Emmere Y’ente N’enkoko Gyetabulire

==EMMERE Y’ENTE N’ENKOKO GYETABULIRE==’’’’’’ Mu kaco kano, waliwo amakampuni maangi mu Yuganda agatabula emmere .

Wabula ate, abalunzi b’enkoko n’abebisolo baangi basazewo okwetabulira emmere . Kino kivudde ku nsinga zino wa mmanga. Omulunzi bweyetabulira emmere , asobola okukozesa ebimu ku bintu byeyerimira ekintu ekimuyamba ennyo okukendeeza ku bbeyi y’emmere . Buli muntu wa ddembe okwekolera kyayagala kasita kiba mu nti talina gw’alumya. Kino kiba kitegeeza ni oli ayagala okwetabulira emmere ayambibwe akole bwatyo era no;oyo ayagala okukozesa emmere eva mu makolero naye bamuleke agule. Kyetaagisa okuteekawo enkola enesobozesanga abalunzi okuvuganyanga obiterevu n’abakozi bemmere. Emmere oli gyeyetabulidde ebeera ya nsimbi ntono era kisoboka okubeeramu ebirungo ebimala kasita oli atabula ebirungo byonna mu mmere nga bwekiba kirambikiddwa fomyula [fomula]. Eno y’emu ku ngeri esobola okukendeeza ku kwonooneka kwa kasooli n’ebintu ebirala ebivaamu emmere ereeta amaanyi, gamba nga lumonde, muwogo nebirala. Bino nno bamala kubikaza, era nga byebimu ku byonoonekera eyo mu byalo byaffe. N’olwensonga eno, abalunzi bo mu byalo basaanidde bayige okwetabulira emmere era balunde n’enkoko , embizzi, ssekkoko , embuzi embaata n’ente. Olwo mu kifo ky’okutunda kasooli , lumonde, muwogo, omuwemba n’ebirala ebiringa ebyo, ebyensimbi entono oli atunda magi, mata, nkoko, mbuzi nebirala. ‘’Obuzibu oli bwasanga ng’atabula emmere’’ Omulunzi okulemwa okwawula ebirungo eby’omutindo omulungi n’ebyo eby’omutindo ogwa wansi.Abalunzi bangi balemwa okugula ebirungo eby’omutindo owa waggulu nebakkozesa ebyo ebyomutindo ogwa wansi. Bangi balemwa okwawula kyakyu wa k saooli [maize bran] omulungi, ebyennyanja ebirungi, soya omulungi nebirala, nebagula ebyo bye baba basanze era ekiva mu kino kwe kutabula emmere ey’omutindo ogwa wansi. Bulijo sooka nga kwekeneenya birungo by’’ogenda okukozesa.N’olwensonga eno, osaanidde omanye ebirungo eby’omutindo omulungi bwebifanana. ‘‘’ Ebirungo ebyetaagisa mu kutabula emmere’’’ Ebirungo ebyeaagibwa mu kutabula emmere bizingiramu bino. ‘’ Ebiungo ebivaamu emmere ereeta amaanyi’’ Bino bizingiramu kasooli, omuwemba, obulo, omuceere, engaano, kyakyu wa kasooli, kyakyu w’omuceere, kyakyu w’engaano, muwogo omuse nebirala,Wabula, omulunzi asaanidde amanye omutindo gwa buli kirungo naddala ogwo ogwa kyakyu. Ekyokulabirakokye kya kyakyu wa kasooli. Ono alimu ebika bina oba n’okusingawo. Waliwo oyo kyakyu omulungi nnamba emu, kyakyu wa kasooli nnamba emu n’ekitundu, kyakyu wa kasooli nnamba bbri ne kyakyu wa kasooli addugala. ‘’Ebirungo bivaamu emmere ezimba omubiri’’ Bino bizingiramu ebirungo ebiva mu bimera nebyo ebiva mu nsolo. ‘’ Ebirungo ebivaamu emmere ezimba omubiri nga biva mu nsolo’’ Bino bizingiramu ebyennyanja ebise, n’omusaayi omuse. Ebyennyanja ebise kye kirungo ekiva mu nsolo ekisinga okweyambisibwa mu kutabula emmere . Wabula ebyembi, waliwo abasubuzi bangi bakirimululu abongeraomusenyu, amayinja, ebikamulo by’ensigo za pamba n’ebintu ebirala