Ebitontome Bya Charles Muwanga Ebya Sayansicharles Muwanga's Poems Of Science

Gakuweebwa Charles Muwanga !!

1.Ekitontome ky'Amasoboza (The Poem on Energy)


Amasoboza agasoboza ebisoboka

Tewali kisoboka, tewali kikolebwa awatali Masoboza

Amasoboza maanyi agasoboza

Gano ge masoboza Gano ge masoboza

Amasoboza agasoboza ebisoboka


Amasoboza agasoboza ebisoboka

Tewali kisoboka, tewali kikolebwa awatali masoboza

Waliwo amasoboza eg’ebbugumu

Gaba masoboza ga bwoki, masoboza ga nabbugumya

Gano ge masoboza agajjiisa ebifumbibwa


Amasoboza agasoboza ebisoboka

Tewali kisoboka, tewali kikolebwa awatali masoboza

Waliwo amasoboza ag’ekitambuzo

Gano ge gatambuza ebitambula ng’emotoka

Ennyanguyirizi n’ebiramu


Amasoboza agasoboza ebisoboka

Tewali kisoboka, tewali kikolebwa awatali masoboza

Waliwo amasoboza agava mu kulya

Gano ge masoboza ag’emmere

Atagalina nga taakole

Anti gava mu kulya


Amasoboza agasoboza ebisoboka

Zino z’ensibuko z’amasoboza

Waliwo amafuna aga nakavundira

Amafuta ag’amanda oba ebyanda

Enku ez’emiti n’amazzi agakulukuta 


Amasoboza agasoboza ebisoboka

Amasannyalaze masoboza

Amasoboza agava mu mazzi agakulukuta mu biyiriro

Amasoboza agava mu bitomeggero by’obuziizi

Amasoboza aga nnyukiriya gaba masoboza ga buziizi

Amasoboza agava mu bitomeggero by’obuziba

Amasoboza aga atomu gaba masoboza ga buziba


Amasoboza agasoboza ebisoboka

Lokola amasoboza! Todiibuuda masoboza!

Gakozese bulungi okukuuma obutonde bw’ensi

Toyonoona ntobazi omuli ensibuko y’amazi

Buli awava omuti simbawo omuti

Ogwo mulanga gwa Kabaka wo !!



2. Ekitontome kya "Empalirizo" ekisooka

 (the first poem on "the Forces") 


Empalirizo Empalirizo

Empalirizo eba mbeera ewaliriza

Tewali kuva awatali mpalirizo

Okuva kwonna kwetaaga empalirizo

Emotoka okuva yetaaga empalirizo

Ennyonyi okuva yetaaga empalirizo


Empalirizo Empalirizo

Empalirizo ziva mu kusika, okusindika, oba okunyooleza

Okuseetuka kuva ku mpalirizo

Okutambula kuva ku mpalirizo

Empalirizo ebeera mbeera ewaliririza

Awatali mpalirizo tewaba kuseetuka yadde okuva mu kifo


Empalirizo Empalirizo

Ekitambuzo nakyo kyetaaga empalirizo

Ekitambuzo kyetaaga amasoboza agasobozesa empalirizo

Ekitambuzo kubaamu okuseetuka

Kuno kuba kuva


Empalirizo empalirizo

Zirimu ekikuubagano, ekinyigirizo, n’ekikkatiro

Zirimu Essikirizo n’ensikirizo

Ensikrizo ziba za magineeti

Ate essikirizo liba lya seng’endo

Wakati w’ enjuba ne enkulungo zayo


3. Ekitontome ky'Empalirizo eky'Okubiri

     (the second poem on "the Forces") 


Mpalirizo Mpalirizo

Eba mbeera ewaliriza n’eviirako okuva

Okuva kuseetuka, kutambula, kuva mu kifo

Sindika osike

Okole empalirizo


Mpalirizo, Mpalirizo

Zikola okutambula, zikola okudduka, n’okufumuuka kw’enfuumo

Emisinde nagyo giva ku mpalirizo

Emisinde n’obwolekero bikuwa engenda velocity


Mpalirizo Mpalirizo

Zikola okutebenta okutebentuka n’okutolontoka

Okutebenta acceleration

Okutebentuka deceleration

Okutolontoka eba momentum


4. Ekitontome ky’ Okuva

      (The Poem of Motion) 

