Papa Cidy

   

Papa Cidy
Erinnya ly'obuzaale Hamidu Sekyeru
Era amanyikiddwa nga Cidy, Papa, Midu
Yazaalibwa (1986-03-08) 8 Ogwokusatu 1986 (age 36)
Obuzaale bwe Kampala, Uganda
Ekika ky'ennyimba z'ayimba Afrobeat, Reggae, Ragga, Kidandali
Emirimu gye Muyimbi-muwandiisi w'annyimba, mutunzi w'angoye ezikozesebwa mu kuzannya emizannyo ne filimu
Ebyuma by'akozesa Muyimbi w'amaloboozi
Emyaka gy'ayimbyemu 2009–okutuusa kaakano
Situdiyo mwayimbira Leone Island Records

Papa Cidy (yazaalibwa nga Hamidu Sekyeru, 8 Ogwokusatu 1986) Munnayuganda, muyimbi era akwasaganya eby'okufulumya ennyimba. Papa Cidy ayimba mu lulimi Oluganda, Olungereza n'Oluswayiri. Ye mumyuka w'omukulembeze wa situdiyo efulumya ennyimba mu Uganda eya Leone Island.

Papa Cidy ye kenyini agamba "Ndi mwetegefu okusanyusa buli kyonna ekiri ku nsi."

Emirimu gye mu kisaawe ky'okuyimba

Papa Cidy yegatta ku Leone Island ng'omutunzi w'ebyambalo mu 2009. Yali y'akamaliriza okulikoodinga oluyimba lwe olw'atuumibwa "Tolina Kisa". Omukulembeze wa situdiyo Jose Chameleone bweyawulira amaloboozi ago, yasalawo nti ekitone kya Cidy ky'ali ky'ononebwa mu kutunga. Cidy ne Chameleone balikoodinga oluyimba bombi olw'akakasa okuyitamu kwa Papa Cidy okunene. Omugogo guno gw'afulumya ennyimba omwali "Joselina", "Daniella", "Meeme Katale" ne "Nishike Mukononi".

Okugyako ennyimba z'ebayimba bombi ne Chameleone, Cidy afulumiza ennyimba ezize nga "Your Name", "Ba Mugumu", "Fuse", "Akazinga" ne "Noonya". Oluyimba lwe olw'akwatayo okuva mu 2012, "Evalina" telukoma kubeera mutwe gwa alubaamu ye eyasooka, wabula lw'alondebwa mu mpaka za Global Rockstar eza 2014.

Mu Gwomunaana 2014 Cidy yateeka wamu alubaamu ye eyasooka eya, Evalina, eyali ku mikutu gya iTunes ne Spotify. Mu kaseera katono nnyo nga yakafulumya alubaamu ye, yakolayo ennyimba bbiri omwali "Daniella" nga yayimba ne Jose Chameleone ne "Nkubira" nga yayimba ne MC Norman, nga zombi zaali ku mikutu gya iTunes ne Spotify. Mu Gwekkumi, Cidy yateeka wamu ennyimba ze ezaali zisigalidde nakola alubaamu endala eyayitibwa Nkwata, era nga ly'elinnya ly'oluyimba lwe olwasooka. "Nkwata" lwe luyimba olw'ava mu "Nishike Mukononi", naye oluvanyuma lw'agatibwa n'eluyimbibwa ne Jose Chameleone mu 2014 era n'elinnya n'elikyusibwa.


Mu 2022, Papa Cidy yegatta ku Sage Music, ekitongole ekikwasaganya abayimbi ekiri ekya Australian based artist management service. Ettabi ly'ekitongole kya Sage lisangibwa mu Kigali, Rwanda era nga kirabirira abayimbi abawerako okuva mu East Africa. Wansi wa manegimenti empya, ensi yakutandika okulaba Papa Cidy mu kitangaala ekigya era nga wa kutuuka ku butuuti n'abawuliriza beyali tatuuka ngako. Mu 2022, Papa Cidy y'afulumiza oluyimba olupya ne Spice Diana, Nze Wuwo nga 15 Ogwokuna, 2022.

Eby'okutunga

Papa Cidy takoma ku kumanyika mu kuyimba kwokka wabula alina edduuka ly'engoye eliyitibwa "BAKNA" elitunda engoye z'abaseleebu. Gyebuvuddeko yatunga esaati okuva mu bendera ya Uganda mu kujjaguza ameefuga ga Uganda. Esaati eno yayatiikirira nnyo Jose Chameleone bweyagyambala mu Uganda comedy store nga 21 Ogwomwenda 2019.

Ebijuliziddwamu

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

SsemataloHerman BasuddeKahinda OtafiireBurundiBulaayaEbisaKyotoVilniusRio de JaneiroOmwesoJoe Oloka-OnyangoKkanisa ya Yeso EyannamaddalaBulambuli (disitulikit)Maria MutagambaAllan SsewanyanaEkizungirizi(Rocket)Lee County, GeorgiaPeruMinisitule y'emirimu n'entambula (Uganda)MalawiEbyobuwangwa (Culture)EssomabiramuSsekalowooleza Kibuuka OmumbaaleSierra LeoneIvory CoastCa MauLungerezaMediterranean SeaAngolaLatviaEkituli ky'EkizikizaENNAKU MU SSABIITIHardin County, KentuckyBerlinBoda-bodaEnkokoPeace MutuuzoManjeri KyebakutikaOkukoma okuzaalaEnnima ey'obutondeAmakumi asatu mu ssatuBINOJOOkubalaNakasigirwaObulamu obw'Enjawulo (Biodiversity)ParisObuwakatirwaVictoriaAkataffaaliNabbirye w'Ekitangaala (the duality of Light)EssomabwengulaCatherine Odora HoppersMbazziSafina NamukwayaEbiseera🡆 More