Noerine Kaleeba

 

Noerine Kaleeba Munayuganda eyakuguka mu by'okujanjaba abantu ng'akozesa emikono, okubasomesa wamu n'okuwabula , nga musomesa era alwanirira okulaba nga akomya okusaasaana kw'okulwadde bwa siriimu, ng'era y'omu kubaatandikawo ekibiina ekirwana okukomya obulwadde bwa siriimu ekiyitibwa "The AIDS Support Organization" (TASO). Akola nga omuwi w'amagezi ku by'enkulakulana bwa pulogulaamu mu kitongole ky'amawanga amagate ekya Joint United Nations Programme on HIV/AIDS (UNAIDS). Era ono ye muyima w'ekibiina kya TASO.

Obulamu bwe

Noerine Kaleeba yagukuka mu byakujanjaba magumba, wamu n'okujanjaba abantu ng'ayita mu kubasomesa wamu n'okubawabula, wamu n'okubuda buga abantu mu bitundu nga yabifuna okuva ku Yunivasite y'e Makerere esinganibwa mu Kampala, wamu n'eddwaliro lya Robert Jones & Agnes Hunt Orthopaedic & District Hospital mu Oswestry, mu ggwanga lya Bungereza. Abadde akola nga ajanjaba abantu ng'ayita mu kubasomesa n'okubawabula mu Ddwaliro ly'e Mulago, ng'era yeeyali akulira etendekero ly'e Mulago, eriyigiriza eby'okujanjaba abantu nga bayita mu kubasomesa n'okubawabula erya Mulago School of Physiotherapy okutuuka mu 1987.

Ekibiina ekirwanirira n'okujanjaba obulwadde bwa siriimu mu Uganda (TASO)

Mu Gwomukaaga mu 1986, Kaleeba yafuna essimu okuva ewa baawe, Christopher, eyali omulwadde ennyo bweyali mu e Bungereza bweyali akola ku bya Diguli ye ey'okubiri mu by'ekikula ky'abantu n'embeera zaabwe. Baamukebera ng'alina obulwadde bwa Siriimu. Yafa oluvannyuma mu Gusooka mu 1987, ekyavirako Kaleeba okubeera omu ku baatandikawo ekibiina ekiyamba okukwasizaako abantu abalina obulwadde buno mu mwaka ogwo gwegumu, ekiyitibwa The AIDS Support Organization (TASO). Ekirubirirwa ky'ekitongole kino kyali kyakuyamba bantu abaali bakebereddwa nga balina obulwadde bwa siriimu wamu n'abaagalwa baabwe. Ekitongole kino kikwasizaako famire zaabwe abalina obulwadde buni n'ebibukwatako, wamu n'engeri y'okwefaako, kibayambe obutayongera kwongera kufuna bulwadde buno n'eera. Ekitongole kino kiwa okufaayo, obuyambe wamu n'okubudabuda, wamu n'okukunga abantu n'emirirwaano okufaayo eri abantu abalina obulwadde buno obwa siriimu oba akawuka kamukenya wamu ne famire zaabwe. Nga Nga basinziira ku mulamwa ogugamba nti, obulamu obutaliimu bulwadde, TASO kyekimu ku bibiina ebyasooka okulwanyisa obulwadde bwa siriimu ku semazinga wa Afrika, ng'era olwaleero, kyekikulembera nga eky'okulabirako mu kuyamba okubuda buda wamu n'okusomesa abantu kungeri gyebayinza okwewalamu obulwadde buno, mu mbeera ng'ebikozesebwa bitono ddala. Kaleeba yakola nga eyali akulira ekitongole kino ekya Taso mu Uganda okumala emyaka munaana okutuusa mu 1995, bweyalekulira, era n'alondebwa nga omuyima w'ekisinde kino ekya TASO.

