Sylvia Muzila

 Sylvia Muzila yadira James Kgalajwe mu bigere ku bwa Meeya bwa Francistown wabula naye oluvannyuma n'avaawo Godsang Radisigo n'adda mu kifo kye.

Yaliko kansala ow'enjawulo ku kakiiko ka Francistown.

Ebimukwatako:Yazalibwa Sylvia Tabitha Nlea mu Dombodema ekya Zimbabwe

Ekibiina kye eky'eby'obufuzi:Botswana Democratic Party (BDP)

Alma mater: Yunivasite ye Birmingham

Ebimuwereddwa: Botswana Presidential Order of Meritorious Seravice mu 2005

Sylvia Muzila gwebatera okuyita Sylvia Tabitha Muzila née Nlea munabyabufuzi wa Motswana nga ye meeya omukyala eyasooka mu kibuga kya Francistown ekya Botswana. Alina akakwate ku kibiina kya Botswana Democratic Party (BDP), nga yalondebwa mu 2014 okutuusa mu 2019. Muzila era y'omu kubakazi abaasooka okwegata ku poliisi ya Botswana.

Ebyafaayo n'obuyigirize

Muzila yazaalibwa Sylvia Tabitha Nlea mu Dombodema, Zimbabwe. Alina diguli mu Urban Development ng'oggyeeko diguli ya Master's of Social Science in Development Administration gye yafuna mu 1989 okuva ku University of Birmingham mu Bungereza.

Omulimu

Muzila y'omu ku bakazi omunaana abaasooka okwegatta ku poliisi ya Botswana mu Francistown mu 1971 gye yava mu 1978 Oluvannyuma yeegatta ku Selebi Phikwe Town Council ng'omuwandiisi w'ebitundu n'oluvannyuma n'atwalibwa mu Self Help Housing Agency (SHHA). Oluvannyuma lw'okusoma Masters, yaweereza ng'omukungu w'amayumba mu minisitule y'ettaka n'amayumba mu Botswana.

Wakati wa 1996 ne 2008, Muzila yali kamisona wa Disitulikiti, eyasooka ku Gaborone, nga tannalondebwa ku Kweneng, mu bukiikakkono bw'ebuvanjuba n'oluvannyuma ku Francistown mu 2008.

Muzila yeegatta ku byabufuzi mu 2008. Mu Ddesemba 2014, ku tikiti y'ekibiina kya Botswana Democratic Party (BDP), Muzila yalondebwa nga tavuganyiziddwa okumala emyaka ebiri n'ekitundu egyasooka ng'omukyala asooka okubeera Meeya wa Francistown oluvannyuma lw'abakungu b'ekibiina abalala okuva mu mpaka z'omukulu w'ekibuga. Yaddamu okulondebwa nga tavuganyiziddwa ku kifo kye kimu mu 2017

Era ye nnannyini Thabitha Secondary School mu Francistown.

Obulamu bw'omuntu

Muzila yafumbirwa Robert Muzila, kansala wa Francistown, gwe yagattululwa mu 2009

Empeera

Muzila yaweebwa ekiragiro kya Botswana Presidential Order of Meritorious Service mu 2005.

Laba ne

Ebijjuliziddwa

Tags:

Sylvia Muzila Ebyafaayo nobuyigirizeSylvia Muzila OmulimuSylvia Muzila Obulamu bwomuntuSylvia Muzila EmpeeraSylvia Muzila Laba neSylvia Muzila EbijjuliziddwaSylvia Muzila

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Namirembe BitamazireDavid WoodardKamunyeEkitangaalaKilimanjaroKatongaOmweziLydia MugambeSierra LeoneAgnes AmeedeMediterranean SeaBakitiiriyaCleopatra Kambugu KentaroFreda Mubanda KasseEmbizzi nziriisa ntya bulungiRomeSsekabaka Mutesa IIYisaaka NetoniEkirwadde ky’ebolaKyotoKerr County, TexasLipscomb County, TexasKaberamaido (disitulikit)NooweMariam NaigagaKlaipėdaEMPEEKERA NNAKONGEZAKIKOLWACatherine ApalatBbayo GgaasiEthiopiaSouth AfricaAmaaso agaleeta ebinyinyiReverse transcriptaseHarriet NtabaziEbirwaza(Diseases)Ekiyaayaano ky'ObusannyalazoBubirigiWOUGNETKigaliKabojjaAntimoni (Antimony)Lantanaamu(Lanthanum)ObuwakatirwaPichilemuNepalEnzijanjaba y'OlukusenseZzaabuEntababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)CuritibaMadagascarŤhomas B. ŤayebwaThe concepts necessary for Luganda scientific discourse on motionMowzey RadioKampalaMaliImmaculate AkelloAllen KaginaEnnima ey'obutondeOlupapula OlusookaKotido (disitulikit)Amakumi ataanoLesotho🡆 More