Obulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda

Obulabirizi bw'ekkanisa ya Uganda (Anglican) mu Buganda bwebwo okusinga obuli mu Masekkati ga Uganda era buli kitundu ku Bulabirizi obulala obw'Ekkanisa ya Uganda obw'awamu.

Obulabirizi bw'Ekkanisa ya Uganda obulala obuli mu Uganda kuliko obusangibwa muBuvanjuba bwa Uganda, obw'omu Bukiikakkono bwa Uganda, mu Bitundu bya Ankole ne Kigezi, kw'ossa eky'e Rwenzori.

Obulabirizi bw'e Namirembe

Obukulembeze bw'Ekkanisa ya Anglican obwasooka okuzimbibwa mu kati ensi eziyitibwa Uganda, Kenya, ne Tanzania bwatuumibwa Diocese of Eastern Equatorial Africa, obwatandikibwawo mu Gwomukaaga 1884. Omulabirizi w'Obulabirizi buno yali James Hannington ng'ekitebe ky'Obulabirizi obwo ekikulu kyali Mombassa mu Kenya, kyokka Omulabirizi ono yattibwa nga 8 Ogwokubiri 1886. Omulabirizi owookusatu ow'Obulabirizi buno obwa Eastern Equatorial Africa yali Alfred Tucker eyasalawo okusalamu Obulabirizi buno kubanga bwali bunene nnyo: Turker yasigala nga ye Mulabirizi wa Uganda, ate Kenya n'ebitundu eby'omu Bukiikakkono bwa Tanganyika ne bafuuka Obulabirizi bwa Mombasa; nga kino kyassibwa mu nkola okuva mu 1898.

Okutuusa mu 1926 lwe waatondebwawo Obulabirizi bwa Upper Nile nga bwetongola okuva ku Bulabirizi bwa Uganda. Obulabirizi bwa Uganda bwasooka kuba nga butwaliramu ebitundu bya Uganda byonna, Rwanda ne Burundi, wamu n'eggwanga lya Congo eryayitibwanga Zaire. Nga 1 Ogwomusanvu 1960, Obulabirizi bwa Uganda bwakutulwamu ne butondebwamu Obulabirizi obulala butaano (5) : Obumu ku bulabirizi obwatondebwawo bwe bwasigaza Omulabirizi eyaliwo era buno bwe Bulabirizi bw'e Namirembe (era eyali Omulabirizi w'Obulabirizi bwa Uganda yonna yafuuka Omulabirizi w'e Namirembe). Oluvannyuma lw'okutondawo Obulabirizi obupya obw'e Namirembe bwali butwalizaamu ebitundu bya East Buganda ne Busoga.

Brown yalondebwa era mu 1961 n'afuuka Ssaabalabirizi wa province ya Church of the Province of Uganda and Ruanda-Urundi. Kyokka enkola Ssaabalabirizi oyo mwe yalonderwa yakomezebwa mu 1977, olwo Omulabirizi wa Kampala n'afuuka Ssaabalabirizi eyawummula.

Okuva mu 1890, n'enkyukakyuka zonna ezizze zibaawo mu Bulabirizi bw'e Namirembe, ekkanisa enkulu mu Bulabirizi buno ebadde Lutikko ya St Paul's Cathedral, eri ku kasozi Namirembe mu Kampala. Lutikko eriwo kati ye yookutaano ku bizimbe bya Lutikko ebizze bizimbibwa mu kifo kye kimu.

Abalabirizi b'Obulabirizi bwa Eastern Equatorial Africa

Abalabirizi b'Obulabirizi bwa Uganda

  • 1899–1908: Alfred Tucker
  • 1912–1934: John Willis
  • 1934–1953: Cyril Stuart
    • 1947 – 1960 (ret.): Aberi Balya, yali mumyuka wa Mulabirizi. owa Tooro, Bunyoro, Ankole ne Kigezi
    • 1951–1960: Percy James "Jim" Brazier, yali mumyuka wa Mulabirizi wa Ruanda-Urundi (era oluvannyuma yafuuka Omulabirizi wa Ruanda-Urundi; okuva nga 3 Ogwomunaana 1903 – 30 Ogwekkuminoogumu 1989; yafuuka omudinkoni nga 12 Ogwomukaaga 1927 n'ayawulibwa nga 3 Ogwomukaaga 1928 ku mikolo egyakulemberwa Cyril Garbett e \Southwark; Ebirayiro eby'obuweereza ebisembayo yabikuba nga 2 Ogwokubiri 1951 ku mukolo ogwakulemberwa Geoffrey Fisher (Canterbury) e Westminster)
    • Mu Gwomukaaga 1952 – 1960: Festo Lutaya, ayali aweerezzaako ng'omumyuka w'Omulabirizi (yafuuka Omulabirizi w'Obulabirizi bwa West Buganda eyasookera ddala)
  • 1953–1960 Leslie Brown
    • Okuva nga 5 Ogwokutaano 1957 – 1960: Kosiya Shalita, yali mumyuka wa Mulabirizi
    • Okuva nga 1 Ogwokutaano – 1 Ogwomusanvu 1960: Erica Sabiti, yali mumyuka wa Mulabirizi

Mu 1957, mu kwetegekera okukutulamu Obulabirizi bwa Uganda okufunamu Obulabirizi bwa mirundi etaano, Brown ye yakikulemberamu era ye yaliwo nga kalondoozi omukulu okulaba nti Obulabirizi obupya bunyweza emirandira gy'okulyowa Abakristaayo emyoyo.

