Stella Nyanzi: Musawo, mulwaniririzi wadembe ly'abuntu, munabyabufuzi, mutotomi ate nga wakumitibangano

  Stella Nyanzi yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 16 mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 1974 munayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'abantu, omuwandiisi w'ebitontome, yasoma eby'obulamu bw'abantu n'enddwadde ezibeeba zibaluma okulwanirira eddembe ly'abakyala, munamateeka alwanirira eddembe ly'abantu mukugu mu by'okwegata, ebya kizaala gumba n'eby'obulamu bw'abantu.

Yakwatibwa mu mwaka gwa 2017 olw'okuyisaamu amaaso omukulembezze w'eggwanga lya Uganda.Mu mwezi oguysooka mu mwaka gwa 2022, yakirizibwa okubeera mu ggwanga lya Girimaani kunteekateeka y'abawandiisi abali mu buwangaguse edukannyizibwa PEN Germany, n'abaana bbe abasatu .

Okusoma kwe

Nyanzi yafuna diguli ye mu Arts mu by'amawulire ne mu by'okuwandiika okuva mu setendekero lye Makerere gyeyasomera okuviira ddala mu mwaka gwa 1993 okutuusa mu mwaka gwa 1996. Yafuna diguli ye ey'okubiri mu bya sayaansi mu by'okumannya eby'obulamu bw'abantu n'enddwadde ezibaluma okuba mutendekero lya University College London, gyeyasomera okuva mu mwaka gwa 1999 okutuusa omwaka gwa 2000. Yafuna diguli ye ey'okusatu mu by'okumannya eby'obulamu bw'abantu okuva muytendekero lya London School of Hygiene and Tropical Medicine, gyeyasomera ebikwata ku by'obulamu obwetoolodde eby'okwegata n'abavubuka n'eby'obulamu okuva mu mwaka gwa 2003 okutuusa mu mwaka gwa 2008.

Nyanzi yakomekereza okunoonyereza ku bikwatagana ku by'okwegata mu bavubuka mu Uganda ssaako nemu ggwanga lya The Gambia mu mwaka gwa 2005.

Emirimu gye

Nyanzi yatqndika emirimu gye mu mwaka gwa 1997 ng'akola gwakunoonyereza ku byasayaansi mu nga 'social science research associate' ku Medical Research Council (UK) Programme mu Uganda, gyeyakolera okutuusa mu mu mwezi gw'omwenda mu mwaka gwa 2002. Yafuna ekifo ekipya ng'akola ng'omunoonyereza ku by'obulamu bw'abantu mu ''Medical Research Council Laboratories'', The Gambia, gyeyakolera okumala omwaka gumu oluvannyuma n'alekulira. Yalekulira ekifo ekyo okusobola okumaliriza diguli ye ey'okusatu mu kibuga London.

Mu mwaka gwa 2009, Nyanzi yatandika ku pulojekiti kusentendekero ly'e Makerere ng'omunoonyereza ku by'amateeka, eby'ekikula ky'abantu wamu n'okwegata mu by'obufumbo, ng'omu kubeekitongole ky'amateeka gyeyakolera okutuusa mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2013. Yakole ng'omunoonyereza mu tendekero lya Makerere Institute of Social Research okutuusa mu mwaka gwa 2016. Ng'ali eyo, yasabibwa okusomesa mu pulogulaamu empya eya diguli ey'okusatu eyali eyitibwa Mamdani PHD Project, wabula n'agaana. Ofiisi ye baagigala era ng'eky'okulabibwako ekyali mu buvanjuba bwa Afrika gyebaali bagoberera eby'okulwanirira eddembe ly'abakyala ng'omukugu Naminata Diabate kyeyayita " obubaka obutayambadde" yeekalaakaasa nga tayambadde eri eyali mukamaawe .

Oluvannyuma lw'okukwatibwa mu mwaka gwa 2017, Nyanzi yayimirizibwa obutaddamu kukolera kusetendekero ly'e Makerere yasaayo okusaba kwe eri mu kakiiko ka setendekero ly'e Makerere akakola ku by'emisango akakikyusa nekagamba adizibwe mu kifo kye kyeyali akolamu , n'akuzibwa okubeera omunoonyereza ekyalina okukolebwa mu bwanguddala, n'asasula emisaala gye gyonna. Yunivasite yagaana okugoberera okusalawo kw'akakiiko kaayo akajulirwamu, era n'awaaba omusango mu kooti ng'asaba okudizibwa omulimu gwe n'omusasulwa . Mu ku muddamu, mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2018, yunivasite yamugoba n'abalala 45 ng'egamba endagaano ye yali eweddeko.

