Zaitun Driwaru: Munnabyabufuzi omunnayuganda

Zaitun Driwaru yazaalibwa 10 Ogwekkuminebiri 1977, munayuganda omusomesa w'essomero era munnabyabufuzi.

Yaweerezako ng'omubaka Omukyala owa disitulikiti eye Yumbe mu palamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi (2016-2021).

Ebyafaayo n'okusoma

Driwaru yazaalibwa 10 Ogwekkuminebiri 1977. Yasomera mu Arua Hill Primary School, mu kibuga Arua, ekibuga ekisinga obunene mu kitundu kya West Nile. Yatikirwa mu 1991 era n'aweebwa ekifo ku Mvara Secondary School mu Arua. Yafuna Uganda Certificate of Education (O-Level) ne Uganda Advanced Certificate of education (A-Level), okuva mu Mvara, mu 1995 ne 1999.

Yaweebwa ekifo ku Muni National Teachers College, gye yafunira Diploma mu Secondary Education, mu 2002. Mu 2005, yattikirwa mu Islamic University mu Uganda, ne diguli esooka mu Public Administartion.

Emirimu

Nga tannagenda mu by'obufuzi

Okuva mu 1999 okutuuka mu 2001, yali avunaanyizibwa ku bitundibwa mu Bata Uganda. Oluvannyuma yakolako ng'omusomesa owa sekendule ku Aringa Secondary School, mu kibuga Yumbe. Oluvannyuma yaweereza ng'omukugu ow'enkulaakulana mu gavumenti z'ebitundu mu disitulikiti eye Yumbe okuva mu 2006 okutuuka mu 2011.

Nga munnabyabufuzi

Mu kulonda kw'olukiiko lw'eggwangaolukulu okwa 2016, Zaitun Driwaru yavuganya ku kifo ky'omubaka Omukyala akiikirira disitulikiti eye Yumbe. Yavuganya nga atalina kibiina kyabyabufuzi. Driwaru yawangula Avako Naima Gule, ow'ekibiina ekifuzi ekya National Resistance Movement, eyali omubaka wa palamenti mu kiseera ekyo. Driwaru yafuna obululu 32,504 ate Naima n'afuna obululu 24,394.

Mu Palamenti ey'ekkumi, ali ku kakiiko k'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo n'akakiiko ka Palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti. Era memba mu Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA). Zaitun Driwaru memba omujuvu mu kibiina ekyatandikawo Uganda Muslim Supreme Council (UMSC).

Laba era

Ebyawandiikibwa


Enkolagana ez'ebweru

Tags:

Zaitun Driwaru Ebyafaayo nokusomaZaitun Driwaru EmirimuZaitun Driwaru Laba eraZaitun Driwaru EbyawandiikibwaZaitun Driwaru Enkolagana ezebweruZaitun Driwaruen:Parliament of Ugandaen:School teacheren:Yumbe District

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Guinea-BissauKampalaEdith Mary BataringayaBaibuliVladimir PutinAluminiyamuEkizungirizi(Rocket)NnamusunaBukiikakkono(North)Walifu y'OlugandaJoe Oloka-OnyangoZimbabweJinjaAmakumi asatu mu bbiriVictoriaOlubuto olwesibyeSouth SudanEmmunyeenyeRobert KayanjaFinilandiEbisaEssikirizo (Gravity)KyakyuAkafuba bulwaddeEKIBWANKULATANapooleon BonapatObuwakatirwaAlex MukuluNzikiriza ey'eNiceaOkubalaLatviaAmakumi asatu mu mukaagaEddagala erigema omusujja gw’Omu byendaKokoloAdolf HitlerOkunywaNsanvuRigaCayinaBbaaleEnjobeBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abedda(The Great Thinkers of Ancient Buganda)Eripuso(ellipse)TokyoVilniusNnyaHardin County, KentuckySusan NsibirwaEkibalanguloKkumiCape VerdeEndwadde y’omutimaEnsiKasawo26Nzikiriza y'AbatumeAmaanyi g’EnjubaKabakaManjeri KyebakutikaVayiraasiGambia🡆 More