Disitulikit Wakiso

Disitulikiti ye Wakiso disitulikiti eri mu kitundu kya masekkati ga Uganda ng'ekitundu kyetoolodde Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.

Akabuga Wakiso kye kifo kyekitebe kya disitulikiti eno. Kira, ky'ekibuga eky'okubiri ekinene emabbali w'ekibuga Kampala kiri mu disitulikiti.

Ekifo

Disitulikiti eye Wakiso eri mu masekkati g'kitundu ekye ggwanga, eriraaniganye Disitulikiti y’e Nakaseke ne Disitulikiti y’e Luweero mu Obukiika kkono, Disitulikiti y’e Mukono mu Obuvanjuba, Disitulikiti y’e Kalangala mu nnyanja Victoria mu bukiikaddyo, Disitulikiti y’e Mpigi mu Obukiikaddyo bw’amaserengeta ne Disitulikiti y’e Mityana mu bukiikakkono bw’amaserengeta. Wakiso ekitebe kya disitulikiti we kiri, kisangibwa kilomita 20 (12 mi), ku luguudo, mu bukiikakkono bw’amaserengeta ga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era nga kye kibuga ekisinga obunene mu ggwanga. Ebikwaso bya disitulikiti eno bye bino:00 24N, 32 29E.

Ebikwata ku bungi bw’abantu

Mu 1991, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwabalirira nti omuwendo gw’abantu mu disitulikiti yali 562,887. Okusinziira ku miwendo gy’okubala abantu mu ggwanga mu mwaka gwa 2002, Disitulikiti y’e Wakiso yalimu abantu 907,988, ekigifudde disitulikiti eyookubiri mu ggwanga. Mu kiseera ekyo, abantu 53 ku buli 100 baali baana abali wansi w’emyaka 18 ate 17 ku buli 100 baali bamulekwa. Okunoonyereza okwakolebwa mu ggwanga lyonna n’amaka mu 2014 kwabala abantu 1,997,418 mu disitulikiti eno. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS), kyabalirira nti omuwendo gw’abantu bonna mu disitulikiti eno, okutuuka mu makkati g’omwaka 2020 gwali 2,915,000. UBOS era yabalirira nti omuwendo gw’abantu mu disitulikiti gweyongera ku kigero kya buli mwaka ekya bitundu 6.7 ku buli 100, wakati wa 2014 ne 2020. Template:Historical populations

Ebitongole ebiddukanya emirimu

Disitulikit Wakiso 
Oluguudo lwa Bombo e Matugga - Mabanda (Disitulikiti y'e Wakiso)

Disitulikiti y’e Wakiso erimu amagombolola abiri ne munisipaali: Kyadondo County, Busiro County. Ekibuga Entebbe kyakutulwamu ne kiweebwa ekitiibwa ky’ekibuga mu 2020. Disitulikiti eno eyongera okugabanyizibwamu ebitundu bino wammanga ebiddukanya emirimu:   Ekitebe kya disitulikiti eno kiri mu kibuga Wakiso, nga 20 kilometres (12 mi) obukiikakkono bw’amaserengeta ga Kampala ku luguudo olukulu olugenda e Hoima . Disitulikiti y’e Wakiso erimu obuwanvu bwa 2,704 square kilometres (1,044 sq mi) .

Obukulembeze bwa disitulikiti

Obukulembeze bukwasiddwa olukiiko olufuzi olwa Disitulikiti, olulimu:

  • Ssentebe wa Disitulikiti
  • Omumyuka wa Ssentebe wa Disitulikiti
  • Omuwandiisi wa Disitulikiti avunaanyizibwa ku by’ensimbi
  • Omuwandiisi wa Disitulikiti avunaanyizibwa ku by'obugagga eby’omu ttaka
  • Omuwandiisi wa Disitulikiti avunaanyizibwa ku nguudo n’eby’ekikugu
  • Omuwandiisi wa disitulikiti Ekikula ky’abantu
  • Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti
  • Amyuuka omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti

Ebifo eby’obulambuzi mu disitulikiti eno mulimu:

Laba ne

Ebijuliziddwa

Ebiyungo eby’ebweru

Tags:

Disitulikit Wakiso EkifoDisitulikit Wakiso Ebikwata ku bungi bw’abantuDisitulikit Wakiso Ebitongole ebiddukanya emirimuDisitulikit Wakiso Obukulembeze bwa disitulikitiDisitulikit Wakiso Laba neDisitulikit Wakiso EbijuliziddwaDisitulikit Wakiso Ebiyungo eby’ebweruDisitulikit WakisoDisitulikiti mu YugandaKampalaKira, YugandaWakiso Townen:Central Region, Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Bowie County, TexasEnsibukulaNovorossiyskThe concepts necessary for Luganda scientific discourse on motionObwetoloovu (Circumference)Shelby County, TexasEmpewo eya kiwanukaBikumi binaSsekabaka Daudi Cwa IILisangá lya Bikólo bya Molɔ́ngɔ́EMMYEZIEkirwadde kya CholeraEnjatuzaNakasigirwaEkirembewazo n'ekirembewazi(Police Department and Police Station)LilongweNakongezalinnyaMauritaniaJapanHarriet BusingeAlgeriaAmelia KyambaddeEkibumbaKandikaEbirogologoMadagascarFrank KalandaNooweRubirizi (disitulikit)CuritibaSeychellesMills County, TexasBaltic SeaOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiWarszawaJessica KayanjaAntimoni (Antimony)Undercover Brothers UgDavid WoodardMonica MuseneroSiriimuEssomabiramuMutwalo gumuDong HoiEnkokoYokohamaSão Tomé and PríncipeMbazziRwandaHo Chi Minh CityFreda Mubanda KasseSarah Kayaki NetalisileWinnie ByanyimaKamunyeEntaseesaBarbara Kaija🡆 More