Norbert Mao

 

Norbert Mao
Norbert Mao

Norbert Mao munnabyabufuzi wa Uganda era munnamateeka. Abadde pulezidenti w'ekibiina kya Democratic Party okuva mu 2010, emirundi essatu nga yesimbawo ku bwa Pulezidenti era yaweereza nga sentebe wa Local Council 5 owa Disitulikiti y'e Gulu. Ye Minisita w'ebyamateeka mu Gavumenti ya Uganda, offiisi gy'eyafuna nga 21 Ogwomusanvu 2022. Yalondebwa Yoweri Museveni, Pulezidenti w'eGgwanga Uganda. Okulondebwa kwe kwavirako ba mmemba b'ekibiina kye ekya Democratic Party okumunenya ennyo, nga ekibiina kino akola nga omukulembeze w'akyo. Ky'alabibwa nga enkola ya Pulezidenti Museveni eno yagenderera mu okusaanyawo ekibiina ky'abwe era n'ogyawo enkola y'okuvimirira Gavumenti ye.

Obulamu bwe obw'omu buto n'emisomo gye

Mao yazalibwa nga 12 Ogwokutaano 1967. Kitaawe ye, Dusman Okee Sr. (5 Ogusooka 1942 – 3 Ogusooka 2016), owa Acholi ne nnyina yali Munyankole. Mao yasomera kussomero lya Mwiri Primary School mu Jinja era nagendako ne ku Wairaka College mu Disitulikiti y'e Jinja nga tannaba kwegata ku Namilyango College, essomero lya siniya ely'abalenzi bokka mu Disitulikiti y'e Mukono okuva mu 1982 okutuusa mu 1988. Oluvanyuma yegatta ku Ssetendekero wa Makerere University wakati wa 1988 ne 1991, nga yatikkirwa Diguli mu mateeka. Yaweerezaako nga Pulezidenti wa bayizi ku Makerere University wakati wa 1990 ne 1991. Yeyongerayo n'afuna Dipuloma mu kutaputa amateeka eya Diploma in Legal Practice okuva ku ssomero lya mateeka erya Law Development Center mu 1992. Mu 2003, yaweebwa ekifo mu Yunivasite ya Yale University, wansi w'enteekateeka ya Yale World Fellows Program, nga eyo y'amalayo omwaka gumu ku Kampasi ya New Haven, Connecticut.

Emirimu gye

Okuva mu 1992 Okutuusa mu 1994, Mao yakola nga munnamateeka mu offisi ya Kkampuni y'abannamateeka eya Kabugo and Company Advocates, esangibwa ku Kampala. Wakati wa 1994 ne 1996, yakolanga ouwabuzi era ouwi w'amagezi mu kitongole ky'amateeka ekya Uganda Law Society mu Offiisi y'abwe e Gulu. Mu 1996, yalondebwa okwegata ku Paalamenti ya Uganda, ng'akiikirira Munisipalite y'e Gulu. Ng'ali mu Paalamenti, yaweereza nga munnamateeka mu kakiiko akeneenya enkola za Gavumenti mu Paalamenti ne ku kakiiko k'ebyembalirira ku milimu gya Gavumenti. Yawummula obuweerezaabwe mu Paalamenti mu 2006 era n'alondebwa nga Sentebe wa Disitulikiti y'e Gulu.

