Ekibalangulo

Ekibalangulo (Mathematics)/ Ekibalo/Okubala (Math) kye kigambo ekivvuunula omulamwa gw'Olungereza :

Mu bufunze "ekibalangulo kifuuka "kibalo"(maths). Kokka era oyinza okukiyita "okubala" anti olulimi lugaggawala bigambo eby'enjawulo ebirina amakulu agaliraaniganye ennyo (synonyms). Gye bujja tujja kuwandiika enkuluze y'ebigambo by'Oluganda ebifaananya amakulu (thesaurus).

Omulamwa gw'ekibalangulo gutondeddwawo omunoonyerezi Charles Muwanga okuyita mu kakodyo k'enzimba y'emiramwa emiggya ak'okugaziya amakulu (semantic extension) g'ekigambo "ekibalangulo ekitegeeza "ekifo we baweesezanga oba we bawagalira ebyokulwanyisa omuli amafumu".

Okiraba nti ekigambo ekikulu mu kunnyonnyola ensibuko y'omulamwa gw'ekibalangulo kiri "kuwagala" , naye kati kuno kuwagala kwa bwongo , si mafumu. Noolwekyo 'ekibalangulo nga essomo kisonjolwa nga "essomo eriwagala obwongo nga lyogeza ennamba".

Singa oba oyagala okwogera ku "mathematician" mu Luganda ogamba "omubalanguzi" ate ebigambo ebirala ebyetaagisa mu sessomo ly'ekibalangulo biri:

  1. okubaza (to compute, to calculate) ,
  2. okubalangula (to calculate)
  3. Okubalanguza (to solve) ,
  4. Ekibalanguzo (formula),
  5. Ekibazo (mathematical solution , calculation).

Weetegereze bino:

  1. Ebigambo ebivvuunula "mathematics" bisigala bisatu:
    1. Ekibalangulo (as a subject that sharpens the mind)
    2. Ekibalo (Math , short for ekibalangulo)
    3. Essomakubala ( Mtahematics) ekitegeeza Ekibalangulo

Manya: Okubala = to count

  1. Ebigambo ebirala ebyetaagisa okukozesebwa mu Luganda olubalanguzi mulimu:
    1. Oluganda olubalanguzi (mathematical Luganda)
    2. Ekikunizo (any mathematical problem)
    3. "okusonjola" (to simplify a mathematical expression)
    4. "Omweyoleko" kyo kitegeeza "mathematical expression".

Weetegereze:

  1. Ekibalangulo (mathematics), ekibalanguzo (formula)
  2. Omubalanguzi (mathematician)
  3. Okubalangula (to calculate), Okubalnguza (to solve), okubaza (to calculate or to solve)
  4. Ekikunizo (mathematical problem), akakunizo (puzzle)
  5. Okusonjola (to simplify a mathematical expression)
  6. omweyoleko (mathematical expression)
  7. enkyusibwo oba enkuumakifo (variable)
  8. entakyuka (constant). entakoma (infinity)

Weetegereze bino:

  1. Ebigambo ebivvuunula "mathematics" bisigala bisatu:
    1. Ekibalangulo ( as a subject that sharpens the mind)
    2. Ekibalo (Math , short for ekibalangulo)
    3. Essomakubala (Mathematics) = Ekibalangulo
  2. Ebigambo ebirala ebyetaagisa okukozesebwa mu luganda olubalanguzi mulimu:
    1. Oluganda olubalanguzi (mathematical Luganda)
    2. Ekikunizo (any mathematical problem)
    3. "okusonjola" (to simplify a mathematical expression)
    4. "Omweyoleko" kyo kitegeeza "mathematical expression".

Weetegereze:

  1. Ekibalangulo (mathematics), ekibalanguzo(formula)
  2. Omubalanguzi (mathematician)
  3. Okubalangula (to calculate),Okubalnguza (to solve), okubaza (to calculate or to solve)
  4. "Ekikunizo" (mathematical problem) kyokka "akakunizo" (puzzle)
  5. Okusonjola (to simplify a mathematical expression)
  6. omweyoleko (mathematical expression)
  7. enkyusibwo oba enkiise (variable)
  8. entakyuka (constant) kyokka entakoma (infinity)

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Lutikko ya NamirembeOBUKOOLUSENKEEbiwangaaliro (Habitats)Akatiko akabaalaEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiGavi (footballer)17Okuggyamu olubutoTrindadeEthiopiaEbyafaayo bya UgandaSudanRachael MagoolaOmuchungwaBrasilBobiKizito omuto omujulizi omutuukirivuAsiaEnduli oba enkoloEkitontoKirinnyaEbitundu by'Ekimera (the Parts of a Plant)Phiona MutesiJuliana KanyomoziEbyobuzibaDavid LutaloLucy AkelloNovosibirskSayansi w'EbyamalimiroDdaazaDerrick NyekoBaibuliNandagire Christine NdiwalanaOkugwamu amazziAnna Ebaju AdekeAkaziba ka Keriyamu(Helium atom)Grace IbingiraMilton OboteOkucaafuwaza Amazzi91.3 Capital FM🡆 More