Ruhakana Ruganda

 

Ruhakana Rugunda (yazaalibwa 7 Novemba 1947) musawo era nga munnabyabufuzi Omunnayuganda era nga yali abaddeko Katikkiro wa Uganda okuva 2014 okutuuka 2021. Abadde nga ajja afuna obukulembeze ku mitendera ej'enjawulo wansi wa pulezidenti Yoweri Museveni okutandiikira mu 1986. Yaweerezaako nga minisita w'ensonga z'ebweru okuva 1994 okutuusa 1996 ne minisita ow'ensonga z'omuggwanga munda okuva 2003 okutuuka 2009. Oluvannyuma yaliko omukiise wa Uganda ow'enkalakkalira mu mukago gwa mawanga amagatte okuva 2009 okutuusa 2011 era minizita w'ebyobulamu okuva 2013 okutuuka 2014.

Yalondebwa okubeera Katikkiro nga 18 Septemba 2014 okutuuka 21 Juni 2021.Yaddira Amama Mbabazi, mu bigere oluvannyuma lw'okusuulibwa olukiiko oluweereza ( Cabinet).

Obuzaale bwe, obuyigirize n'obusawo

Rugunda yazaalibwa mu disitulikiti y'eKabale nga 7 Novemba 1947. N'omulenzi omuto, yatuulanga nasomera kitaawe Surumani Rugunda amawulire ,era bweyakula kino kyamuleetera okwagala okwenyigira mu by'obufuzi . Rugunda yasomera Kigezi High School ne Busoga College Mwiri gye yaweereza nga omukulembeze wa bayizi bonna nga tanneegatta ku Makerere University Medical School n'oluvannyuma University of Zambia gye yasomera eddagala , natikkirwa diguli mu Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery. Oluvannyuma yasomera ku University of California, Berkeley naafuna diguli eyookubiri mu Master of Science in public health.

Nga tannayingira byabufuzi bya Uganda, Rugunda yakola nga medical officer mu Zambia, omusawo mu disitulikiti ya Columbia General Hospital mu Washington, D. C., ne ku Kenyatta National Hospital e Nairobi, Kenya.

Eby'obufuzi

Ng'asoma ku Makerere University mu Uganda, Rugunda,yali asinga kumanyibwa nga "Ndugu" (kyalu Swahili ekitegeeza "muganda wange ") , yaweerezanga pulezidenti wa National Union of Students of Uganda (NUSU), ekibiina kya bavubuka eky'obufuzi. Nga munnabyabufuzi omuvubuka, Rugunda yali kitundu ku Uganda People's Congress (UPC) era kigambibwa yali kulusegere nnyo olwa pulezidenti Apollo Milton Obote.Ebimu ku bibuuzo ebyamubuuzibwa nga tanaffa , Obote yannyonnyola lwaki Rugunda yafunamu obutategeeregana ne Yoweri Museveni n'ekibiina ki National Resistance Movement. Rugunda yali omu kwabo abatono abaali Obote beyalaba abali ab'okukulembera ekibiina wamu n'eggwanga.

Mu 1985 yasisinkanaabakulembeze bannayuganda National Resistance Movement (NRM) ku inn "Zum grünen Jäger"mu Unterolberndorf, Austria, mu lukiiko lw'okukwatagana mu bubba okwogera ku nteekateeka z'obufuzi ez'okununula Uganda. Museveni bweyatwala obuyinza mu 1986, Rugunda yafuna obukulembeze obw'enjawulo obw'obwomuddiringanwa : yali minisita w'eby'obulamu okuva 1986 okutuuka 1988, minisita w'emirimu , entambula n'empuliziganya okuva 1988 okutuuka 1994,minisita w'ensonga z'ebweru okuva 1994 okutuuka 1996, minisita w'amawulire okuva 1996 okutuuka 1998,minisita w'bwa pulezidenti okuva 1998 okutuuka 2001, minisita w'amazzi , ettaka n'obutonde okuva 2001 okutuuka 2003, ne minisiter w'ensonga z'omuggwanga munda okuva 2003 okutuusa 2009.

Yaweerezaako nga ssentebe w'olukiiko lwa NRM olulonzi, nga omubaka wa palamenti owa munisipaali y'e Kabale era yaweereza nga pulezidenti w'olukiiko olufuzi olwa United Nations Environment Program (UNEP).Mu Julayi 2006, Rugunda yakulemberamu ttimu ya Uganda okuteesa ne Juba okussaawo emirembe n'aksbinja kabayeekera aka Lord's Resistance Army.

Mu mwezi ogusooka 2009, yalondebwa nga omukiise wa Uganda ow'enkalakkalira mu mukago gwa mawanga amagatte . Mu kiseera kyekimu ekifo kyalinnyisibwa nadda ku ddala ly'o bwaminisita mu Uganda. Yaweerezaako nga pulezidenti w'olukiiko olukuumi mu Julayi 2009 ne mu Octoba 2010 olukiiko olukuumi lwe lwali olw'ekkekwa okumala emyaka 2.

Rugunda yalondebwa nga Katikkiro nga 18 Septemba 2014.

Obulamu bwe

Rugunda yawasa Jocelyn Rugunda era nga bazadde ba baana abalenzi 4 .Mu biseera bye eby'eddembe anyumirwa okusoma, okuzannya tenisi n'omweso.

Na bino

Ebijuliziddwamu

Template:S-start Template:S-off Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-endTemplate:UgandaPMs


Tags:

Ruhakana Ruganda Obuzaale bwe, obuyigirize nobusawoRuhakana Ruganda EbyobufuziRuhakana Ruganda Obulamu bweRuhakana Ruganda Na binoRuhakana Ruganda EbijuliziddwamuRuhakana Ruganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Boda-bodaEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?EMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIREImmaculate AkelloVilniusEnuuni ezimbyeEttundiro ky'eddagala(Drug shop)TokyoStary DwórObutaffaali obulemuwavu (Sickle cells)BulindoEddy YaweBurkina FasoHelsinkiOkukyusa emmereEleanor NabwisoObulwadde bw’okukawagoChileKookolo w’omu lubutoLumala AbduKatunguruMoses OloyaTito OkelloEkigeranyabuddeDavid LutaloEntebbeEddy KenzoNnyaHilary OnekEbyafaayo bya UgandaOkulembewaza(to Police, Policing)Joyce BagalaSusan NsibirwaMasakaAmazziEbyobulimi mu UgandaEssomabuzaaleAmerikaLanier County, GeorgiaNakasigirwaOkuyimba mu UgandaNelson MandelaDorcus AcenBufalansaEkirwadde kya CholeraEnkakaOLUNYEREKETOMooskoBbuulweOkwekuumaAmambuluggaEkirwadde ky’ebolaGhanaPaulding County, GeorgiaEssomabwengulaEmpugiso (Semen)Sheila NduhukirePallisa (disitulikit)Okufirikawaza obuyivuwavu(Africanisation of academics)GirimaneEstoniaMuteesa I of BugandaJean Baptiste OkelloKilimanjaro🡆 More