Motion Okuva

Okuva kuba kuseetuka, kutambula kuva mu kifo

Mu bwengula buli ekiri, kiri mu kuva

Ogwo guba mugendo

Omugendo kuva okweyongerayo


Motion Okuva

Buli mugendo kuba kuva naye si buli kuva nti mugendo

Okujugumira nakwo kuva

Okuva okweyongerayo obutereevu guba mugendo


Motion Okuva

Mu bwengula buli ekiri, kiri mu kuva

Okuva kiva ku mpalirizo

Empalirizo zetaaga amasoboza

Amasoboza agasobozesa empalirizo ezireetawo okuva


Motion Okuva

Okuva kulimu engeri

Waliwo ensibukuva Kinematics

Waliwo engerikuva Dynamics

Eryo ssomabutonde ery’okuva

The Physics of Motion


Motion Okuva

Ensibukuva ziba nsibuko za kuva

Engeri kuva ziba ngeri za kuva

Okuva kulina ensibuko mu mpalirizo

Okuva kulimu engeri ng’omugendo ogw’omwetoloovu

N’omugendo omutereevu


Motion kuva

Omugendo ogw’eomwetoloovu eba curved motion

Omugendo omutereevu eba linear motion

Omugendo guva ku mpalirizo

Empalirizo zetaaga amasoboza


5. Ekitontome ku Nabuzimbe

      (the Poem of Matter) 

Nabuzimbe Nabuzimbe Matter

Nabuzimbe Nabuzimbe matter

Buli ky’olaba ne ky’otalaba ekiriwo Nabuzimbe

Anti kirina Obuzimbe

Nabuzimbe ye Nakazaala w’Obuzimbe bwa buli kintu


Nabuzimbe Nabuzimbe Matter

Nabuzimbe era tukiyita kintu

Nabuzimbe era eba sabusitansi

Nabuzimbe era eba matiiriyo

Nabuzimbeeba nzitoya, eba nzitoyo


Nabuzimbe Nabuzimbe Matter

Embeera za Nabuzimbe ziri ttaano

Buli Nkalubo(solid), buli Kikulukusi(liquid) na buli Mukka(Gas)

Ejjengerero(Plasma) nayo mbeera ya Nabuzimbe

Oluzira nayo mbeera ya Nabuzimbe


Nabuzimbe Nabuzimbe Matter

Ekiriwo ekirabika n’ekitalabika eba Nabuzimbe

Nabuzimbe eriba enzitoya(Mass) n’obuzito

Amazzi okufaana n’enkalubo galina enzitoya n’obuzito

Empewo etalabika nayo erina enzitoya n’obuzito

Nabuzimbe ebugaana ekibangirizo kubanga erina ezitoya

6.Ekitontome ky’Amazzi

        (the poem on water) 

Amazzi Water

Erinnya ery'enkyusabuziba Chemical Name

Gayitibwa Ayidologyeni-bbiri-okisayidi

Ky’ekipooli ky’amazzi oba Molekyu y’amazzi


Galimu endagabuzimbe eya ayidologyeni

Galimu endagabuzimbe eya okisigyeni

Endagabuzinbe ezo ebbir ze zikola ekippoli molekyo y’amazzi


Amazzi gabuzabuza

Amazzi agakutte nga omuzira eba nkalubo ?

Omuzira ogumerenguse n’enduumo etondowadde kiba Kikulukusi ?

Amazzi agafumuuka , eba nfuumo ,Mukka ?


Amazzi Gannyogoze

Amazzi Gabugumye

Amazzi Gafumbeko

Olabe ekibeerwo


Amazzi ddala gabuzaabuza

Gabuzaabuza

Amazzi ddala gabuzaabuza


7.Ekitontome ku Empalirizo z’Obutonde

   (the Poem on the Forces of nature) 