Ensangi zino

Kaleeba akyali mu kifo ky'okubeera omuyima w'ekitongole kya TASO. Nga kuno kw'ateeka okubeera omuwi w'amagezi ku by'enkulakulana bya pulogulaamu mu Afrika,mu kitongole ky'amawanga amagate ekivunaanyizibwa ku pulogulaamu zonna ez'obulwadde bwa siriimu, ekiyitibwa "Joint United Nations Programme on HIV/AIDS" (UNAIDS). Okuva mu Gusooka mu 1996, akyasinziira ku kitebe ekikulu ekisinganibwa mu Geneva.

By'atuuseeko

Kaleeba awereddwa awaadi ku mutendera gw'ensi yonna, nga bamusiima olw'ebyo by'atuseeko mu ggwanga wamu n'ensi yonna mu kulwanyisa obulwadde bwa siriimu, nga kuno kuliko:

  • Ekirabo kya Belgian International King Baudouin eky'okubeera omukulakulanya, nga kino kyaweebwa TASO mu 1995
  • Awaadi ya Doctor of Humane Letters, Honorius Causa, mu 2000

Kaleeba awereza kubitongole eby'enjawulo wamu mu ggwanga wamu n'ensi yonna, okuli:

  • Ekitiibwa kya Diguli ey'okusatu okuva ku Yunivasite ye Nkumba mu Uganda, mu 2002
  • Diguli y'okubeera nga yakuguka mu mateeka okuva ku Yunivasite y'e Dundee, eky'e Scotland mu 2005
  • Ekitiibwa ky'okubeera nga yakuguka mu by'ensonga z'ebikwatagana kunsi yonna okuva kutendekero lya Geneva School of Diplomacy and International Relations, mu Yinivasite y'e Switzerland, mu Gwomukaaga mu 2009
  • Ekitongole ky'ensi yonna ekivunaanyizibwa ku by'obulamu, mu kakiiko k'ensi yonna akateeka esira ku bulwadde bwa siriimu
  • The Global AIDS Policy Coalition
  • The Uganda AIDS Commission.
  • Ssentebe wa Action Aid International mu 2009

Abadde omu kubatuula ku kakiiko k'ensi yona ak'ebitongole gamba nga ekya Maristopes International, Noah's Ark e Sweden, ng'era ye mumyuka wa ssente mu kitongole kya ActionAid[citation needed]

Her book, We Miss You All: AIDS In The Family is a touching account of how HIV/AIDS came into her life, and how she came to be on the front lines fighting the disease.

Laba ne bino

Ebijuliziddwaamu

Ewalala w'oyinza okubigya

Tags:

Noerine Kaleeba Obulamu bweNoerine Kaleeba Ekibiina ekirwanirira nokujanjaba obulwadde bwa siriimu mu Uganda (TASO)Noerine Kaleeba Ensangi zinoNoerine Kaleeba ByatuuseekoNoerine Kaleeba Laba ne binoNoerine Kaleeba EbijuliziddwaamuNoerine Kaleeba Ewalala woyinza okubigyaNoerine Kaleeba

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

+256EssomabiramuObubulwaMiria OboteAkataffaaliJapanEMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIRENzikiriza ey'eNiceaPaulo MuwangaSsekabaka Mutesa IIEndwadde y’omutimaRomeKAWUNYIRANana KaggaOmuko OgusookaBbuulweRadio SimbaKkumiYisaaka NetoniNnabuzaale ennemu(Mutated genes)VayiraasiBukiikakkono(North)Esther and EzekielLisangá lya Bikólo bya Molɔ́ngɔ́KasawoOlubuto olwesibyeNamunigina z'entababutonde(Ecological units)Nsanyukira ekigambo kino lyricsGhanaLesothoGreeceOmuntuBetty NamboozeAligebbulaMalawiMartin Kayongo-MutumbaENNAKU MU SSABIITIOmweziSekazziIsingiroEsigalyakagoloOlubuguumiriro lw'Enkulungo y'EnsiMediterranean SeaOmusujja gw'ensiriEkifubaSirimuKaggoRwashaKkumi na mukaagaEkinonoozo (Engineering)YitaleNigeriaEbbombo nga EddagalaLithueeniaEritreaKenyaEkibalo ekigobensonga(Variation Math)Jowaash Mayanja NkangiNampewo (the atmosphere)Iriama Rose🡆 More