Jane Avur Pacuto

Jane Avur Pacuto (yazaalibwa nga 6 Ogusooka 1966) Mukazi Munnayuganda, munnabyabufuzi era mubazi w'amateeka.

Akiikirira abantu b'e Pakwach ng'omubaka omukazi owa Disitulikiti mu Paalamenti ya Uganda. Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement(NRM), akibiina ekikulemberwa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni.

Emisomo gye

Jane avur pacuto emisomo gye egya Pulayimale yagisomera ku Nabiyonga primary school era ebigezo bye ebyakamalirizo ebya primary leaving examinations(PLE) yabikola mu 1982, Oluvanyuma y'egatta ku Sacred Heart secondary school Gulu ng'eno yamalirayo Uganda Certificate of Education(UCE) mu 1985 era nakkirizibwa mu Kibuli secondary school mu misomo gye egya A'level era nakola ebigezo bye ebya Uganda Advanced Certificate of Education(UACE) mu 1988. Bweyavva eyo, yegatta ku Ssettendekero wa Makerere natikkirwa Diguli esooka eya bachelor's degree in social sciences mu 1991, oluvanyuma yayongerako Diguli ey'okubiri mu kukwasaganya bizinensi eya master's degree in business administration okuva mu Islamic University in Uganda(IUIU) mu 2008

Emirimu gye

Jane avur pacuto abadde mubaka mu Paalamenti ya Uganda okuva 2017 okutuusa kati, Yali mmemba ku kakiiko k'abakulembera ekitongole kya Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority(URBRA) okuva mu 2015 okutuusa mu 2017, era n'okuva mu 2004 okutuusa mu 2008 yali kalabaalaba w'abewola ensimbi mu microfinance support centre limited, Okwongera kw'ekyo, yali muyambi w'akulembera pulojekiti ya rural microfinance support project okuva mu 2004 okutuusa mu 2008. Okuva mu 1998 okutuusa mu 2004 yali muyambi w'akulembera pulojekiti poverty alleviation era yali akwasaganya eby'ensasula mu Kkampuni ya Uganda central transport and clearers limited okuva mu 1991 okutuusa 1998.

Mu Paalamenti aweereza ku kakiiko k'ebyensimbi nga omumyuka wa Ssentebe

Ebijuliziddwamu

Tags:

en:National Resistance Movementen:Pakwachen:Parliament of Ugandaen:Yoweri Museveni

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

David LutaloAfirikaKitagata, YugandaSayansi w'EbyamalimiroZimbabweSenegalCecilia OgwalEkitongole kya Uganda Conservation FoundationJesu KristoEverlyn ChemutaiGavi (footballer)Esther Mayambala KisaakyeOmuteeko/Entuumo y'ebiramu(Biomass)Enkulaakulana y'Entabaganya(the Development of Society)KibaaleEkika ky'embogoPhiona MutesiAmakumi abiri mu mukaagaObunnafu mu mubiriLatviaAmambuluggaMowzey RadioOkweralikirira ennyoAnnet Katusiime MugishaJacob OulanyahAkatiko akabaalaEkitontoKibulalaJulia SebutindeEmbu z'EbigamboAlgeriaBufalansaOlupapula OlusookaWarszawaVeronica Namaganda NanyondoBaskin-RobbinsBupoolo20000 (ennamba)OmugongoPeter ElweluEbirwaza(Diseases)NigeriaPallasoJoy AtimYitaleAbakulembeze ba UgandaUganda People's CongressDavid BahatiSusan AmeroNzikiriza ey'eNiceaENNAKU MU SSABIITIBubirigi🡆 More