Joseph Ochaya

 

Joseph Benson Ochaya (eyazaalibwa nga 14 Ogwekkumineebiri 1993) munnayuganda omuzannyi w'omupiira gw'ebigere azannyira ttiimu y'e Misiri Al Mokawloon Al Arab ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda ng'omuzibizi w'oku ludda olwa kkono.

Ochaya azannye omupiira gwa kiraabu ku Kampala City Council/Kampala Capital City Authority, Navibank Sài Gòn, Asante Kotoko, ne Lusaka Dynamos, TP Mazembe ne Al Mokawloon Al Arab.

Olugendo lwe olw'omupiira

Yazaalibwa mu Kampala, era Ochaya yatandika omupiira gwe ogw'ekikugu mu Kampala City Council.

Mu Gwekkuminoogumu gwa 2012, yava mu Kampala City Council n'agenda mu ttiimu y'e Ghana eyitibwa Asante Kotoko ku nsimbi ezigambibwa okuba $30,000. Yagenda mu kugezesebwa ku ttiimu y'e Bugirimaani eya SpVgg Greuther Fürth mu Gwomunaana gwa 2013. Ye yali omuzannyi wa Uganda Premier League asinga okubalirirwamu ensimbi mu sizoni ya 2015-16 ng'azannyira Kampala Capital City Authority. Okwegatta ku ttiimu ya Bidvest Wits ey'e South Africa mu Gwomunaana 2016 kwagwa butaka.

Mu Gwokusatu 2017, Ochaya yeegatta ku ttiimu y'e Zambia emanyiddwa nga Lusaka Dynamos. Mu Gwekkumi 2018, yassa omukono ku ndagaano ne ttiimu ya TP Mazembe ey'e Congo. Mu Gwomwenda 2022, yeegatta ku ttiimu ya Al Mokawloon Al Arab ey'e Misiri.

Ttiimu y'eggwanga

Ochaya yayitibwa omulundi gwe ogwasooka ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda mu Gwomwenda 2012, n'azannya omupiira gwe ogusooka ng'omwaka ogwo guggwaako. Alzannye mu mipiira gy'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za FIFA World Cup. Yali kitundu ku ttiimu eyeetaba mu mpaka za African Nations Championship eza 2016.

Ebibalo bye eby'omupiira

Ttiimu y'eggwanga

Ttiimu y'eggwanga lya Uganda
Omwaka Emipiira Ggoolo
2012 6 0
2013 1 0
2014 3 0
2015 10 0
2016 13 1
2017 7 0
2018 5 1
2019 1 0
Omugatte 46 2

Ggoolo z'ateebye mu matiimu g'ebweru

    Ggoolo z'e Uganda ze zisooka okulagibwa.
No. Ennaku z'omwezi Enfo Omulabe Ebyavaamu Ekivuddemu Empaka
1. 19 Ogwolubereberye 2016 Ekisaawe kya Umuganda, Gisenyi, Rwanda  Mali 1-0 2-2 African Nations Championship eza 2016
2. 24 Ogwokusatu 2018 Ekisaawe kya Mandela National Stadium, Kampala, Uganda  São Tomé and Príncipe 1-0 3-1 Gwa mukwano

Ebijuliziddwa

Template:Uganda squad 2017 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2017 Africa Cup of Nations

Tags:

Joseph Ochaya Olugendo lwe olwomupiiraJoseph Ochaya Ttiimu yeggwangaJoseph Ochaya Ebibalo bye ebyomupiiraJoseph Ochaya EbijuliziddwaJoseph Ochaya

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Ennima ey'obutondeEddagala lya ulcers ez'omulubutoObulwadde bw'Okulumizibwa amaguluNorbert MaoKamwenge (disitulikit)KampalaKisoziKabaka wa BugandaMunnasomankuluze(Lexicographer)LibyaYisaaka NetoniMukono (disitulikit)Maria KiwanukaPenny TinditinaBrasilKiara KabukuruYoweri MuseveniYaroslavlParamoreMooskoNajibu KivumbiCentral African RepublicGombeOmweziMunaanaOlupapula OlusookaBugoyeFlavia TumusiimeAbayita AbabiriEmmanvuEkitangaalaEntry InhibitorAfirikaAmateeka agafuga Empandiika y'OlugandaLulyansoloSembuya Nalumu MaryEmpewo eya kiwanukaEkibulunguloEndwadde z'EkikabaMbogoCallaway County, MissouriKifabakaziKole (disitulikit)ObuteyabyaMuhammad SsegirinyaOmukutule ogwa bulijjo(Common fraction)OLUBUTO OKWESIBAThe concepts necessary for Luganda discourse on EnergyLewis County, MissouriNkoniNnamusunaEnsengekera z'Omubiri (Body Systems)Angela KaluleMpigi (disitulikit)Gloria MuzitoLydia JazmineEkipimampeto(Protractor)Red Hot Chili PeppersOmuntu🡆 More