Okuva kwonna kwetaaga empalirizo

Empalirizo kisonjolwa nga kusika okuvaamu essikrizo n’ensikirizo

Empalirizo kisonjolwa nga okusindika n’okunyooleza


OKuva kwonna kwa mpalirizo

Okuseetuka kuva ku mpalirizo

Okutambula kuva ku mpalirizo


Okuva kwonna kwa mpalirizo

Empalirizo ebeera mbeera ewaliririza

Awatali mpalirizo tewaba kuseetuka yadde okuva mu kifo


Okuva kwonna kwa mpalirizo

Empalirizo zisibuka mu Masoboza

Awatali masoboza tewaba mpalirizo


Okuva kwonna kwa mpalirizo

Ekitambuzo nakyo kyetaaga empalirizo

Empalirizo etambuza ebitundu by’ensengekera ng’ennyanguyirizi


Okuva kwonna kwetaaga empalirizo

Empalirizo z’obutonde zirimu ebika

Waliwo essikirizo nga essikirizo ly’enjuba n’essikirizo ly’ensi


Okuva kwonna kwetaaga empalirizo

Empalirizo z’obutonde zirimu ebika

Waliwo ekikuubagano, ekinyigirizo, n’ekikkatiro


Okuva kwonna kwetaaga empalirizo ng’ensikrizo

Ensikirizo eringa essikirizo naye ensikirizo teriba ssikirizo

Ensikrizo ziba za magineeti ate essikirizo ziba za seng’endo ng’enjuba ne enkulungo



8.Ekitontome ekirala eky’Empalirizo


Empalirizo Empalirizo

Sindika osike

Naye nga oyita mu kikuubagano

Okuseetula ebintu

Olina kukozesa mpalirizo



Empalirizo ,empalirizo

Tezewalika , ze zijja ebintu mu kifo

Okutebentesa

Empalirizo ze zitambuza ennyanguyirizi


Empalirizo Empalirizo

Ebidduka bizikozesa okutambula

Emotoka etambula lwa mpalirizo

Ennyonyi edduka lwa mpalirizo

Ekizungirizi n’ennyonyi bibuuka lwa mpalirizo



Empalirizo Empalirizo

Endogoyi nayo ekozesa mpalirizo

Ensolo okutambula yetaaga empalirizo

Awatali mpalirizo yonna

Tuba tusigala mu kifo kimu

Awatali mpalirizo tewali kukola



II.Ebitontome by’Ekibalangulo(the Poems of mathematics)


1.Ekitontome ky’Ekibalangulo


Kino kibalangulo ! Kino Kibalangulo

Ekibalangulo kiba kibalo

Ekibalo kuba kubala


Ekibalangulo kyogeza kubaza

Okubaza kuba kubalanguza

Okubalanguza kuba kubalangula


Kakensa w’essomabuzimbe Physics aba munnassomabuzimbe

Ow’essomabutonde Physics aba munnassomabutonde

Ow'Essomabuziba Chemistry aba Munnassomabuziba

Kyokka kakensa w’ekibalangulo aba Mubalanguzi


Ekibalangulo Sessomo Discipline eggazi

Ekibalangulo kirimu amasomo ag’enjawulo

Wamma ddala ekibalangulo kigazi ddala!


Ekibalangulo kitandika na mugereeso gwa Nnamba

Number theory

Muno mulimu okulambika ebika by’ennamba eby’enjawulo


Ekibalangulo kisimbira mu misingi gy’ennamba

Number bases

Emisingi gy’ennamba mu bumbi giba misimba


Ekibalangulo kirimu emigereko

Math Sets

Emigereko gigereka ebintu mu mirengo


Ekibalangulo kirimu emigerageranyo

Mathematical ratios

Emigerageranyo giba miwendo egyegerageranya


Ekibalangulo kirimu emigendaganyo

Mathematical proportions

Emigerageranyo ebiri egyenkanankana gikola emigendaganyo


Ekibalangulo kirmu emikwanaganyo

Mathematical relations

Omukwagaganyo gukwanaganya emisengeko gy’emigogo emisengeke


Ekibalangulo kirimu emitundu oba emikutule

Fractions

Omutundu guba muwendo ogusalemu ebitundu oba omukutulemu


Ekibalangulo kibalo kya mitonnyeze

Decimal numbers

Kubanga zinno namba ezirimu akatonnyeze


Ekibalangulo kibalo kya Nakyenkanya njuyi ne nakyekubira

Equations and ineqailties

Kubanga gyenkanya enjuyi oba okwekubira


Ekibalangulo kibalo kya Kigobansonga

Ng’eno eba variation

Kubanga kino kibalo kya ggobansonga


Ekibalangulo kibazamukisa, ekibalo ky'Omukisa

Eno nga probability

Anti ababalanguzi n’omukisa bagubaza.


