Walifu Y'oluganda

Waliifu y’Oluganda kye kipande ekiraga ennukuta abiri mu omukaaga ez’eyambisibwa mu kuwandiika Oluganda era nga ze zino:

A E I O U
W Y C H ŋ
B P V F M
D T L R N
Z S J G K
NY

Weetegereze: Newankubadde ng'entereeza y'ennukuta eyo eyitibwa Walifu y'Oluganda, Oluganda lulina waliifu y'anjawulo ku y'olungereza. Okugeza, olungereza teluyina nyukuta ey'ekumi mu waliifu y'oluganda. Walifu Oluganda n'Olungereza ze lukozesa ya Kirooma era ekozesa ennukuta ze zimu. Entereeza y'ennukuta eyo egeegeenya bifo ewaatulirwa enjatula ey'ennukuta ezo. Omuntu bw'ategeka ennukuta ezo mu ntegeka ey'e Kingereza aba mutuufu ddala.

Walifu y’Oluganda eyawulwamu ebitundu ebikulu bibiri; i)Ensirifu ii)Empeerezi

EMPEEREZI

Zino ziyitibwa ennukuta empeerezi olw’ensonga nti ziweererwa ennukuta ensirifu ne ziziyamba okukola amaloboozi era nga ze zino:

a e i o u

ENSIRIFU

Ennukuta zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti singa zibeera tezongeddwako nnukuta empeerezi zibeera tezivuga oba nga tezivaamu ddoboozi. Ennukuta ensirifu ze zino wammnga:

W Y C H NG'
B P V F M
D T L R N
Z S J G K
NY

Wabula, ennukuta ensirifu twongera ne tuziggyamu ebika ebirala bibiri okuli:

  • Nakinnyindwa
  • Nampawengwa

Nakinnyindwa

Zino zibeera nsirifu nga mu kwatulibwa kwazo omukka gufulumira mu nnyindo era nga kwe kuva erinnya Nakinnyindwa. Mu zo mulimu zino wammanga: m , n , ny ne ng'

Kigenderere nti ennyukuta ng' ewandiikiddwa bw'etyo lwa nsonga nti wano wazibu okulagirawo akabonero kaayo akatuufu.

Nampawengwa Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga tezirina we zigwa watuufu. Kino kitegeeza nti ennukuta zino zisobola okukola ng'ensirifu ate era ng’empeerezi nga kino kisinziira ku kifo we zibeera mu kigambo. Ennukuta zino ze zino wammanga: w ne y.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Glanis ChangachirereOmwenkanonkanoFinilandiNakasigirwaOmumbejja Elizabeth ow'e TooroEnnambaEnzikuTogoComorosUruguayRwashaBubirigiOmweziJudith AlyekMariam Naigaga27Eryokanga n’etonyaBarbara KaijaKirinnyaSsatuSeychellesPolycarp NyamuchonchoSaratovNamibiaWinnie KiizaMills County, TexasWOUGNETEBYENYANJA OMUNTU YENNA OSOBOLEERA DALA OKUBILUNDIRA AWAKA NGA AKOZESEZA PIIPAZeeroNnyaBeatrice Atim AnywarSouth AfricaEmbu z'AmannyaNational Resistance MovementOkwenyika omutimaWinnie ByanyimaAustralia (ssemazinga)Betty NamboozeEkitonto ddagalaLydia MugambeShamim MalendeAmasannyalazeAchia RemegioOMWETANGOAmabwa agatawonaAkataffaaliKkumi na munaanaSsekabaka Mutesa IIIsilandiEssomamawangaOmusanaYirediyaamu (Irdium)BaibuliEkigeranyabuddeYitaleKakadde kamuRwandaOmuntu kalimageziKimakaBarbie KyagulanyiBbayo GgaasiBulungibwansiEnsolo LubbiraUfaJohn Ssenseko KulubyaVladimir Putin🡆 More