Lulu Hassan

Lulu yazaalibwa mu Ssaza Mombasa era yasomera ku Aga Khan Academy.

Obulamu bwe obwasooka

Oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo gye, Lulu yatendekebwa mu mirimu egy'enjawulo egikwata ku by'obulambuzi mu Salrene Travel Operations College. Oluvannyuma yatandika okukola ng'omuweereza ku leediyo eya Salaam e Mombasa era n'asalawo okweyongerayo n'emisomo n'asoma eby'amawulire.

Emirimu

Lulu Hassan yatandika omulimu gwe ogw'amawulire ng'omwanjuzi ku leediyo eya Salaam oluvanyuma lw'okumaliriza emisomo gye egya siniya. Mu 2008, yali akola ng'omuweereza w'amawulire ku leediyo, nga agasoma mu Lungereza. Mu kiseera kino omutambi wa KTN yamutegeeza ku kizibu obwali ku mukutu, ng'abanaabwe babiri ab'oluswayiri bwebaali baagenda mu luwummula lw'okuzaala. Hassan yasalawo okweteeka mu kabaate okufuna omulimu gun era bebamwekebegya, yaweebwa omulimu ku KTN Television ng'omusomi w'amawulire.

Oluvannyuma yagenda ku Royal Media Services, gye yeeyongera okukola ng'omusomi, w'amawulire, era ng'akola neku pulogulaamu eya Nipashe Wikendi ne Rashid Abdalla ku Citizen TV.

Lulu Hassan y'avunaanyizibwa ku kukuuma erinnya era omutandisi wa Jiffy of Pictures, ennyumba y'okufulumya firimu gy'akulira n'omwami we, Rashid Abdalla. Jiffy Pictures yafuna ettutumu olw'okufulumya programu z'oku ttivi ez'omu ezayagalibwa okulagibwa ku mikutu nga nga MultiChoice's DStv ne Showmax. Hassan era yemuteesiteesi wa flimu enyimpimpi ez'ebitundu ezifulumizibwa Jiffy Pictures okuli Maria, Sultana, Zora, Moyo ne Aziza ku Citizen TV, Huba ku Maisha Magic Bongo, Kovu ku Showmax, ne Maza ku Maisha Magic East. Mu 2018, Maza yalondebwa okuba akazannyo ka ttivi akaasinga era ng'omuzanyi omukyala eyasinga ku Awaadi eza Kalasha. Obuzannyo buno bwa ttutumu mu Kenya ne Tanzania kuba olulimi oluswayiri gyerusinga.

Obulamu bwe

Lulu Hassan yafumbirwa Rashid Abdalla, omuweereza w'oluswahili ku Citizen TV mu Royal Media Services. Bombi bafumbiriganwa mu 2009 e Mombasa, oluvannyuma lw'okusisinkana nga bakolera ku Radio Salaam.

Okusiimibwa

Lulu yaweebwa engule ya "Mwanamke Wa Shoka" (Omukazi ow'okusikirizibwa) mu East Africa mu 2022 Mwanamke wa Shoka awards eyateekebwawo ekitongole kya Tanzania media house EFM ne TVE.

Lulu yaweebwa ekirabo kya Best Movie/Series Producer of the Year mu Africa mu 2022 ZIKOMO Awards. Embaga y'ebirabo mu nsi yonna yakwatibwa mu Zambia.

Lulu Hassan, ng'ayitira mu kkampuni ye Jiffy Pictures, yawangula ekirabo kya Best Producer Award (TV Drama - Maria) mu 2021 Women in Film Awards ceremony.

Ebyawandiikibwa

Tags:

Lulu Hassan Obulamu bwe obwasookaLulu Hassan EmirimuLulu Hassan Obulamu bweLulu Hassan OkusiimibwaLulu Hassan EbyawandiikibwaLulu Hassanen:Aga Khan Academiesen:Mombasa County

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Obulwadde bwa AnthraxMbazziOkulumwa omutweDdaazaElizabeth Beikiriize KarungiYugandaAlgeriaLithueeniaHellen OburaBINOJOBetty Aol OchanEnnima ey'obutondeMiria MatembeZari HassanEssomabwengulaDenis Obua (omukubi w'omupiira)WarszawaChristine Ntegamahe MwebesaWalifu y'OlugandaKibwankulataENIIMUKookolo w’omu lubutoKookolo w'amawuggweRose Lilly AkelloCorsicaBotswanaAmuruEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiBeti Kamya-TurwomweKatumba WamalaUgandaBabungi Josephine BebonaMotley County, TexasCayinaEkika ky'embogoGreat BritainRobina Gureme RwakoojoNelson MandelaAsiaOlupapula OlusookaLunaanaCecilia OgwalNorth AmericaPillar of shame (Empagi yo Buswavu)Ruth NankabirwaDavid WoodardDavid BahatiBurundiKitagata🡆 More