Nyanzi akozeeko n'emirimu gy'okwebuzibwako mu bitongole by'okunoonyerezaako ebiwerako wabweru a Uganda n'eggwanga lya The Gambia.

Okunoonyereza

Nyanzi alina obukugu mu by'akola ng'awandiise engero za emirundi 61 n'eby'oba olina okugobereera okuva mu butabo 2,049 wetwatukira mu mwezi ogw'okutaana mu mwaka gwa 2022. Ng'otunulidde engero zebasinga okwetanira zeeziri kungeri abavubuka ba Uganda gyebatesaamu ku by'okugenda mu by'omukwata nadala mu by'okwegata, eneeyisa eri okukeberebwa oba balina akawuka kamukemeya nadala eri abakyala abasuubirirwa okuzaala oba abalina embuto, Abakyala okuva mu Uganda engeri gyebeefugamu nga kituuse ku by'okwegata , Abasajja b'e Uganda engeri gyebeeyisaamu nga kituuse ku by'okukozesa obukerenda obwa kizaala gumba , neeneeyisa n'ebibinja ebingi wekituuka ku by'okwegata. y'omu kubakugu abaasoka okuwandiika n'okufulumya ebikwatagana ku bui bw'ebisiyaga ku semazinga wa Afrika.

Okulwanirira eddembe ly'abantu

Nyanzi akola abakugu kyebayita "radical rudeness," engeri y'abayuganda ey'obuwangwa mwebayita okutegeeza abantu abaamaanyi okulaga nti bayisiddwamu amaaso. Kyatandikibwawo mu biseera by'amawanga bwegaali gafugibwa abazungu nga engeri y'embi gyebaali bayisaamu abantu, obutabanguko, okutaataganya n'obutali butebenkevu ekyamenya omukwano kw'abafuzi bamatwale, enkolagana n'okuganyulwa mu byebaali baleese."

Nyanzi alwaniridde eddembe ly'abakyala mu Uganda , abavubuka n'abantu aba LGBTQIA+.

Ng'enaku z'omwezi 6 mumwezi ogw'okusatu mu mwaka gwa 2017, Nyanzi yatongoza pulojekiti eyali eyitibwa 'Pads4girlsUg', nga yali akwatiddwako nnyo ku baana aboobuwala abaali balemeddwa okusoma olw'okubeera nga baali tebasobola kufuna oba kugula bikozesebwa nga bagenze munsonga z'ekikyala. Yakungaanya ebikozesebwa ebisoba mu lukumi ebyali bisobola okukozesebwa emirundi egiwera, n'abigabula abaana abawala abagenda kumasomero nga kuno kweyateeka n'okubabulirira ku bikwatagana ku by'okugenda munsonga z'ekikyala.

Okukwatibwa

Mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka gwa 2017, Nyanzi yayita pulezidenti Museveni nga bweyali afaanana amatako "a pair of buttocks."

Ng'enaku z'omwezi 7 mu mwezi ogw'okuna, mu mwaka gwa 2017, Nyanzi yakwatibwa n'agalirwa poliisi ya Kiira nga bamuvunaana olw'okukozesa obubi emikutu gy'emitimbagano n'okubeera nga yakozesa olulimi olukyamu. Ng'enaku z'omwezi 10, mu mwezi ogw'okuna mu mwaka gwa 2017, yaleetebwa mu kooti gyeyavunaanibwa ogw'okukozesa obubi ebyuma bikalimagezi oba kompuyuuta, n'okuweebuula emikutu gya yintaneeti nga kuno kwekwali n'okufuma pulezidenti wansi w'akawaayiro namba 24, ne 25 akakwata kunkozesa embi ey'akawayiro ka kompuyuuta akafulumizibwa mu mwaka gwa 2011. Yatwalibwa mu komera ly'e Luzira. Ng'enaku z'omwezi 11 mu mwezi ogw'okuna mu mwaka gwa 2017, abasawo okuva mu ddwaliro ly'abalwadde b'emitwe ery'e Butabika baasabibwa okwekebejja Nyanzi oba yali alina ekikyamu ku bwongo, ng'omuwaabi wa gavumenti bweyali agamba. Wabula Nyanzi yagaana okumwekebejja wabula n'asaba omusawo we ng'omuntu ssaako n'omu kubantu okuva mu famire ye nti balina okubeerawosinga baali baakumwekebejja oba mulwadde.

