Eddagala Erigema Amambulugga

Amambulugga bulwadde obukwata omuntu amatama ge ne gazimba.

Eddagala erigema amambulugga litangira bulungi amambulugga era ne kikendeeza obulabe mu bantu. Singa abantu babeera bagemeddwa bulungi, akatyabaga kano kakendeezebwa okuva ku bitundu kyenda ku kikumi okutuuka Ku bitundu kinaana mu bitaano.

Omwana agemembwa amambulugga, alina okufuna ekipimo kya mirundi ebiri nga ekisooka akifuna nga ali wakati w'emyezi 12 okutuuka Ku 18 ate eky'okubiri okufuna ali wakati w'emyaka ebiri okutuuka ku mukaaga.

Eddagala lino ddungi era teririna bulabe ku muntu. Liyinza okuleetera omuntu obulumi obutonotono wamu n'okuzimbamukko mu kifo ewabeera wagemeddwa. Eddagala lino teriteekwa kuweebwa mukyala ali lubuto kuba kiyinza okumuviirako okuzaala omwana ali mu mbeera embi.

Mu nsi ezaakula n'ezikyakula obulwadde buno bugattibwa ku ndwadde ezigemebwa nga olukusense. Mu 2005, ensi ezisukka 110 zaawa abantu baazo eddagala lino era mu bitundu eddagala lino gye lyagabibwa kyakendeeza ensaasaanya y'obulwadde buno okutuuka Ku bitundu 90%.

Okugema amambulugga

Eddagala errigema amambulugga lyayisibwa mu 1948 naye okusooka lyasaasaana mu bifo bitono n'oluvannyuma ne liteekebwa mu matundiro mu myaka gya 1960. Eddagala lino liri ku lukalala lw’eddagala eriwagirwa Ekitongole ky'Ensi yonna ekikola ku byobulamu.

Enzijanjaba mu Buganda

Wano mu Buganda, omuntu alwadde amambulugga asiigibwako enziro evudde ku ssefuliya gy'ataliiramu mmere. Entula ezengedde nazo zikozesebwa okujjanjaba amambulugga.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

SsatuEkirwadde kya CholeraBoyd County, KentuckyOmutubaFred RwigyemaKandidaAmerikaObulemu ku maasoEkigoberero kya AkimeediziMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaGhanaImmaculate AkelloEmbu z'EbigamboMikheil SaakashviliCatherine Samali KavumaEnnima ey'obutondeEnzirukanya y'ekitongole ey'Omupango (Strategic Management)Jens GalschiøtBaskin-RobbinsNabulagalaKolomiyaamu(Chromium)Luuka (disitulikit)PichilemuKirinnyaEndwadde y’omutimaSwiidenEnsiKookolo w'oku bwongoEssomabiramuEnuuni ezimbyeCa MauEntaseesaKkumi na munaanaOkulumwa omutweEunice MusiimeNovorossiyskEnsengekera z'entababutonde(Ecological systems)Essikirizo (Gravity)Dorcus InzikuruLydia MugambeEbiseeraEnkokoFloyd County, KentuckyWinnie KiizaSalim SalehLatviaPatience Nkunda KinshabaNelson MandelaEssomabwengulaPolotozoowaNabuzimbeKabakaEssomampimo (Geometry)BuyonaaniOkuzaala omwana omufuComorosEkiyondoNakongezalinnyaBhumibol AdulyadejAamito LagumObuzimbe bwa atomu (the atomic structure)Omukutule ogwa nigeemu(Unit fraction)Fakikya (fact)Knox County, Kentucky🡆 More