  • Ruanda-Urundi baali badda dda wansi wa Brazier okuva mu 1951.
  • Okuva mu Gwokuna/Ogwokutaano 1957 n'okweyongerayo: Lutaya ye yali Omulabirizi wa West Buganda.
  • Okuva nga 5 Ogwokutaano 1957 n'okweyongerayo: Shalita, ye yali Omulabirizi wa Ankole-Kigezi (Ye Mu labirizi wa Ankole-Kigezi eyasookera ddala)
  • Okuva nga 9 Ogwokutaano 1957 n'okweyongerayo: Brown ye yali Omulabirizi w'ebitundu bya East Buganda ne Busoga.
  • Okuva nga 16 Ogwokutaano 1957 – okutuusa nga 1 Ogwokutaano 1960: Balya yali mumyuka wa Mulabirizi mu Bulabirizi bw'e Toro-Bunyoro okutuusa lwe yawummula.
  • Okuva nga 1 Ogwokutaano 1960 n'okweyongerayo: Sabiti yasikira Balya mu Bulabirizi bwa Toro-Bunyoro-Mboga (ye n'afuuka Omulabirizi w'Obulabirizi bwa Rwenzori eyasookera ddala)

Abalabirizi ba Namirembe

  • 1960 – 21 Ogwekkuminoogumu 1965 (lwe yawummula.): Leslie Brown, yali Ssaabalabirizi wa Uganda, Rwanda ne Burundi.
  • Okuva nga 21 Ogwekkuminoogumu 1965 – 1985: Dunstan Nsubuga, ye Muddugavu eyasooka okufuuka Omulabirizi mu Bulabirizi buno (yali aweerezzaako ng'omumyuka w'Omulabirizi okuva mu 1964)
  • Okuva mu 1985–1994: Misaeri Kauma (yali aweerezzaako ng'omumyuka w'Omulabirizi wakati wa 1975 ne 1985)
  • Okuva mu 1994–2009: Samuel Ssekkadde
  • Okuva mu 2009 okutuusa leero: Kityo Luwalira (Yatuuzibwa ku Bulabirizi bwa Namirembe nga 31 Ogwokutaano 2009)

Obulabirizi bwa West Buganda

Obumu ku Bulabirizi obwatondebwawo mu 1960 nga buggibwa mu Bulabirizi bwa Uganda bwe bwa West Buganda. Lutaya ye Mulabirizi eyasooka mu bwa West Buganda; era mu 1964, yakyusa ekitebe ky'Obulabirizi okuva e Masaka n'abuzza gye bamuzaala e Mityana,nga kino kyavaako Abakristaayo b'e Buddu okwesala akajegere. Akakuubagano kano kaatwala ekiseera era kaaleetawo akasoobo mu kutuuza Tomusange ku ky'Omulabirizi w'Obulabirizi bwe bumu okutuusa lwe yatuuzibwa mu Gwomwenda 1966. Lutikko y'Obulabirizi bwa West Buganda ebadde St Paul's Cathedral, Kako (esangibwa e Masaka) ng'ebaddewo okuva ku ntandikwa y'emyaka gya 1970.

Abalabirizi ba West Buganda

Obulabirizi bwa Kampala

Buno bwatandikibwawo mu 1972 nga bukutulwa ku Bulabirizi bwa Namirembe, era Omulabirizi wa Kampala abaddenga Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda. (Kitegeeza nti mu kiti ky'Obulabirizi buno obwa Kampala, Ssaabalabirizi aba ayitibwa 'Mulabirizi' so si 'Ssaabalabirizi'.) Olw'emirimu emingi Ssaabalabirizi gy'aba alina okukola mu Uganda yonna babaddenga bamulondera Omulabirizi omubeezi/ omumyuka wa we ku ky'Obulabirizi bwa Kampala: nga Lutikko y'Obulabirizi buno ye All Saints on esangibwa ku kasozi Nakasero mu Kampalawakati.