Ekibalangulo kibalo ekibaza Obuufu

Mathematical Locus

Anti Kibaza obuyitiro


Ekibalangulo kirimu kalonda ne kalondomusengeke

Data and statistics

Anti kibaza kalonda ne kalondomusengeke



2.Ekitontome ku Omugereeso gw’ennamba(The Poem on number theory)


FFe tuli embaata ento tuyigabuyizi kubala tubala nga tuddamu

Emu bbiri satu nnya…..okweyongerayo mu entakoma

Oba esooka , eyokubiri , eyokusatu …okweyongeryo mu entakoma


Tutandika na Mugereeso gwa namba Number Theory

Lino Ssomo erigereesa ku namba numbers

Ligereesa ku nambiso Numerals


Mulimu ennamba eza kibazo

Cardinal numbers

Zino ziba ennamba ezibala era zitandika n’emu


Ennamba ezibala

Counting numbers

Zino nazo zitandika n’emu okweyongerayo mu entakoma


Ennamba ez’ensibo

Natural numbers

Zino zzo zibaddewo era ziribaawo


Ennamba ez’endagakifo

Ordenal numbers

Zino ziraga bifo , ekisooka, eky’okubiri ..n'okweyonerayo mu entakoma


Ennamba eza ndagalinnya

Nominal numbers

Zino ziraga kifo kya linnya


Ennamba eza kigaanira

Odd numbers

Zino ziba n’enfikko


Ennamba eza kyegabanya

Even numbers

Zino zegabanya obutaleka nfikko


Ennmba eza kyebiriga

Square numbers

Zino ziva mu kwebiriga namba


Ennamba eza kyesatuza

Cube numbers

Zino ziva mu kwesatuza namba


Enamba enzibuwavu

Complex numbers

Zino ziba nzibuwavu


Ennamba enzijuvu

Whole numbers

Zino teziba za mikutule teziba za mitundu yadde emitonnyeze


Enamba ez’emikutule

Gini mitundu

Emiwendo egy’ebitundu


Ennamba ez’emitonnyeze

Decimal numbers

Gino giba n’akatonnyeze


Ennamba ez’omugerageranyo

Rational numbers

Zino zikola emikutule


Ennamba ezitali za mugerageranyo

Irrational numbers

Tezikula mukutule


Waliwo kibalirampuyibbiri

Zino ziba yintegya

Zino zibalira mpuyibbiri


3.Ekitontome ku Essomampimo(the Poem on Geometry)


Lino ssomampimo study of dimensions

Era ssomankula study of shapes

Ssomo lya mpimo Ssomo lya nkula


Enkula ey’ekibalangulo eba

Eba Mpimo emu one dimensional oba

Oba Mpimobbiri two dimensional

Oba mpimosatu three dimensional


Essomampimo era ssomankula

Nkula ez’ekitendero plane figures

Ziba nkula za museetwe flat shapes


Essomampimo era ssomankula

Enkula ey’enkalubo solid figures

N’enkula ez’ekibangirizo space figures


Waliwo n’enkula ennetoloovu

Era eyitibwa entoloovu

Eno nkula ya kitendero eyitibwa Circle


Waliwo kyesimba

Olungereza rectangle

Eno nayo ya kitendero


Waliwo kyebiriga

Olungereza square

Eno era kyesimba


Waliwo mpuyisatu oba mawetasatu

Olungereza trigony oba triangle

Eno erina enjuyi Satu


Waliwo mpuyinnya

Olungereza quadrilateral

Eno erina enjuyi nnya


Waliwo ekigulumiro prism

Ekitali kitendero

Kino kiba kigulumivu


Waliwo enkunu oba enkinu

Olungereza cylinder

Eno eba nkula ya lusoggo oba ya kasoggo


4.Ekitontome ku Mpiyinnyingi

     (the Poem on Polygons) 


Mpuyinnyingi Mpuyinnyingi Polygons Polygons Zino nkula ezirina empuyi ennyingi


Waliwo mpuyisatu

Erina enjuyisatu

Eno nayo mpuyinnyingi


Mpuyinnya

Olungereza quadrilatrela

Eno erina enpuyinnya four sides


Mpetonnya

Olungereza Qaudrilalteral

Erina empeto nnya Four angles


Mpuyittano


Olungereza pentagon

Eno ya mpuyi ttaano


Waliwo mpuyimukaaka

Olungereza hexagon

Erina empuyi mukaaga


Waliw mpuyimusanvu

Olungereza heptagon

Erina empuyi musanvu


Waliwo mpuyimunaana

Olungereza octagon

Eno erina empuyi munaana


Waliwo mpuyimwenda

Olungereza nonagon

Eno erina empuyi mwenda


Waliwo ne mpuyikumi

Olungereza decadon

Erina empuyikumi


6.Ekitontome ku Mpuyinnya

   (the Poem on Quadrilaterals) 


