Cerebrum Omulowooza

Omulowooza (Cerebrum) okusinziira ku Charles Muwanga !

Obwongo bulimu ebitundu ebikulu bisatu; Omulowooza (cerebrum), Mukwanaganya (cerebellum), n’Omutunsi gw’Obwongo (brain stem) oguliko medulla wabulongota n’emiraatira gy’obusimu. Omulowooza ate era ne gu gabanyizibwaamu ebiwayi (kemisifiiya) ebifuga ebikolwa ebigereke mu mubiri.

Ebitundu by'omulowooza eby’enjawulo biyitibwa biroobe (lobes) oba biwayi (hemisphere)."Omulowooza" kye kitundu ekisinga obunene mu bwongo.

Mu mulowooza mwe musibuka sayansi w’ebirowoozo omuli okwefumiitiriza, okusengeka ebirowoozo, okujjukira, okukola ku bukunizo, okulowooza n’okusegeera (sense perception). Omulowooza (the cerebrum) gulimu ebiwayi bina:

(i)Omulowooza asooka (Mulowooza owo mu Maaso). Ekitundu ky’omulowooza kino kirimu ebitundu by’akawompo ne mu maaso ebya buli kiwayi ky’omulowooza. Kye kifuga enkozesa y’obwongo (okugoba ensonga, okwefumiitiriza, okwekenneenya, okusengeka ebirowoozo), embeera z’obuntu (emotions), n’okusalawo. Ekiwayi ekyo mu maaso era kiyitibwa ekiroobe ekyo mu maaso (front lobe).

(ii)Omulowooza ow’enkoona - Kino kye kitundu kyy’omulowooza omuli ekifundikwa ky’okulaba n’obusobozi bw’okusoma ebiwandiike. Kiri mu nkoona era kiyitibwa kiroobe eky’okulaba (occipital Lobe) ekya mulowooza.

(iii)Mulowooza ow’amakkati. Kino kye kitundu kya mulowooza ekiri wakati wa ekiroobe ekyo mu maaso maaso n’ekyo mu nkoona. Kye kikola ku sensa ettaano ez’omubiri okutaputa kye zikesse oba ka tukiyite okusegeera (sense perception). Kino era kiyitibwa ekiroobe ekyo mu makkati (Parietal Lobe).

(iv)Omulowooza owa wansi (Ekiroobe ekya wansi ekya Mulowooza). Kino kye kitundu ekiri wansi ‘omutunsi gw’obwongo omusibuka okuwulira n’okujjukira. Biri mu mabbali (enjuyi) ga mutwe.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Specioza KazibwePhilippa Ngaju MakaboreBarbara KaijaBettinah TianahSusan Nalugwa KiguliJoyce BagalaNkikimboAmasannyalazeBakitiiriyaEkimuliJuliana KanyomoziKampalaEBISOKOAmambulugga34ZambiaEnjubaLugajambula (Predator)Justine NabbosaAligebbulaRakai (disitulikit)Ronald ReaganOkulima ebinyeebwaEKIKA KY'EMPEEWOBufalansaENNAKU MU SSABIITIEkinonoozo (Engineering)ENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBARomeJesu KristoDemocratic Republic of CongoBawala ba Maria, Bannabikira bwandaNambuluzo(Factors)Muwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaEppaapaaliKilimanjaroDonald TrumpMulyangogumuJosephine OkotMoses Magogo HassimOkwagala(Love)Uganda National Cultural CentreEddagala erigema olukusenseAngolaNigeriaOkuggyamu olubutoEnnyingo(Terms, nomials)Embeera y'obudde mu ugandaArgentinaEbikolwaLwaki Tukuuma Obuwangaaliro bwaffe(Why we should Protetct our Emvironment)Ekkuumiro ly'ebisolo erya BwindiJames OnenKatie KibukaEkibalanguloEnnambaAkatale k’omulimi ekikonoona biibinoEbyamalimiroAmaanyiAmazziEddagala eriyitibwa Mwambala zitonya🡆 More