Kidney Stone Disease Obulwadde Bw’ensigo

Enfaanana y’obulwadde buno

Obulwadde bw’ensigo kitegeeza obukutubba obulinga obuyinjayinja obumera mu nsigo z’omuntu ez’omu lubuto. Buno bwe buba bukyali butini tebuba bwa bulabe nnyo naye bwe bugejja buziba omukutu ogutwala omusulo oguba gusengejjeddwa okuva mu nsigo okugenda mu kawago, era ne kireeta obulumi obwamanyi wansi mu mabega oba mu kabutobuto. Era kino kiviirako n’okufuka omusulo ogulimu omusaayi, okusesema oba okulumizibwa ng’omuntu afuka (akunkumula). Omuntu ayinza okufuna akayinja akalala mu bbanga lya myaka nga kkumi (10).

Ekibuleeta

Naye ensonga ezireetera omuntu okukwatibwa obulwadde buno ziba ziva ku nsonga za buzaale, oba ebyo ebiba bimwetoolodde. Ebiyinza okuleeta obulwadde buno kuliko ebintu nga: okuba n’ekirungo kya calcium ekisusse mu mubiri, omugejjo (okugejja ennyo), emu ku mmere eriibwa, kwossa eddagala erimu erimiribwa, wamu n’obutaba na mazzi gamala mu mubiri. Era akayinja kano kamera mu mubiri ng’ebirungo by’omusulo ogusengejjebwa mu nsigo bisusse obuka, nga tebiriimu mazzi gamala.

Obuboonero n’okukebera

Okukebera obulwadde buno kisinziira ku bubonero obubaawo, naye nga bayinza okukebera omusulo, okukebera omusaayi oba okuteeka omulwadde mu kifaananyi ne balaba ekiri munda. Eri abo abaakwatibwa edda obulwadde buno, bakubirizibwa okubaako ebyokunywa bye banywa gamba ng’amazzi, okulaba nga basobola okufuka omusulo ogutakka wansi wa liita bbiri olunaku. Kino bwe kigaana, olwo waliwo eddagala eriba liyina okubaweebwa okuli eriyitibwa “Thiazide diuretic citrate” oba eriyitibwa “allopurinol”. Kyokka omuntu bw’akulamu akayinja ako naye nga tekayina kabonero konna ke kalaga, aba taweebwa bujjanjabi bwonna.

Ebibalo biraga nti abantu okuva ku kitundu kimu okutuuka ku bitundu kkumi na bitaano bakwatibwako obulwadde bw’ensigo buno mu bulamu bwabwe. Era mu mwaka 2013 abantu obukadde ana mu mwenda (49) baazuulibwa nabwo, era ne buttako abantu omutwalo gumu n’ekitundu (15,000). Naye okutwaliza awamu, obulwadde buno businga kukwata basajja.

Tags:

Kidney Stone Disease Obulwadde Bw’ensigo Enfaanana y’obulwadde bunoKidney Stone Disease Obulwadde Bw’ensigo EkibuleetaKidney Stone Disease Obulwadde Bw’ensigo Obuboonero n’okukeberaKidney Stone Disease Obulwadde Bw’ensigo

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Kampala Industrial and Business ParkYoweri MuseveniEnzikuENNAKU MU SSABIITISomaliaEkkuumiro ly'ebisoro erya Murchison FallsFrancis ZaakeOlupapula OlusookaEmirandira gy'enambaAsiaYugandaNaome BagendaIvory CoastEntebbeBuyonaaniOkuwugaEnnima ey'obutondeBaba TVGabonAlgeriaNorth AmericaOkutta omukagoSiriimuEby'obutondeOmweziObulemu ku maasoNakasigirwaGabungaLesothoAustralia (ssemazinga)Meddie KaggwaBerlinZimbabweKookolo w'EkibumbaImmaculate AkelloLungerezaLowila CD OketayotKatongaOmulangiriziEmbizzi nziriisa ntya bulungiRose RwakasisiJoyce KavumaBrusselsOMUZIMBA NDEGEYAGhanaAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaBaskin-RobbinsAnita AmongLydneviAmaanyi g’EnjubaKizito omuto omujulizi omutuukirivuMwendaAmambuluggaOkuggyamu olubutoJohn Ssenseko KulubyaSea of AzovWikipediaBubirigiFlorence MawejjeOLWEZABikumi bitaanoOKUMEZESA ENDOKWA Z'EMITI N'OKUZIRABIRIRACentral African Republic🡆 More