Pancreatitis Obulwa Bw’akalulwe

Kino kitegeza kulwala kwa kalulwe] era ne kaba kakosefu nga tekakyasobola kukola bulungi mirimu gyako.

Enfaanana y’obulwadde buno

Akalulwe, katundu ka mubiri akasangibwa mu lubuto, emabega w’ebyenda era nga kakola ebirungo ebyenjawulo ebiyambako okugonza n’okukenenula emmere ng’etuuse mu lubuto.

Ebika n’obubonero

Obulwadde buno bulimu ebika eby’enjawulo, naye nga buleeta obubonero ng’okuwulira obulumi mu kabutobuto waggulu, okusinduukirirwa emmeeme, ssaako okusesema. Obulumi obw’amaanyi bwandyeyongerayo ppaka mu mugongo Ebirala ebitera okugoberera ebyo kuliko: okulwala omusujja, okuddukana, okuvaamu omusaayi, okulwala sukaali, sinakindi n’okukyankalana kw’ebitundu by’omubiri ebirala.

Ekibuleeta

Obulwadde bw’akalulwe obutera okumala akaseera akatono, buleetebwa nnyo okunywa ennyo omwenge. Mu birala mulimu, okufuna ekisagwo- gamba nga mu kabenje, eddagala erimu lye tukozesa, ebirwadde ebirala gamba ng’amambulugga(mumps) n’ebirala. Kyokka bw’obulwadde bw’akalulwe obutwala ekiseera ekiwanvu, butera kuleetebwa ebintu ng’okunnywa ennyo omwenge okumala emyaka egiwera, okubeera n’amasavu amangi mu musaayi, okubeera n’ekirungo kya “calcium” ekingi ennyo mu musaayi, eddagala erimu lye tukozesa n’ebirala. Naye ng’okunywa (okufuuweeta) ebintu nga sigala kye kisinga okwongera okukwatibwa obulwadde buno.

Enzijanjaba

Enzijanjaba y’akalulwe etera okuba ey’engeri ez’enjawulo, naye nga bwe kisukka batera okukalongoosa nebaggyako ebitundu ebiba biwadde ennyo. Obulwadde buno butera nnyo kusangibwa mu basajja okusinga mu bakazi. Era businga nnyo okukwata abantu okuva ku mwaka amakumi asatu(30) n’ana(40) era tebutera nnyo kusangibwa mu baana bato.

Tags:

Pancreatitis Obulwa Bw’akalulwe Enfaanana y’obulwadde bunoPancreatitis Obulwa Bw’akalulwe Ebika n’obuboneroPancreatitis Obulwa Bw’akalulwe EkibuleetaPancreatitis Obulwa Bw’akalulwe EnzijanjabaPancreatitis Obulwa Bw’akalulwe

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Rema NamakulaNabudde (Unit of time)Enzijanjaba y'OlukusenseAlice Komuhangi KhaukhaTogoBulaayaKatongaNigeriaMbazziOkuwandiika Baguma MuhendaEssomabuzaaleEkirwadde kya CholeraEkinonoozo (Engineering)DokoloDemocratic Republic of CongoChadKyendaYisaaka NetoniAlice KaboyoCleopatra KoheirweAsiaKamwenge (disitulikit)Ensenga yababundabunda KyangwaliMulyangogumuJustine NabbosaBarbara KaijaKkumi na mwendaObulwadde bw'Obutalaba biri walaCayinaEkirwadde ky’ebolaTtiimu ya Vipers SCBomboAbantuMaliENIMAWAEttalo(Septic arthritis)Michael EzraBeninSouth AfricaWashington County, MissouriEssomakumanya(Epistimology)Amasoboza ag'amasannyalazePhyllis ChemutaiSusan Nalugwa KiguliMooskoPowell County, KentuckyMariam NaigagaKayunga (disitulikit)Beti Kamya-TurwomweCleopatra Kambugu KentaroEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?Emmere gyoowa ebisolo n’ EbiriisaKibingo, KenyaBubirigiForceGallery GalschiøtKookolo w'EkibumbaKookolo w’omu lubutoKatie KibukaEmeere bugaggaEddiini ya BugandaEngozo n'Engolo(Cams and Cranks)🡆 More