Ng'enaku z'omwezi 10 mu mwezi ogw'okutaano mu mwaka ogwa 2017, Nyanzi yayimbulwa kukakalu ka kooti nga bawaddeyo 10,000,000/= akassente za Uganda nga mu za Amerika (US$2904) naye tezaali zabuliwo. u mwezi ogw'ekumu mu mwaka gwa 2018, baamuzaayo mu komera. Teyasaba kweyimirirwa kuba yali akimannyi nti yali agenda kubeera bulungi ng'ali mu komera, ng'era yali ayagala kusigala ng'akola emirimu gye egy'okusomesa ng'ali n'abakazi b'omukomera. Mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2018, munamateeka we yavumirira ebyali biwawabiddwa Nyanzi nga webitaali mumateeka.

In mwezi ogusooka mu mwaka gwa 9, Nyanzi askenakuz 'omwezi zeyalina okuddayo mu kooti okwongezebwaayo kuba yali teyeewulira bulungi nga mulwadde lwadde kuba yali avuddemu olubuto ng'ali mu komera. Ng'enaku z'omwezi 2 mu mwezi ogw'omunaana mu mwakagwa 2019, yalaga amabeere gge mungeri y'okuwakanya okubeera nga baamusalira okugenda mu komera.

Ebimumannyiddwako n'engeri gyebamufunamu

Amawulire g'ensi yonna gamuyita omu kubantu abasinga okulwanirira eddembe ly'ekikula ky'abantu," "omukugu eyali akulembeddemu mu Afrika mukusoma engeri y'okulwanirira eddembe ly'abantu," n'omukulembezze alwanisa amateeka agateekebwawo nga ganyigiriza eddembe ly'abantu, n'eddembe ly'okweyogeerera." Okusoma kwe kusobozeseza okumannyisa abantu nti omusajja y'akulira amaka, omukyala talina kunyigirizibwa, n'okuvumirira oba okulaga obuli bw'ebisiyaga nga webuteetagibwa mu Uganda, The Gambia, ne Tanzania." Abamu batwala okukwatibwa kwe okubeera ng'emu kunsonga gyebaali bagamba nti yeekobaana n'abali bebisiyaga, okusinga ensonga endala.

Okulaajana okw'ensi yonna kwagoberera Stella Nyanzi oluavnnyuma lw'okubeera nga yali akwatiddwa, ng'ebibiina ebirwanirizi by'eddembe ly'abantu livumirira enkola eno nga bweyali erinyirira eddembe ly'obuyigirize, wamu n'okwenyonyolako oba ery'okuvaayo nebakutegeera. Ekitongole ekikola kubanoonyi boobubuddamu ekya Amnesty International kyategeeza Uganda okugyawo ebyali bivunaanibwa Nyanzi nga kigamba byali tebirina makulu ng'era byabuliimba. Pen International, ekiwandiikira ekitongole kino kyavumirira okukwatibwa kwe. Ekirondoola eddembe ly'abantu ekya 'Human Rights Watch' kyavumirira okukwatibwa kwe nga kigamba kano kino kyaali kiraga abo abagyayo endowooza zaabwe embi eri gavumenti ya Uganda, nadala famire ga pulezidneti, nga babeera bagenda kubalaga obusungu bwabwe ."

Kampuni z'amawulire g'ensi yonna gaawandiika kunsonga ezaali zimukwasiza ng'ezaali zeekuusa ku by'obufuzi. NPR yafulumya nti okukwatibwa kwe kwali kwakuwa ssuubi " nti abatalina maanyi na bwogerero baali basobola okwengaanga abo abeeyita abaamaanyi." The Washington Post gaawandiika nti okukwatibwa kwe kwakubeera nga yali ayogedde ku Museveni ng'era tawagira biki byeyali akola." Al Jazeera mu uzungu yafulumya ng'egamba nti okukwatibwa kwe kwali kwekuusa ku kyakubeera nga Museveni yali ayagala kufuga obulamu bwe bwonna ng'ate yali tayagala bamuwakanya. Aga 'Canadian Globe and Mail gaafulumya nti okukwatibwa kwe gwegwaali omutima gwakyo kyonna nadala mukukozesa olulimi n'okugyema kwe okwali okw'obukambwe ku by'ekomo eri abakazi b'omu Uganda." Amawulire ga The Guardian gaafulumya okulumba kwe kwava ku gavumenti okubeera nga yali ageenye okuteeka ensiimbi mu bikozesebwa by'abaana aboobuwala mu kweyonja ekyavirako obuvugirizi bwanamungi w'omuntu okwatambula obulungi ssaako nemumakomera."

