bwe twogera ku mizannyo, Abaganda nabo baazannyanga emizannyo mingi. Mu mizannyo Abaganda gye baalinanga, mwabangamu egy’abato n’abakulu. Ate ne mu gyo ng’era mulimu egy’abawala n’abalenzi.

Mu mizannyo egyazannyibwanga mwalingamu ssekitulege, okubaka amayinja, okubuuka, okwekweka, okudduka, okubonga enje, ggogolo, kantuntunu, nkulimbye, ssemufu, nkusibiddaawo, vvaawondye, akawuna, okusiita, okwesuuba, ssewajjuba, katakuliramuliro, okumeggana, okuyiringisa entengo oba obutanga, okubumba, okuzimba ennyumba/obuyumba, okufumbafumba, okuwuga, okwesa, okulwana entooketooke, okulwana ebirumbirumbi, okwebagala ente, okulwanyisa embuzi oba endiga, ekigwo, okubiriga, okukuba enziga, okukuba enkuyo, okufumita emmuli, dduulu, zzaala, okuvuga amaato, okubaka omupiira, okusamba omupiira, nkulimbye, okuwuga, kamesetambula, okulinnya emiti, ffukukutu, kitumwa, obugole (okusiba abagole oba okukola eby'abagole), mpa ndye, ssonko, kaggogo, kibugga, ssemufu, okubuuka omuguwa, ssekkonde n’emirala. Ggwe ku mizannyo egyo omanyiiko giri wa?

Okumanya ng’emizannyo egyo gyabanga mirungi ne Kabaka yennyini yagyenyigirangamu. Era waliwo emizannyo egimanyiddwa nti Kabaka anaalya eŋŋoma alina emizannyo gy’asooka okuzannya. Gamba, omuzannyo gw’ebirumbirumbi n’okuyigga. Abamu baalinga bamanyi n’okumeggana.

Emizannyo gino gyabangamu emiganyulo egy’enjawulo: egimu gyabangamu okukozesa amaanyi bwe gityo nga gizimba omubiri; emirala gyabangamu okufumiitiriza (okukozesa obwongo oba okulowooza), bwe gityo nga giyamba mu kuwagala obwongo so nga n’emirala gyabanga gya kuwummuza birowoozo, kwesanyusa, kutabagana n’ebiringa ebyo.

Era nga bw’olaba ne leero nti abato balina emizannyo mingi, n’egyo gye tumenye waggulu egisinga obungi gya bato. Okugeza, okufumbafumba, nkusiddaawo, okuzimba obuyumba, nkulimbye, kaggoggo, okwesuuba, okusiita, vvaawondye, ssekkonde, akawuna n’emirala. So ate egy’abakulu mulimu okukuba enkuyo, okuyigga, okumeggana/ekigwo, okwesa, okulwana entooketooke n'emirala.

Buli gumu ku mizannyo egyo gye twogeddeko gulina amagezi n'ebigendererwa mu gyo. Kyakusaalirwa nti mingi ku gyo tegikyazannyibwa era mingi ku gyo tegimanyiddwa baana bato. Tujja kugenda nga tulambulula gumu ku gumu ku mizannyo egyo nga tulaba engeri gye gizannyibwamu ate n'amagezi agagirimu.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

CzechiaNapooleon BonapatEmmanvuJosephine OkotBaltic Sea34Salim SalehBufalansaEDAGALA LY'AMANNYI G'EKISAJJA ERYEKINANSIOmuyembeThe concepts necessary for Luganda discourse on the science of electricityFrancis ZaakeUetersenOmubalanguzi(mathematician)KawandaNgwabuzitoOkwekuumaEnjubaJessica AlupoBulaayaStella Nansikombi MakubuyaObulwadde bw'Obutalaba biri walaEmitendera gy'enkula n'enkulaakulana y'omwana(the stages of child growth and development)WikipediaArgentinaKabaka wa BugandaDenimaakaRomaniaOkuwandiika Baguma MuhendaOkusengeka namba (Ordering numbers)BubirigiAfirikaEddy KenzoCaayiEppaapaaliJesu KristoRema NamakulaEkitookeLumonde awusseEntaba-wordsENKYUKAKYUUKA MU MBEERA Y’OBUDDE BW’ENSI N’ENTEEKATEEKA MU BITUNDU OMULI ENNYANJA NNALUBAALEJustine NabbosaSiriimuJudith Peace AchanENGERO ZA BUGANDAMpigi (disitulikit)Eddagala erigema olukusenseOMUGASOJose ChameleoneEnjobeBujuukoEkirwadde ky’ebolaEnzijanjaba y'OlukusenseNigerTogoFreda Mubanda KasseEnvaSanyu Robinah MwerukaAkaziba ka ayidologyeni (hydrogen atom)LausanneAmaanyi g’EnjubaEbyafaayo bya Uganda🡆 More