Abalabirizi, abamyuka ba Bassaabalabirizi mu Bulabirizi bwa Kampala

Bano kuliko:

  • Okuva mu 1983–1997: yali Lucas Gonahasa (eyali aweerezzaako ng'omumyuka w'Omulabirizi owa Bukedi)
  • Okuva mu 1997 – 2004 (lwe yawummula): yali Eliphaz Maari
  • Okuva nga 30 Ogwoluberyeberye 2005 okutuusa lwe yawummula mu Gwomukaaga 2012 yali Zac Niringiye
  • Okuva nga 10 Ogwekkumineebiri 2006 – yali David Sebuhinja,
  • Okuva nga 2 Ogwomwenda 2007 – yali John Guernsey, ono kati ye Mulabirizi wa Abakristaayo ababeera mu Amerika (USA)
  • Okuva mu 2014– okutuusa leero, abadde: Hannington Mutebi

Obulabirizi bw'e Mityana

Obulabirizi bw'e Mityana bwakutulwa ku bwa West Buganda era bwatongozebwa nga 22 Ogwokutaano 1977, ng'ekitebe kyabwo ekikulu kiri ku Lutikko ya St Andrew's Cathedral, Namukozi.

Abalabirizi ba Mityana

  • Okuva mu 1977 – 1989: yali Yokana Mukasa
  • Okuva nga 22 Ogwoluberyeberye 1989 yali Wilson Mutebi
  • Okuva mu Gwoluberyeberye 2002 – 2008: yali Dunstan Bukenya
  • Okuva nga 26 Ogwekkumi 2008 – 2020: yali Stephen Kaziimba (Oluvannyuma eyalondebwa okufuuka Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda era Omulabirizi wa w'Obulabirizi bwa Kampala)
  • Okuva nga 2 Ogwokubiri 2020 okutuusa leero: Omulabirizi w'e Mityana yeJames Bukomeko

Obulabirizi bw'e Mukono

Obulabirizi bw'e Mukono bwakutulwa ku bw'e Namirembe mu 1983, Mpalanyi-Nkoyoyo, eyali aweerezzaako ng'omumyuka w'Omulabirizi w'e Namirembe, bwe yalondebwa okufuuka Omulabirizi wa Mukono era eyasookera ddala. Ekkanisa y'e Mukono enkulu ye Lutikko yaSaints Andrew & Philip Cathedral, Mukono.

Abalabirizi ba Mukono

  • 1983 – 1995: Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo (yali aweerezzaako ng'omumyuka w'Omulabirizi mu Bulabirizi bw'e Namirembe; Oluvannyuma yafuuka SSaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda)
  • Okuva mu Gwekkuminoogumu 1995 – Gwomukaaga 2002 (lwe yawummula):yali Michael Senyimba
  • Okuva nga 30 Ogwomukaaga 2002 okutuusa mu Gwomwenda 2010 (lwe yawummula): yali Paul Luzinda
  • Okuva nga 19 Ogwomwenda 2010 okutuusa leero: ye James William Ssebaggala

Obulabirizi bwa Luweero

Buno nabwo bwakutulwa okuva ku Bulabirizi bw'e Namirembe mu 1991, nga lutikko yaabwo eyitibwa St Mark's, Luweero.

Abalabirizi ba Luweero

Obulabirizi bwa Central Buganda

Obulabirizi bwa Central Buganda bwatondebwawo mu 1995, nga bukutulwa ku bwa West Buganda. Lutikko y'Obulabirizi buno ye St John's Kasaka.

Abalabirizi ba Central Buganda

Laba na bino

Ebijuliziddwa

Template:Church of Uganda

Tags:

Obulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Obulabirizi bwe NamirembeObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Obulabirizi bwa West BugandaObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Obulabirizi bwa KampalaObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Obulabirizi bwe MityanaObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Obulabirizi bwe MukonoObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Obulabirizi bwa LuweeroObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Obulabirizi bwa Central BugandaObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda Laba na binoObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Buganda EbijuliziddwaObulabirizi Bw'ekkanisa Ya Uganda Mu Bugandaen:Anglican Communionen:Anglican dioceses of Ankole and Kigezien:Anglican dioceses of Eastern Ugandaen:Anglican dioceses of Northern Ugandaen:Anglican dioceses of Rwenzorien:Central Region, Ugandaen:Church of Uganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Yoweri MuseveniNnamusunaAmakumi asatu mu nnyaMauritiusCape VerdeOlupapula OlusookaKahinda OtafiireAntimoni (Antimony)Ekizungirizi(Rocket)KokoloGlascock County, GeorgiaBotswanaBoda-bodaOkubala26Ennima ey'obutondeNnabuzaale ennemu(Mutated genes)KyotoLawrence MulindwaOmuntuKatumba WamalaKAYAYANATokyoOmusujja gw'ensiriAligebbulaEnergyAmambuluggaEkibulunguloOkulumwa omutweKikongoNamunigina z'entababutonde(Ecological units)EkigereOmulangiriziDonald TrumpEsther Mayambala KisaakyeNepalKawandaBeninBelarusKikajjoENGERO ZA BUGANDAOkwebakaEmpewo (Air)JapanEnjokaSouth AfricaEMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIREKasawoBurkina FasoEsther and EzekielAustin BukenyaLesothoEnjubaSamuel Wako WambuziRwashaDenis ZakariaRigaAnita AmongJoe Oloka-OnyangoBetty NamboozeSsekabaka Mutesa IIKkumiNampewo (the atmosphere)🡆 More