Sickle Cells Obutaffaali Obulemuwavu

Obutaffaali obulemuwavu oba obutaffaali obulemawavu

                 (Sickle cells) 

Mu kunoonyereza kwe ku "essomabuzaale"(genetics) ,omunoonyerezi Muwanga Charles agamba nti emiramwa emikulu egyetaagisa okunnyonnyoka essomo lino giri esatu:

(i) Obusekese(Chromosomes)

(ii) Endagabutonde oba Ennabutonde (DNA)

(iii) Endagabuzaale oba Ennabuzaale(Genes).

Nga bw'olaba ekinywa ky'enku ekiganda, "akasekese"(chromosome) , kaba kanywa ka ndagabutonde akasirikitu ate endagabutonde (DNA) ne kiba ekinywa ky'endagabuzaale(ennabuzaale) era eyitibwa endagabiragiro (genes). Endagabuzaale(endagabiragiro) ze ziwa oba eziraga endagabutonde ebiragiro:

(a) okukola ebizimbamubiri(proteins) ebyetaagibwa mu mubiri gw'ekiramu

(b) Okukola obuzaale bw'ekiramu ekito mu kaseera ekisajja we kiwakisiza ejji ly'ekikazi.

"Nnabuzaale ennemu"

      (Mutated genes) 

Nnabuzaale mu butonde bwazo zirina kuba nga nnamu mu nkula yazo naye oluusi nnabuzaale ziyinza okuba n'obulemu, ekitegeeza nti nnema, ezitali mu nkula yaazo ey'obutonde ezisobozesa okukola emirimu gyazo egya bulijjo okukuuma omubiri nga mulamu. Nnabuzaale(genes) zino ziyitibwa "nnabuzaale ennemu"(mutated genes) kubanga:

(a) ziba "nnema" ezitali mu nkula yaazo ey'obutonde. 

(b) Ziba ziremererwa okukola emirimu egizeetaagisa okukola mu mubiri nga okuwa endagabutonde(DNA) ebiragiro ebituufu oba ebyetaagibwa

Nnabuzaale okuba ennemu, kiviirako n'obutaffaali bwazo mwe zisangibwa okuba obulemu obutasobola kukola mirimu gyabwo egyetaagisa okukuuma omubiri nga mulamu. Ebirwadde bino mulimu ekirwadde kya "obutaffaali obulamawavu" (sickle cells). Ekigambo bulemawavu kitegeeza nti "bulema kiwanvu", anti bubugaana omubiri gwonna mu bulemu bwabwo, sso si kitundu kya mubiri kimu nga bwe guli n'obutaffaali obwa kkookolo(cancer).

"Obutaffaali obulemawavu" buba butaffaali bwa musaayi obumyufu(red blood cells), obulina okuba nga omwezi (☾) ogw'eggabogabo era nga bugonderera bulungi naye ate ne buba nga bweweseemu nga eggabo ly'eggaali , bbo abazungu kye baayita enkula eya najjolo(sickle), ejjambiya eyeweseemu nga omwezi omuto mu bwengula. Obutaffaali obulina okuba nga pmwezi ogweggaboigabo okuba mu nkula ey'eggabo ly'eggaali , buba bulemu(bulema) obulemesa obutaffaali buno okukola emirimu gywabwo emitongole mu mubiri , kino ne kifuuka obulwadde.

Mu luganda buno kakensa Charles Muwanga bw'ayise "obutaffaali obulemuwavu"(obulemu ekiwanvu) oba "obutaffaali obulemawavu"(obulema ekiwanvu), olwokuba nga buba bwalemala mu nkula yaabwo ne bwewetamu ate nga bubugaanye mu musaayi mu mubiri gwonna, era mu Luganda bwe tuyinza okuyita "obutaffaali obw'eggabo"(sickle cells) kuba bwalemala ne buba mu nkula ey'eggabo nga ery'eggaali.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

KisoziAggrey AworiEkitembeBukiikaddyoRobin van PersieEnsibukulaKabaleCa MauAdolf HitlerOmusanaKkumi na bbiriMichael EzraDoreen KabareebeEquatorial GuineaCameroonEsigalyakagoloAgnes AmeedeENNAKU MU SSABIITIAseniki (Arsenic)EBYENYANJA OMUNTU YENNA OSOBOLEERA DALA OKUBILUNDIRA AWAKA NGA AKOZESEZA PIIPARwandaAlubbaati AnsitayiniNapooleon BonapatRepublic of CongoKerr County, TexasRwashaLithueeniaEnsolo LubbiraVladimir PutinKirinnyaEkifulumyakazambi(Excretion)PayisoggolaasiOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiEkkajjolyenjovuSsekabaka Daudi Cwa IIJane Frances AbodoUfaKookolo w'oku bwongo27The concepts necessary for Luganda scientific discourse on motionKendaNzikiriza y'AbatumeRose MwebazaLwendaBaibuliEmpalirizo eviira amakkati(Centrifugal force)BulaayaKifabakaziJens GalschiøtFaith MwondhaKaberamaido (disitulikit)My inner beast(Omutima Gwefubitizi)KokeyiniEssomampisaPallasoMills County, TexasOkukola ebyotoCatherine Samali KavumaOmwenkanonkanoAmabwa agatawonaKatumba WamalaOmskBlack SeaNakongezalinnya🡆 More