Nzikiriza Y'abatume

Nzikiriza y'Abatume y'essaala efunza okukkiriza mu ngeri ennyimpi.

Okwawukanako n'eNzikiriza ey'eNicea eno yo eyogera ku bikkirizibwamu naye mu bufunze nnyo. Etera kusomebwa mu ssaala eza ssekinnoomu nga ekisinde ne ssappule.

Nzikiriza Katonda

Nzikiriza Katonda Patiri omuyinza wa buli kantu

Omutonzi w'eggulu n'ensi.

Ne Yezu Kristu omwana we ali omu yekka.

Ye Mukama waffe,

Eyali mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu

N'azaalibwa Biikira Maria.

N'abonaabona ku mirembe gya Ponsio Pilato.

N'akomererwa ku musaalaba.

N'afa, n'aziikibwa, n'akka e Magombe.

Ku lunaku olwokusatu n'azuukira mu bafu.

N'alinnya mu ggulu.

Atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda Patiri omuyinza wa buli kantu.

Alidda okulamula abantu abalamu n'abafu.

Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu,

N'Eklezia Katolika Omutukuvu,

N'okussa ekimu okw'abatuukirivu

N'ekisonyiwo eky'ebibi,

N'okuzuukira okw'emibiri,

N'obulamu obutaggwawo.

Amiina.

Tags:

Nzikiriza ey'eNicea

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

GuineaEkigerageranyo (Rate)Ekifulumyakazambi(Excretion)Walifu y'OlugandaOsakaKamunyeEkitonto ddagalaSudaaniAmakumi asatu mu mwendaOmumbejja Elizabeth ow'e TooroGraves County, KentuckyEnjobeCameroonEkipulukoEmpalirizo(Force)Salim SalehObulwadde bw'OkwebakaBakitiiriyaJohn Chrysestom MuyingoOkulambika ebirowoozo(Inductive reasoning)AluminiyamuKlaipėdaŤhomas B. ŤayebwaEbyobuzibaNational Forestry AuthorityCentral African RepublicRobinah NabbanjaNigerIvory CoastBoyd County, KentuckyOkubalaEkiyondoMuteesa I of BugandaBaskin-RobbinsKotido (disitulikit)NakongezakikolwaSaratovKnox County, KentuckyEnkakaBuli avaayo KabakaBlu*3Aggrey AworiRwashaFranc KamugyishaEmisuwa egizimbaKrasnoyarskEby'obutondeZimbabweFrancis ZaakeEnjubaZzaabuAmelia KyambaddeKizza BesigyeRigaOmukutule ogwa nigeemu(Unit fraction)Mariam NaigagaWheeler County, TexasCleopatra Kambugu KentaroVilniusRonald MusagalaArgentinaSsatuKkalwe (Iron)Kandika🡆 More