Mao sentebe w'omukago gwa East Africa ku katuuti k'ababaka ba Paalamenti okuva mu nsi yonna ku Bbanka y'ensi yonna era mmemba ku kakiiko akakulu. Era yayambako mu kutandikawo ekitongole ekirwanirizi ky'eddembe ekya (AMANI Forum). Yali w'ankizo nnyo mu kugatta eddibu eryali wakati w'abayeekera ba Lord's Resistance Army ne Gavumenti ya Uganda nga abatemera empenda mu tteeka ly'okubaddiramu okusonyiyibwa nga ligenderera okuleetawo emirembe mu lutalo olw'ali mu Bukiikakkono bwa Uganda. Mmemba w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Democratic Party era yalangirira mu lw'atu ebigendererwa bye okwetaba mu lw'okaano lw'akalulu k'obwa Pulezidenti wa Uganda aka 2011, ng'alondeddwa ekibiina kye oba nga talondeddwa ku kaadi y'ekibiina. Yalondebwa nga Pulezidenti w'ekibiina kya Democratic Party nga 20 Ogwokubiri 2010 era neyesimbawo ku bwa pulezidenti wa Uganda mu kalulu ka bonna aka 2011. Ekibiina kya DP kyasanga okuusomozebwa kuyitirivu nnyo era kwaviirako egyawukana n'okwekutulau ebiwayi bibiri mu kaseera k'okulonda. Yafuna obululu butono era Pulezidenti Yoweri Museveni yaddamu nalondebwa mu kisanja ekirala. Mao ne munne bwe baali bavuganya ku bwa pulezidenti Kizza Besigye ne Olara Otunnu, n'abalala, bawakanya ebyali bivudde mu kulonda nga bwe by'ali bilangiriddwa bakalabaalaba b'ensi yonna ne mu nsi ya United States nti akalulu kaali k'eddembe n'obwenkanya.

Nga 21 Ogwekkuminogumu 2020, Mao, wamu n'ebaali besimbyewo ku bwa Pulezidenti Bobi Wine, Henry Tumukunde, Mugisha Muntu, ne Patrick Amuriat Oboi, bakkiriziganya okukwataganira awamu.

Nga 20 Ogwomusanvu 2022, Mao yalondebwa ku bwa Minisita w'ebyamateeka nga yalondebwa Pulezidenti Museveni ekikolwa ekyaviirako ababaka okukikubaganyako ebirowoozo naddala eri abavuganya Gavumenti. Nga 28 Ogwomusanvu 2022, Mao yakuba ebirayiro bye mu maka g'obwa Pulezidenti entebbe nga Pulezidenti Museveni ye mujulizi omukulu.

Obulamu bwe obw'omunda

Mao yali mufumbo eri Naomi Achieng Odongo, era balina abaana babiri ab'obulenzi. Bayawukana nga 27 Ogwokutaano 2019, oluvanyuma lw'emyaka 16 egy'obufumbo. Ayogera ennimi ez'enjawulo omuli Luo, Luganda, Runyankole, n'olungereza. Mao mwana mugyanannyina eri Daniel Kidega, Sipiika w'a Paalamenti y'omukago gwa East Africa.

Ebijuliziddwamu

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Tags:

Norbert Mao Obulamu bwe obwomu buto nemisomo gyeNorbert Mao Emirimu gyeNorbert Mao Obulamu bwe obwomundaNorbert Mao EbijuliziddwamuNorbert Mao Ebijuliziddwamu ebyebweru wa WikipediyaNorbert Mao

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Kabaka wa BugandaGabonMolingaDenimaakaOmuntuGlanis ChangachirereKaluleEkipulukoEmbu z'AmannyaDenis OnyangoEnjatuzaNepalAmaanyiSsekabaka Daudi Cwa IILiberiyaHo Chi Minh CityEmpalirizo eviira amakkati(Centrifugal force)EssomansiGuinea-BissauVladimir PutinEunice Musiime27Beatrice Atim AnywarRwashaEmpalirizo(Force)ZeeroMolekyoOlusasuliro(Bill, Invoice)Agago (disitulikit)SaratovPatience Nkunda KinshabaOsakaKatongaAyodiini (Iodine)EkibalanguloHima, USAEKIKA KY'EMPEEWOGatonnyaAngolaBoda-bodaAmakumi asatuMariam NaigagaEngozo n'Engolo(Cams and Cranks)MooskoAmaaso agaleeta ebinyinyiAfirikaSouth AfricaBulungibwansiCameroonPeruOmwenkanonkanoKookolo w'oku bwongoKkumi na bbiriEnsibukulaOmuntu kalimageziKakadde kamuSouth SudanMonaco🡆 More