Tereza Mbire

Tereza Mbire era amanyiddwa nga Mama Mbire; yazaalibwa nga 25 Ogwekkuminebiri 1934.

Munayuganda omutandisi w'emirimu,omuwabuzi wa Pulezidenti era omulwanirirzi w'enkola. Y'omu ku batandisi ba Uganda Women's Finance and Credit Trust era y'omu ku baasookawo ekitongole ekiyitibwa Uganda Women Entrepreneurs' Association Ltd.

Ebyafaayo

Mbire yatandika okusoma mu Butare Primary School n'agenda mu Rushoroza Girl's School mu siniya. Oluvannyuma yatendekebwa ng'omusomesa mu Kinyamasika Tereza college. Mbire yatandika bizineesi ye eyasooka nga wa myaka 19 ng'omusomesa w'essomero erya pulayimale mu disitulikiti eye Kabale, ng'akola engoye oluvannyuma lw'essomero.

Yaleka omulimu gwe ogw'obusomesa asobole okukozesa sikaala Israel gye yali awadde abantu okutendekebwa mu by'okuddukanya wooteeri. Yamala emyaka 2 mu Yisirayiri, n'afuna dipulooma mu wooteeri n'obukulembeze bw'eby'obulambuzi okuva mu wooteeli ya Tadmora mu Tel Aviv.Oluvannyuma lw'okuva mu Yisirayiri, Mbire yafuuka omufirik aasooka okukulira abalabirira ennyumba mu Apollo Hotel (kati eyitibwa Sheraton Hotel mu Kampala), gye yakolera okutuusa mu 1973. Oluvannyuma yeegatta ku Uganda Hotels n'afuuka omutendesi w'eggwanga lyonna okumala emyaka esatu.

Mbire yafuna ekirabo ky'oba Pulofeesa okuva mu United Graduate and Seminar of America era yafuna n'ekirabo eky'obwa Dokita okuva mu Yunivasite ya Nkumba mu 2008.

Mu ngeri y'emu, yatandikawo edduuka ly'ebimuli, Kampala florist, n'afuuka omutunzi w'ebimuli eyasooka era yekka mu Uganda okumala emyaka nga 15.

Oluvannyuma yatandikawo edduka ly'engoye eriyitibwa Pop-in industry, ekkolero eryatunganga engoye z'abakyala, naye yawalirizibwa okukyusa bizineesi oluvannyuma lw'abaserikale ba Idi Amin okunyaga ebyalaani bye 100 ekyaviirako abakozi 200 ne Mbire okubulwa emirimu.

Mbire yatandikawo "Home pride", ekkolero ly'emigaati eryali erisooka okuleeta emigaati egisaliddwa mu Uganda.

Oluvannyuma yatandika enkola ey'okutimba ebizimbe munda ne "Habitat interiors" ng'akozesa obumanyirivu bwe yalina mu kuteekateeka ebisenge mu Sheraton Hotel.

Mbire, wamu ne Ms Ida Wanendeya, Justice Mary Maitun, ne Ms Mary Mulumba, baatandikawo Uganda Women's Finance and Credit Trust nga balina ekigendererwa eky'okuwa abantu looni ezitaliko musingo kubwereere naddala eri bamufuna mpola n'okusinga abakyaala abatalinanga musingo yadde.

Mbire yafuna awaadi y'ensi yonna olw'abakyala abatandisi b'emirimu mu nsi yonna okuva mu kibiina The Star group of America era yafuna ekitundu kya World of Difference Award mu International Global Alliance of Women Global Forum mu Washington DC.

Era yasiimibwa Paapa Francis mu 2021 olw'omulimu gwe mu Kkanisa y'Abakatuliki.

Obulamu bwe

Mbire yafumbirwa Possiano Mbire nga balina abaana 6 n'abazzukulu 10. Omwami we yafa mu 1985.

Oluyimba "Maama Mbire" olwa Bobi Wine ne Juliana Kanyomozi lwali lumuweerezedwa okuva eri mutabani we Charles Mbire ng'ajaguza amazaalibwa ge ag'emyaka 70 mu 2004.

Ebyawandiikibwa

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

NabuzimbeJosephine Nambooze omusajja omulalaEnsibukulaEthiopiaEnnambaMauritiusTogoKandidaOmuntu kalimageziVilniusEssomampuyisatu (Trigonometry)Agago (disitulikit)BuyonaaniAkafubaObwetoloovu (Circumference)Kadimiyaamu(Cadmium)Ensengekera z'entababutonde(Ecological systems)Sierra LeoneHo Chi Minh CityKookolo w’omu lubutoBrasilWOUGNETSudaaniSouth SudanMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaSão Tomé and PríncipeMoroccoOkuggyamu olubutoGautama BuddhaEnzirukanya y'ekitongole ey'Omupango (Strategic Management)PolotozoowaEmpewo eya kiwanukaRose AkolSantiago, ChileLusanvuAngolaAseniki (Arsenic)PeruCuritibaOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiNzikiriza ey'eNiceaFrank KalandaSouth AmericaParisDuval County, TexasOmwenkanonkanoBarlonyoJane Frances AbodoOkuzaala omwana omufuEngozo n'Engolo(Cams and Cranks)KisoziNakongezabwangu (Catalyst)Kerr County, TexasEnkokoEsteri TebandekeNamungina z'ebipimoCameroonEbirwaza(Diseases)Seziyaamu (Cesium)Kandika🡆 More