Joshua Wanume Kibedi

 

Joshua Wanume Kibedi yazaalibwa nga 3 Ogwomunaana mu 1941, n'afa nga 13 Ogwomukaaga mu 2016 nga yali munamateeka omunayuganda, munabyabufuzi ate omukungu, eyawerezaako nga Minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga wakati wa 1971 Ogwolubereberye, ne 1973 Ogwolubereberye mu biseera by'emyaka egyasooka Idi Amin bweyali mubuyinza. Wabula, Kibedi yalekulira nga Minisita w'ensonga z'bweru w'eggwanga mu 1973 oluvannyuma lwa Amin okuta kojja we, Shaban Nkutu. Kibedi yagenda mubuwangaguse era n'afuula omu kubaali bakulembera okuvumirira obwanakyemalira bwa Idi Amin. Oluvannyuma yawerezaako ng'omubaka wa Uganda mu kibiina ky'amawanga amagate okuva mu 1986 paka 1988.

Ebimukwatako

Joshua Wanume Kibedi yazaalibwa mu Busesa, mu disitulikiti y'e Iganga, mutwale erikuumibwa Uganda, nga 3 Ogwomunaana mu 1941. Kitaawe, Elkanah Kibedi, eyali akulira esomero lya Busoga College Mwiri, yali omu kubasajja eyali omusoga okugenda okusoma. Kibedi yali omu ku bazzukulu abaali bava mu Baisemenhya, ekimu ku bika eby'esiimbu 11 eby'abantu abasoga. Ekika kya Baisemenhya eky'ensiimbu kiviira kigira ddala emirandira gyakyo mu famire y'abanyoro abeesiimbu.

Kibedi yasooka kusomera ku Busesa Primary school gyeyava oluvannyuma n'agenda ku Busoga College Mwiri okuva mu 1955 okutuuka mu 1960. Yagenda e Bungereza mu 1960 okutendekebwa gyebatambuliza eby'amateeka wansi wa Inn of Court, ekyamufuula munamateeka omukugu mu kooti ey'awagulu. Yakomawo mu Uganda mu 1960, era n'afuuka munamateeka omunayuganda eyasooka eyali akakasiddwa okuleeta emisango mu kooti y'omubuvanjuba bwa Afrika ejulirwamu. Mu by'obufuzi, yafuuka omu ku baali mukibiina kya Uganda People's Congress eky'eby'obufuzi

Kibedi yaweebwa omulimu gw'okubeera Minista w'ensonga z'ebweru w'eggwanga mu 1971 Ogwolubereberye mu bwangu ddala nga Idi Amin yali agiddwa mu buyinza mu lutalo lw'omuda mu ggwanga olwaliwo mu 1971. Mwanyina wa Kibedi, eyali mukyala w'omukulembeze tebiseera ebyo Mama Maryamu Kibedi Amin, yeeyali mukyala wa Idi Amin, ekyamufuula mukodomi wa wa Idi Amin. Mu 1972, Kibedi yawagira okusalawo kwa Idi Amin okw'okuwera abantu abaali basibuka ku semazinga wa Asia okuva mu ggwanga.

Mu 1973 Ogwolubereberye, abajaasi b'e Uganda nga bakulembeddwa, Kapiteeni Issa Habib Galungbe, baawamba kojja wa Kibedi, Shaban Nkutu, eyaliko Minista w'eby'obulamu okuva mu 1966 okutuusa mu 1967, okuva ku luguudo lw'e Scindia e Jinja,mu Uganda. Nkutu oluvannyuma yatemulya. Omulambo gwe oluvannyuma baguzuula muntaana eyali ejuddemu emirambo emingi mu 2005, oluvannyuma lw'emyaka 32 bukyanga yali awambibwa.

Minista w'ensonga z'ebweru w'eggwanga Kibedi yali agenda munkiiko z'aba Minisita w'ensonga z'ewabweru w'amawanga ezeetabibwamu abali mu kibiina ekigata amawanga ga Afrika olwali e Ghana on 11 January 1973, when he received confirmation that his brother-in-law, President Idi Amin, was responsible for the murder of his uncle. Mu kifo ky'okukomawo mu Uganda, Kibedi mubunambiro yalangirira okulekulira kwe okuva ku bwa Minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga ne ku kabineeti ya pulezidenti, nalangirira Amin ng'omusajja omukyamu era ow'amasitaani, olwo n'agenda mubuwangaguse mu Bungereza. Oluvannyuma famire ye yatulugunyizibwa, nekitykawo ne kubakyewagula abalala okwali; Emmanuel Blayo Wakhweya. Yafuna obutuuze mu London, n'afuuka eyalu akulembera abaali bavumirira n'okuwakanya obwanakyemalira bwa Idi Amin mu myaka gya 1970. Mwanyina wa Kibedi, eyali mukyala wa pulezidenti Maryamu Kibedi Amin, oluvannyuma yaduka mu ggwanga ng'ayitira Kenya mu 1973 wamu n'okulekulira abaana bbe nga bali ne Amin. Yasobola okudukira e Bungereza, ng'ayambibwako eyali omumyuka wa pulezidenti wa Kenya, Daniel arap Moi. Idi Amin yalangirira okwawukana kwe n'eyali mukyala we mukaseera katono oluvannyuma.