Mu Uganda, alina abawagizi abawerako, nga muno mwemuli n'abagoberezi ku mikutu gye gimukwanira wala oba egya 'social media' okusinga omuntu yenna mu Uganda. Banji baamukungaanyiza ng'emere bweyali mukomera. Abakugu mu Uganda baamutendereza nnyo olw'okuyimirira mu abo abatutulugunya oba abatuyisa obubi." Munamateeka we Isaac Kimaze Semakadde yatuumibwa ''munamateeka eyali asinga wekyatuuka mu by'okuwozesa mu kooti y'abantu" ab'ekibiina ky'abanamateeka ekya Uganda Law Society, olw'omulimu gweyakoma mu musango guno.

Mu Uganda, "eby'obuwangwa eby'amaanyi ebitangira omuntu okwogera mulujudde ku by'okwegadanda oba eby'obukaba gyebiri, n'ebisiyaga tebikirizibwa mu mateeka nga n'okusomesa ku by'okwegata byawerebwa mu masomero." Naye, Nyanzi ayogera mulujudde, n'akusiigira ekifaanannyi kubikwatagana ku by'okwegata, ebitundu by'ekyama wamu n'eby'obufuzi. Ng'eno y'ensonga lwaki yeegombebwa banaansi banne mu bungi, naye ng'alabikwa bubi abantu abeetwala okubeera aboobuvunaanyibwa mu Uganda."

Obuwangaguse

Ng'enaku z'omwezi 30, mu mwezi ogusooka mu mwaka gwa 2021, Nyanzi yatuuka mu kibuga ky'e Nairobi, mu ggwanga lya Kenya ng'akozesa baasi, era ng'ayita mu banamateeka bbe, omukenkufu George Luchiri Wajackoyah, yamusabira obutuuze mu Kenya, nga beekwasa okubeera nga baali baagala kumuta olw'ensonga z'eby'obufuzi nga kikolebwa gavumenti ekulemberwa Museveni mu Uganda Uganda.

Laba ne

Tags:

Stella Nyanzi Okusoma kweStella Nyanzi Emirimu gyeStella Nyanzi OkunoonyerezaStella Nyanzi Okulwanirira eddembe lyabantuStella Nyanzi OkukwatibwaStella Nyanzi Ebimumannyiddwako nengeri gyebamufunamuStella Nyanzi ObuwangaguseStella Nyanzi Laba neStella Nyanzien:Germany

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

EnkakaNnalubaaleAbalembawazi(Police officers)Okwenyika omutimaRomaniaBuli avaayo KabakaEnkwaso (Chemical bond)EndagabwolekeroKnox County, KentuckyWarszawaEssomampisaJudith AlyekDenimaakaEnsekkatiRwandaDenis OnyangoNamirembe BitamazireZeeroEmpalirizo eviira amakkati(Centrifugal force)LungerezaKololiiniENGERO ZA BUGANDAAmaanyiIsilandiArmeniaKirinnyaWinnie ByanyimaThe concepts necessary for Luganda scientific discourse on motionOlunyarwandaEswatiniAligebbulaMichael EzraRobin van PersieOsakaLilongweEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?Eddagala lya ulcers ez'omulubutoEnsibukulaMediterranean SeaEBYENYANJA OMUNTU YENNA OSOBOLEERA DALA OKUBILUNDIRA AWAKA NGA AKOZESEZA PIIPARigaOmuntu omusenguseAseniki (Arsenic)Salim SalehKandikaAgnes AmeedeKkumi na mwendaDonald TrumpNakasigirwaOmukutule ogwa nigeemu(Unit fraction)AndorraObuzimbe bwa atomu (the atomic structure)KabojjaEntababutondeOkuzaala omwana omufuAdolf HitlerKaggoBagandaObulemu ku maasoZimbabweKyotoEbbombo nga EddagalaJanet MuseveniBurkina FasoAmakumi ana mu ssatuBrasil🡆 More