Politician Denis Obua

Denis Hamson Obua (yazaalibwa nga 6 Ogwokubiri 1980), Munnayuganda era Munnabyabufuzi, ye Minisita omubeezi ow'ebyemizannyo mu Kabineeti ya Uganda ng'abadde mu kifo kino okuva nga, 14 Ogwekkumineebiri, 2019. Era ye ow'essaza lya Ajuri County, mu Disitulikiti y'e Alebtong, mu Paalamenti ey'e 11 (2021- 2025).

Obuvo bwe n'eby'okusoma kwe

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Alebtong nga 6 Gwokubiri 1980. Yasomera mu ssomero lya Inomo Primary School, nga tanneegatta ku Lango College, mu Munisipaali y'e Lira, gye yatuulira S4 ne S6 n'afunayo satifikeeti okuli eyaUganda Certificate of Education (S4) mu 1997 n'eya Uganda Advanced Certificate of Education (S6) mu 1999.

Alina Dipulooma mu mateeka eya era alina ne satifikeeti mu byamateeka eby'obukulembeze eya Certificate in Administrative Law, nga zombi yazisomera mu ttendekero ly'amateeka erya Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Alina Diguli eya Bachelor of Arts in Social Work and Social Administration gye yasomera mu Uganda Christian University, e Mukono. Diguli ye eyookubiri eya Master of Public Administration yagisomera era n'emutikkirwa mu ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2016.

Emirimu gye

Okuva mu 2000 okutuuka mu 2003, Denis yaweebwa omulimu gw'obwakalaani wa zi kontulakiti mu kkampuni yaBritish American Tobacco. Mu myaka ebiri egyaddirira yaweereza ng'ow'amateeka mu kkampuni ya Atim and Company Advocates. Oluvannyuma yapangisibwa nga akulira ebyamateeka mu ofiisi y'Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, n'aweereza mukifo ekyo okuva mu 2005 okutuusa mu 2006.

Mu 2006, yalondebwa mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana (2006 - 2011), okukiikirira essaza lya Ajuri County, mu Disitulikiti y'e Alebtong. Abadde alondebwa emirundi egy'omuddiringanwa mu kifo ekyo omuli ekisanja kya 2011 - 2016, 2016 - 2021, era kati y'ali mu kifo ekyo.

Mu nkyukakyuka ezaakolebwa nga 14 Ogwekkumineebiri 2019, Denis Obua yalondebwa okubeera Minisita. Yadda mu bigere bya Charles Bakkabulindi, eyasuulibwa okuva mu Kabineeti. Oluvannyuma lw'okukakasibwa Paalamenti, n'alayizibwa nga Minisita omubeezi ow'ebyemizannyo nga,13 Ogwoluberyeberye 2020.

Famire ye

Denis Hamson Obua mufumbo.

Laba na bino

Ebijulizo

Ebijuliziddwamu eby'ebweru

Tags:

Politician Denis Obua Obuvo bwe nebyokusoma kwePolitician Denis Obua Emirimu gyePolitician Denis Obua Famire yePolitician Denis Obua Laba na binoPolitician Denis Obua EbijulizoPolitician Denis Obua Ebijuliziddwamu ebyebweruPolitician Denis Obua

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Kilembe, YugandaEkkuumiro ly'ebisolo erya BwindiOmusimbagalo=Omutangenta (Tangent function)TogoOkuwangaala mu LugandaBufalansaMariam LuyomboKaluleNabudde (Unit of time)Irene Ovonji-OdidaEritreaSenegalRwandaAbantuEnyanjula y’EntobaziUfaENIMAWAPaulo MuwangaSsekalowooleza KawumpuliIrene MuloniENGERO ZA BUGANDAGloria NansubugaEddy KenzoPeruMalawiEntababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)ZambiaEgyptOLWEZAEmbu z'EbigamboKookoweEnsengeka edda waggulu(ascending order)BuyonaaniEthiopiaJohn Chrysestom MuyingoMulalamaWikipediaBakakensa ba Buganda abedda (the Scientists and Philosophers of ancient BugandaSsekalowooleza Matayo Kisuule OmubunduLuandaMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaAkaziba ka ayidologyeni (hydrogen atom)CaayiBetty NamboozeEddagala erigema olukusenseTunisiaLugajambula (Predator)OlunyarwandaEsigalyakagoloAchia RemegioBugandaSalim SalehKkumi na mwendaTororo (disitulikit)Kazannyirizi(Character)Omwolola🡆 More