Ekkuumiro Ly'ebisolo Erya Rwenzori Mountains National Park

Ekkuumiro ly'ebisolo erya Rwenzori Mountains National Park

Ekkuumiro ly'ebisoro Rwenzori Mountains National Park kifo omukuumirwa ebisolo mu Uganda era ekyakakasibwa UNESCO erisangibwa mu nsozi z'e Rwenzori. Kumpi kkiromita 1,000 (386 sq mi) mu bugazi. Ekkuumiro lirimu olusozi olwokusatu olusinga obuwanvu mu Africa, ebiriyiriro, ennyanja, n'omuzira. Ekkuumiro limanyiddwa olw'ebimera lyalyo ebirungi.

Ebyafaayo

lyatandikibwawo mu 1991. Lyakakasibwa UNESCO ng'ekifo eky'obulambuzi mu 1994 olw'obulungi bw'endabika bwalyo ey'obutonde. Abayeekera beefunza ekkuumiro ly'ebisolo erya Rwenzori Mountains okuva mu 1997 okutuuka Ssebaaseka 2001. Ekkuumiro lyateekebwa ku lukalala lwa UNESCO olw'ensi yonna olw'ebifo by'obulambuzi ebyali mu katyaba wakati wa 1999 ne 2004 olw'obutaali butebenkevu n'ebbula ly'ebikozesebwa mu kkuumiro. because of insecurity and a lack of resources in the park.

Enkula y'ekifo

lisangibwa mu bukiikakkono - bw'obugwanjuba bwa Uganda mu bugwanjuba bw'obuvanjuba bwa African Rifty Valley. Esangibwa ku nsalo ya Uganda ne Democratic Republic of Congo (DRC) era esalagana n'ekkuumiro ly'ebisolo erya Virunga National Park mu DRC nga nalyo lyakakasibwa UNESCO ng'ekifo eky'obulambuzi nga litudde ku bwagaagavu bwa kkiromita 50 (31 mi). Lyebunguluddwa disitulikiti y'e Bundibugyo, Kabarole, ne Kasese , kkiromita 25 (16 mi) okuva mu kabuga k'e Kasese. Liri ku sukweya kiromita 996 (385 sq mi) mu bugazi nga ebitundu nsanvu ku buli kikumi lisukka mu buwanvu bwa mmita 2500 mu bbanga (mmita 8,200ft). Ekkuumiro liri kkiromita 120 obusimba ne kkiromita 48 (30 mi) mu bugazi.

Ekkuumiro lizingiramu amasekkati n'obwanjuba bw'olusozi Rwenzori, ensozi n'omuseetwe ebisangibwa mu bukiikaddyo bwa yikweta. Ensozi zino ngulumivu okusinga olusozi olusinga obuwanvu mu bulaaya era luliko omuzira. Olusozi Staneley lusangibwa mu kkuumiro. Akasongezo Margherita ke kamu ku busozi obulongo bw'olusozi Stanley, mu Afirica ke kasongezo k'olusozi akookusatu mu businga obuwanvu nga kati ku buwanvu bwa mmita 5,109 (16,762ft) . Obusongezo bw'ensozi akookuna n'akookutaano obusinga obuwanvu mu Afira Speke ne Baker nabwo busangibwa mu kkuumiro. Ekkuumiro lirimu omuzira, ebiriyiriro n'ennyanja nga lwe lumu ku nsozi ezisinga obulungi mu Africa.

Ebirimu

Ekkuumiro lirimu ebintu eby'enjawulo ebitasangibwa mu bitundu birala era nga ebimu ku byo biri mu katyabaga k'okusaanawo. Lirimu ebimera eby'ejawulo n'emiti. Ekkuumiro lirirmu ebimera eby'enjawulo era nga bitwalibwa okuba nga ebimu ku byo bye bisinga obulungi mu nsi yonna. Lirimu ebika by'omuddo bya mirundi etaano nga bino bikyuka okusinziira ku buvanvu obuli wakati w'ettaka n'ebbanga. Ekkuumiro lirirmu ebika by'ebinyonyi 89, eby'ebiwojjolo 15, n'eby'ebisolo ebiyonsa 5. Ekkuumiro lirirmu ebika by'ebisolo eby'enjawulo nga bino bisinziira ku kifo w'oli. Muno mulimu, enjovu, Kimpanze, enkima enjeru, engabi ne Rwenzori tulaco.

Ekkuumiro Ly'ebisolo Erya Rwenzori Mountains National Park 
Omukazi mu nsozi za Ruwenzori

Enkuuma n'okulambula

Ekkuumiro lya gavumenti ya Uganda nga eyita mu Uganda National Parks. Likuumibwa era ekintu kyonna kiyinza okuggyibwamu okuyita mu kakiiko k'obuyinza. kasese kkiromita 437 (260 mi) mu buvanjuba bw'ekibuga ekikulu Kampala, gy'okwata okugenda mu kkuumiro. Ekibuga kirima amawooteri n'ebisuloawasula abalambuzi. Ekkuumiro lirina amakubo omuyita abantu n'obulungi obutatera kulabika. Okulambula okusinga obungi kwe kw'ennaku omusanvu.




References

Tags:

Ekkuumiro Ly'ebisolo Erya Rwenzori Mountains National Park EbyafaayoEkkuumiro Ly'ebisolo Erya Rwenzori Mountains National Park Enkula yekifoEkkuumiro Ly'ebisolo Erya Rwenzori Mountains National Park EbirimuEkkuumiro Ly'ebisolo Erya Rwenzori Mountains National Park Enkuuma nokulambulaEkkuumiro Ly'ebisolo Erya Rwenzori Mountains National Park

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

EnjobeAsiaDenimaakaEnjubaKalifuwaBubirigiEngeri ez'enjawulo ez'okuzimbamu emiramwa gy'ekibalangulo mu Luganda(the different techniques of forming mathwords in Luganda Language)National Unity PlatformEnjokaSeychellesIdi AminEnnambaBassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abeddaEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiGiosue BellagambiKookolo w'amawuggweBurkina FasoFlippyRadoje DomanovićLuyiika (liter)BrasilMcIntosh County, GeorgiaEkibulunguloLithueeniaEntababutondeNolweSwiidenObuwakatirwaEndwadde y'okusiiyibwa amaasoOkulima ebitooke ebyomulembeEkitontoEbitontome bya Charles Muwanga Ebya Sayansi(Charles Muwanga's Poems of Science)Immaculate AkelloKikajjoZviad GamsakhurdiaObulwadde bw 'ensusuEbyetaagisa okukuza ebirime (Conditions for growth of Crops)BupooloCherokee County, GeorgiaOkukola obulimiro obutonoChileKizuna AIEnkulungo y'Ensi (The Planet Earth)YitaleENGERO ZA BUGANDACayinaJohn Chrysestom MuyingoOkusogola omwengeOkulima green paperVladimir PutinMauritiusRose AkolRwandaFrancis ZaakeNnamusunaNakasigirwaGatonnyaAllen KaginaMolekyoKifabakaziEMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIREEbirwaza(Diseases)MaliNzikiriza ey'eNicea🡆 More