Josephine Wapakabulo

Josephine Wapakabulo, era Josephine Wapakabulo Thomas, yinginiya mu by'amasanyalaze era mukungu mu bizinensi.

Yaweerezako ng'omutandisi avunanyizibwa ku kukuuma erinnya ly'ekitongole ekya Uganda National Oil Company (UNOC). Yalondebwa mu June 2016, era yeyasooka okuweereza mu kifo ekyo. Yalekawo omulimu gwe ogwa CEO wa UNOC, okuva nga 13 Ogwokuna 2019, "okussa essira ku maka ge n'emikisa emipya".

Ebyafaayo n'okusoma

Yazaalibwa mu 1976, mu Arusha, Tanzania. Muwala wa Angelina Wapakhabulo n'omugenzi James Wapakhabulo. Yasomera ku Loughborough University mu Bungereza, nga yinginiya ow'ebyamasanyalaze, nga yafuna BEng, MSc ne PhD mu yunivasite yeemu. Alina ne Executive MBA okuva mu INSEAD Business School mu Bufalansa.

Emirimu

Okuva mu 2000 okutuuka mu 2002, Wapakabulo yakolako ng'omukulu w'abatendesi era n'omuteesiteesi w'ekitundu mu Coventry, Bungereza. Okuva mu 2002 okutuuka mu 2006, yakola ng'omunoonyereza mu LSC Group Consulting mu Lichfield, United Kingdom. Mu 2006, yeegatta ku Rolls-Royce mu Derby, United Kingdom,nga omukugu mu Business Process & Information Engineering, ekifo mweyaweereza okutuusa mu 2011. Okuva mu 2011 okutuuka mu 2014, yaweererezaako mu Kampuni enkozi y'emmotoka eya Rolls-Roce ng'avunaanyizibwa ku mutindo mu kitundu ekya Berlin,Germany.

Wakati wa 2014 ne 2015, yaweereza nga Chief Operating Officer mu The Walk Free Foundation mu Perth, Australia. Mu 2015, yakomawo mu Uganda n'akola ng'eyebuzibwako ku bya bizinensi mu Kampala okutuusa mu 2016. Yalondebwa nga CEO akakiiko ka akafuzi aka UNOC, mu June 2016.

Yatwala ekifo kye mu Uganda National Oil Company nga 1 Ogwomunaana 2016, ng'obumanyirivu obusukka mu myaka 16 mu bukulembeze, okuzimba obumu mu bakozi, okulondoola n'okuvumbula mu makapuni agali munsi ez'enjawuo mu zisemazinga eziwerako. Mu kiseera kino, ye mutandisi era addukanya TIG Africa.]

Laba era

Ebijuliziddwa

Tags:

Josephine Wapakabulo Ebyafaayo nokusomaJosephine Wapakabulo EmirimuJosephine Wapakabulo Laba eraJosephine Wapakabulo EbijuliziddwaJosephine Wapakabuloen:Business executiveen:Engineeren:Lichfield

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

SsebwanaKookolo W’omu musaayi (Leukemia)SudaaniTerrell County, GeorgiaEnsibukulaAkasana ddagala eri abalwadde ba pulesaNakasigirwaNooweWikipediaBagandaMadagascar (firimu)Amakumi abiri mu nnyaLangiNzikiriza y'AbatumeEnjubaEbiseeraGodfrey BinaisaObuwakatirwaEkipulukoKookolo w'amawuggweSouth AmericaKilaabu ya SC VillaFlavia TumusiimeEkikataOkulya emyunguCherokee County, GeorgiaHo Chi Minh CityWakiso (disitulikit)OmweziEbirwaza(Diseases)MooskoOmuntuKalagi, MukonoAlgeriaChileEddagala eriyitibwa Mwambala zitonyaLogan County, OhioMbale (disitulikit)Wolfe County, KentuckyPaulo MuwangaEbitontome bya Charles Muwanga Ebya Sayansi(Charles Muwanga's Poems of Science)Eddagala erigema endwadde ya kkoleraAmazziEnkulungo y'Ensi (The Planet Earth)SwiidenBugandaFlorence NamayanjaBarbie KyagulanyiKandidaAmerikaKkanisa ya Yeso EyannamaddalaStella Isodo ApolotRadoje DomanovićEssomampandiikaAligebbulaDiana NkesigaEmisingi gya NambaZviad GamsakhurdiaOmukka (Ggaasi)Ruhakana RugandaAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaLugandaSung Jae-gi3SekazziOkubeera olubutoDenis Obua (omukubi w'omupiira)🡆 More