Francis K. Butagira

Francis K. Butagira (yazaalibwa nga 22 Ogwekkumi n'ogumu 1942) Munnayuganda, munnamateeka, mulamuzi, munnabyabufuzi era omuteesa eyawummula, ye Ssentebe w'ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau (URSB), ekitongole kya Gavumenti ya Uganda ekivunanyizibwa ku kuwandiisa abantu. Yalondebwa ku kifo kino mu Gwekkumi 2015. Mu kaseera keekamu aweereza kkampuni ya bannamateeka mu Kampala nga Managing Partner owa Butagira and Company Advocates.

Nga ebyo tebinnabaawo, yaweerezaako nga omubaka mu Paalamenti era nga Sipiika wa Paalamenti ya Uganda okuva mu 1980 okutuuka mu 1985. Era aweerezzaako nga Ambasada wa Uganda mu mawanga okuli Ethiopia, Kenya, Germany, Austria ne mu Vatican. Era yaweerezaako nga omulkiise wa Paalamenti ya Uganda mu kibiina ky'amawanga amagate ekya United Nations.

Obuvo n'obuyigirize

Butagira yazaalibwa nga 22 Ogwekkumi n'ogumu 1942, muBugamba, Mbarara District, mu Bugwanjuba bwa Uganda. Yasomera ku ssomero lya Ntare School mu Mbarara, gye yafunira Satifikeeti eyenkanankana ne High School Diploma. Oluvanyuma yasomera mu University of Dar es Salaam ey'e Tanzania ne ku Harvard Law School. Alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws n'eya Master of Laws. Mmemba wa Uganda Bar era munnamateeka mu kkooti ensukkulumu eya Supreme Court of Uganda.

Ebyemirimu

Ng'omuweereza w'abantu

Yali Mmemba mu kakiiko k'eggwanga akeebuzibwako aka National Consultative Council okuva mu 1979 okutuuka mu 1980 era omulamuzi wa kkooti enkulu wakati wa 1974 ne 1979. Mu 1974, yali mulamuzi omukulu mu kkooti y'e Mbarara, ne mu Kkooti ya Buganda Road Law Courts mu 1973. Yakulirako ekitongole ky'ebya mateeka ku ttendekero ly'ebya mateeka erya Law Development Centre mu 1969 ne mu 1970, Yasomesaako ebya mateeka ku ssomero ly'ebya mateeka erya Nsamizi Law School mu 1968 era naweereza nga munnamateeka wa Gavumenti owa Minisitule y'ebyamateeka mu 1967.

Nga munnabyabufuzi

Nga tannalondebwa ku bw'okuteeseza eGgwanga, yaliko Ssentebe wa kakiiko k'ebya mateeka neby'obutebenkevu mu National Assembly of Uganda okuva mu 1989 okutuuka mu 1996. Butagira yali Sipiika wa Paalamenti ya Uganda wakati wa Ogwekkumi n'ebiri 1980 ne 1985. Yaliko Pulezidenti w'olukiiko olwa wamu olwa European Economic Community ne African, Caribbean and Pacific Group of States (EEC/ACP).

Emirimu gy'obuteesa

Butagira yafuuka omukiise w'ekkalakalira mu kibiina kya mawanga amagatte mu Gwomusanvu 2003 oluvanyuma lw'okuweereza okuva mu 2000 nga omutabaganya mu njogerezeganya z'okuleetawo obutebenkevu mu Sudan eyamanyikibwa nga Sudanese peace talks ezavujirirwa ekitongole kya Intergovernmental Authority on Development (IGAD). Mu 1999, yakulembera ekibiina kyabakugu abakulembera enteekateeka z'okuteekawo omukago gwa East African Community. Yaweerezaako mu Nairobi nga Kaminsona wa Uganda omukulu era omukiise ow'ekkalakalira eri Pulogulaamu y'obutonde bwensi ey'ekibiina kya mawanga amagatte ekya United Nations Environment Programme (UNEP) era ne mu Pulogulaamu ya United Nations Human Settlements Programme (UN-HABITAT). Mu 1998, yali Ambaasada wa Uganda mu Ethiopia era omukiise omw'enkalakkalira mu kibiina kya Organization of African Unity (OAU) mu uhz.

Laba na bino

Ebijuliziddwamu

 

Tags:

Francis K. Butagira Obuvo nobuyigirizeFrancis K. Butagira EbyemirimuFrancis K. Butagira Laba na binoFrancis K. Butagira EbijuliziddwamuFrancis K. Butagira

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Abayita AbabiriPichilemuAbokeBugoyeLibyaSsekalowooleza GguluVladimir PutinMadagascar (firimu)EntebbeLillian MutuuzoArmando BrojaKrakówThanh HoaNajibu KivumbiOkulowooza(thinking)Lutikko ya NamirembeOLukalala lw'Emiramwa egy'Ekibalangulo(a List of Luganda mathematical terms)Amelia KyambaddeKilimanjaroEbyobuwangwa (Culture)PakwachFrida KahloBobiEkyenda ekineneZambiaFarouk MiyaEdirnePikachuSembuya Christopher ColumbusRukungiriEMMYEZISpecioza KazibweOkuyimbulukukaIsingiro (disitulikit)LiberiyaOkugwamu amazziBagandaKatongaEnkakaKalungu atabaalaAmakumi abiri mu mukaagaYaroslavlEswatiniLungerezaCBS FM BugandaSudaaniGloria MuzitoApollo MakubuyaFlavia Tumusiime🡆 More