Pamela Nasiyo Kamugo

 

Pamela Nasiyo Kamugo yazaalibwa nga 23 Ogwokutaano mu 1984 nga Munayuganda akola ogw'okuyamba abantu abalina ebizibu ebitali bimu nga kuno kwateeka n'okubeera ku kakiiko akakola amateeka. Wabula mu Gwokuna mu 2020, yawereza ng'omukyala omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti ya Budaka mu Paalamenti ya Uganda eyekumi. Yalina akakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda ekya National Resistance Movement, ekikulemberwa Yoweri Museveni, pulezidenti w'eggwanga

Okusoma kwe

Pamela Nasiyo yatandika okusoma kwe okwa pulayimale ku Kamonkoli mixed primary school gyeyatuulira ebibuuzo bye ebya P7 mu 1996. Oluvannyua yagenda ku St. Johns Secondary School e Ntebetebe mu Kampala gyeyafunira ebaluwa ya S4 mu 2000 n'eya S6 mu 2003. Oluvannyuma n'agenda ku Uganda Christian University gyeyatikirwa ne Diguli mu by'okumannya n'okudukanya ensonga z'abantu n'ebintu mu 2007.

Emirimu gye

Nga tanaba kwegata ku byabufuzi, Kamugo yali akola ku byansonga z'abantu mu Disitulikiti y'e Mbale.

Mu 2016, yavuganya era n'awangula entebbe y'omubaka omukyala mu Paalamenti ng'akiikirira Disitulikiti ya Budaka, n'adira Sarah Kataike Ndoboli, eyaliko minisita omubeezi owa Luwero Triangle. Mu Paalamenti eyekumi yali awereza nga ssentebe w'ekibiina Ekigatta Abakyala mu Paalamenti. Y'omu kubali ku kakiiko akalwanyiza ekirwadde kya mukenenya n'eddwadde endala, nga kuno kwekuli n'ebyokwerinda wamu n'ensonga z'omunda mu ggwanga.

Mu 2017, yakwatibwa ng'ali wamu nebane abalala basatu webali ku kakiiko akakola amateeka nga babavunaana okukunga abantu okwegugunga olw'embeera embi oluguudo lwa Mbale-Tirinyi-Kampala gyerwalimu.

Mu 2019, yaleeta omulamwa ogwavirako okuyitibwa kw'omubaka wa Uganda mu ggwanga lya Burundi nga bamulanga kuyisa bubi omusirikale omukyala akola kuluguudo.

Nga omubaka wa Paalamenti, Pamela Nasiyo yeenyigidde mu bwegugungo obw'enjawulo nga bulwanirira okulaba ng'abantu ba wansi babeera mu mbeera enungi era eyeyagaza, nga kuno kwekwali n'okwekalakaasa olw'embeera embi oluguudo lwa Tirinyi gyerwalimu, nga luno lugatta Disitulikiti nnya mu Buvanjuba bwa Uganda. Yayisa n'ekiteeso mu Paalamenti eky'okuyitayo Major-General Matayo Kyaligonza okuva mu kifo kye ng'a Omubaka wa Burundi olw'okulumya omukyala omusirikale akola ku luguudo eyali kumulimu gwe.

Ebijuliziddwaamu

Ewalala w'oyinza okubigya

Tags:

Pamela Nasiyo Kamugo Okusoma kwePamela Nasiyo Kamugo Emirimu gyePamela Nasiyo Kamugo EbijuliziddwaamuPamela Nasiyo Kamugo Ewalala woyinza okubigyaPamela Nasiyo Kamugo

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

NabulagalaObuwangaaliro( Environment)Okulya ekisusseOkutanaEKIKAKALAJackee Budesta BatandaKAYAYANADemocratic Republic of CongoJoseph OchayaNelson MandelaEkyekebejjo (Empiricism)Embu z'AmannyaJudy Obitre–GamaAsiaLithueeniaEMMYEZIOkugajambula(Predation)Allen KaginaTogoCape VerdeTanzaniaLibyaEbirwaza(Diseases)Taylor County, GeorgiaRwandaKimwanyiEkitongole kya National Social Security Fund (Uganda)WikipediaButurukiEbyobuzibaEkitonto ddagalaLungerezaAkafubaSekazziOkuggyamu olubutoGeraldine Ssali BusuulwaBugandaDobraOmusujja gw'ensiriBulungibwansiEkinonoozo (Engineering)Embizzi nziriisa ntya bulungiOlivia Aya NakitandaEndwadde y’omutimaBerlinMoroccoAmelia KyambaddeAnita AmongOkuwugaKompyutaNakapiripirit (disitulikit)John Ssenseko KulubyaMunaanaPrince Wasajja KiwanukaOmulangiriziENGERO ZA BUGANDAEnsalosaloOlupapula OlusookaMaria MusokeZimbabweTheodore SsekikuboObubulwaRema Namakula🡆 More