Zino mpuyinnya

Eza nakyenkana

N’ezitali za nakyenkana


Waliwo kyesimba

Olungereza rectangle

Erina enjuyinnya ku peto etryesimbu


Eno kyebiriga naye nga kyesimba

Olungereza square

Erina enjuyi ezenkanankana nnya


Waliwo kyegendaganya

Olungereza parallerogram

Erina emigogogo ky’emisittale ebiri egigendagana


Waliwo kyebiriggula

Olugereza rhombus

Erina emigogo gy’emisittale ebiri egigendasgana n’enjuyinnya nga zenkanankana



Ekitontome ky’Enjuba

    (The Poem of the Sun) 


Nze Senkulungo, ndi Munyenye era nze Njuba

Mu bwengula ndi butabalika

Enkulungo zange ziseyeeya okunetoloola

Mu kyebulungulo kyange eky’essikirizo

Obwo bwebuyitiro bwazo


Nze Senkulungo, ndi Munyeenye nze Njuba

Enjuba eziri ewala ennyo ezimunyeenya

Z’emmunyeenye naye nazo njuba

Okumunyeenya kwaffe kuva ku kwewetamu kwa kitangaala

Nga kiva mu birungo bya ggaasi eziri wabweru wa bbulangiti ya nampewo

Okuyingira mu birungo by’empewo eziri mu bbulangiti ya nampewo


Weetegereze:

Enjuba y’emmuneyenye eyaka mu makakati w’ensengekera y\enjuba yaffe. Enkulungo zonna ziseyeeya okwetoloola Senkulungo eno, enjuba obwaguuga. Enjuba ekubisaamu enzitoya y’ensi emirundi egisukka mu kikumi ate nga okusinga erimu ayidologyeni ne keriyamu.

Amasoboza g’Ensi agasinga obungi gava mu Njuba Muwanga era y’esobozesa obulamu bwonna okubaawo.Yadde nga olugendo okuva ku Njuba Muwanga okutuuka ku Nsi lusnziira ku buyitiro bw’’Ensi, omugeranyo gw’olugendo guli nga obukadde bwa mairo kyenda mu busatu pna obukadde bwa kiromiita nga kikumi mw’ataano. Kitwala eddakiika munaana n’obusikonda kumi na mwenda ekitangaala ekiva kun juba okutuuka ku Nsi.

Kigambibwa nti amasoboza g’enjuba Muwanga geyongera ebitundu 10% buli luvannyuma lw’emyaka akawumbi kamu era singa kino kigenda mu maaso mu myaka akawumbi kamu ku Nsi kujja kuba tekukyali mazzi gakulukuta kuba gajja kuba gafumuuse, eno y’ejja okuba enkomerero y’obulamu.

Bannasayansi bagamba nti enjuba muwanga erina emyaka nga obuwumbi 4.5 era ejja kugenda mu maaso okwaka emyaka emirala obuwumbi butaano olwo efuuke omulangaatira gw’emunyenye omumyufu ezimbulukuke emirundi abiri mw’etaano okusnga obunene bwayo kati. Kirabika omulangaatira gw;emmunyenye guno gugenda kumira Ensi n’enkulungo endala zonna.

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Jane Nabulindo KwobaBakitiiriyaSea of AzovAmaanyiObulwadde bw’ekiwangaEmirandira gy'enambaOKUMEZESA ENDOKWA Z'EMITI N'OKUZIRABIRIRASheebah KarungiNapooleon BonapatPeruAlubbaati AnsitayiniEbirwaza(Diseases)Ingrid TurinaweCatherine BamugemereireCentral African RepublicEkirwadde kya CholeraKamuswagaBulungibwansiKassandaBamunanikaKasawoEnnima ey'obutondeWansekoEgyptOmutwe ogulumira oludda olumuEquatorial GuineaHo Chi Minh CityNigerNakasigirwaMaria MusokeEkirwadde ky’ebolaAlgeriaObuwakatirwaKalagalaAlex MukuluGuineaOmuti omuzimba ndegeyaNambiso ne Namba (Numerals and numbers)ENNAKU MU SSABIITIChadLowila CD OketayotEnsigoWikipediaEnkokoEby'obutondeKibingoStephen KissaPrince Wasajja KiwanukaEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?EkipulukoHellen LukomaJesu KristoAmakumi abiri mu mukaagaCuritibaMichael EzraOlukoongoEkitookeEbinanuuko(things that are elastic)Joyce Kakuramatsi Kikafunda🡆 More