Kibedi tatandikawo okwenyigira mu mateeka okwaali okw'amaanyi, ng'akita mu kifo kye ekyali kiyitibwa Kibedi and Co. Advocates, ekyali kisinganibwa ku luguudo lwa High Street mu Lewisham mu London. Yakola nga ne kizibwe we ow'okubiri,omugenzi Kirunda Kivejinja, eyali akola n'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) eky'omunda, okulaba nga bawakanya obwanakyemalira bwa Idi Amin.

Mu gya 1980, Kibedi yawagira ekibiina kya National Resistance Movement, ekyali kikulemberwa Yoweri Museveni, mu biseera by'olutalo bwa Uganda olw'omunsiko nga bawakanya Pulezidenti Milton Obote. Ekibiina kya Museveni ekya NRM kyawangula olutalo nekigoba Obote okuva mu buyinza.

Mu 1986, Museveni yawa Kibedi ogw'okubeera omubaka mu kibiina ky'amawanga amagate, ekifo ky'omukungu kyeyalina okuva mu 986 paka 1988. Pulezidenti Museveni era yamuwa eky'okubeera omubaka wa Uganda mu Soviet Union mu 1990, naye Kibedi yagaana ekifo kino, ng'esira ayagala kuliteeka ku mirimu gye egy'okubeera mu namateeka.

Mu 2010, Kibedi yaweebwa Pulezidenti Yoweri Museveni ogw'okubeera ssentebe w'akakiiko adukanya abanoonya obubudamu n'okufuna obutuuze. Yakubiriza ng'enkiiko ez'aliko nga boodi y'abavunaanyizibwa ku banoonyi boobubudamu n'oufuna obutuuze okuva mu 2010 okutuusa mu 2014.

Yafiira mu ddwaliro lya St Thomas' Hospital mu London nga 13 Ogwomukaaga mu 2016, ku myaka 74, oluvannyuma lw'okubeera nga yali asiza ku byuma okumala enaku eziwerako. Yalina obulwadde obukwata amagumba wegagatira n'obwomu mawugwe. Kibedi yaleka mukyala we, Betty Wanume Kibedi, n'abaana baabwe mukaaga. Okufa kwe kwalangirirwa eyali omumyuka wa Minisita omugenzi Kirunda Kivejinja, eyali kizibwe bwa Kibedi ow'okubiri. Ebyasigalira bya Kibedi byakomezebwawo ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebbe nga 29 Ogwomukaaga mu 2016. Okusabira omwoyo gwa Kibedi kwakolebwa ku kanisa ya All Saints Cathedral mu Kampala, oluvannyuma n'azikibwa mu Busesa nga 2 Ogwomusanvu mu 2016.

Ebijuliriziddwamu

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Natasha Shirazi, omuwandiisi w’ebitaboOmusingi gw'Ebyenfuna(The Economic Base)OKULUNDA EBYENYANJACuritibaNakongezalinnyaEnsiGuluMooskoNepalNolweKakuutoKololiiniSudaaniEkikataSiriimuYugandaOkulima kasooliOmweziMaliMolingaKlaipėdaLeni ShidaEnkokoFinola HughesDjiboutiEnfikko(Remainder)Judith BabiryeEkibalanguloOlutiko (Mashroom)KamuliKaggoEnkakaAnita AmongEmpewo eya kiwanukaZari HassanCatherine BamugemereireOlujjuliroSouth AmericaAmambuluggaBbolomayini (Bromine)Akright CityUfaSsekabaka Mutesa IIEkigaji ddagalaSarah Nabukalu KiyimbaJinjaEssomampuyisatu (Trigonometry)Aisa Black AgabaVayiraasiEsigalyakagoloNabulya Theopista SsentongoBaskin-RobbinsYumbeEMMANUEL COLLEGE KAZO, KAMPALAKisubi kya kyaayiMoroccoAmakumi asatu mu nnya🡆 More