ebyennyanja bisobole okuzitowa. Kino kikendeeza ku mutindo gw’ebyennyanja . Ate mu musaayi, kyo kibi nnyo kubaabasubuzi ba kirimululu bongeramu evvu eriddugavu eriva mu mipiira gy’emotoka egyokeddwa oba olumu okwongeramu olusenyente lw’amandaebitundu ataano ku buli kkumi. So ate era engeri gyebalongoosamu omusaayi guno, tesobola utta buwuka bwonna obugubeeramu ekiyinza okuba ekyobulabe eri omulunzi awamu n’ensolo n’enkokoze. ‘’ Ebirungo ebivaamu emmere ezimba omubiri nga biva mu bimera’’ Bino bizingiramu ensigo eziri mu luse lw’ebijanjaalo gamba nga soya, enkolimbo, empindi, Ddengu, nebirala, era n’ebkamulo ebiva mu makolero ga buto gamba nga ebikamulo by’ensigo za pamaba. Ensigo zona eziri mu lusebijanjaalo kisanidde zisoke ku siikbwako era oli azise nga tezineyambisbwa mu kutabula mmere ya bisolo. Wabula, waliwo ebika by’ebikamulo by’ensigo za pamba n’ebyensigo z’ekitungotungo by’emirundi ebiri kwekugambaebyo ebikamulo ebikolweddwa ng’ensigo zimwereddwako obuwuziwuzi oba ebikuta [decorticated seed cake] n’ebyo ebikoleddwa ng’ensigo tezimwereddwako buwuzuwuzi [ undercorted seed cakes]. Ebikamulo by’ensigo za pamba ebimwereddwako obuwuziwuzi [decorticated cotton seed cake] n’ebikamulo by’ensigo z’ekitungotungo ezigiddwako ebikuta [decorted sunflower seed cake], zezisaanidde okweyambisibwa ng’oli atabula emmere y’enkoko, embizzi, n’eye’ensolo ento ezizza obwe’nkulumu. ‘’ Ebirngo ebivaamu emminnyo’’ Ebirungo ebivaamu emminnyo bizingiramu obusonko, amagumba amase, omunnyo ogwabulijo, omunnyo omukole, ettaka erya kikunsi, evvu, n’ebintu ebirala. Wabula ebyembi, abasubuzi bakirimululu bongeramu amazzi, omusenyu mu busonko era nebongera n’olufufugge lwa mayinja ge muyenga mu magumba amase, mbu bizitowe. Kino kibivirako ebintu bino okuba eby’omutindo ogwawansi. ‘’ Ebirungo ebivaamu emmere ereeta obulamu [Vitamin]’’ Bino bizngiramu ebirungo bya vitamin n’emminnyo [ vitamin and mineral premixes]. Omulunzi asaanidde akozese ekika kyebirungo bya vitamin ebituufu ku buli kika kya nnyonyi oba nsolo. ‘’ Engattirizo [additives]’’ Olumu mu mmere mwongerwamu e bintu ebirala kisobozese, omutindo gw’emmere okweyongerako. Ebintu bino bye bayita engattirizo era bizingiramu nga bino , amino aside, [anno acids] gamba nga layisini [Lysine], metonayini [methonine], era n’birungo ebitabuddwa awamu gamba magiki puloteyini [magic proten],kwolite puloteyini [ quality protein] nebirala. ‘’ Ebntu ebirala ebirowoozebwako oli by’asanidde okulowoozaako ng’attabula emmere’’ Ebirungo byonna oli ateekwa okusooka okubikunguunta nga yeyambisa akatimba akakunguunta omusenyu kimuyambe okujjamu ebisaaniiko, emisumaali, obusanikira bwa soda, enseke, za soda, obuveera n’ebyuuma, n’ebintu ebirala. Emmere etabuddwa esaanidde ebe ngetuukaana n’ebigero [standard] ebyatekebwawo abakugu. Ba offisa okuva mu minisitule kino bajja kukikunnyonyolako nnyo. ‘’ Ensonga endala ezikwata ku ndiisa y’ensolo’’ Ekimu ku kyetaago ky’ente ekamwa ekikulu ennyo, kye ky’okuba nti ente ey’engeri eno eba yetaaga okuba nti ezaawo emmnnyo egyenjawulo mu mubiri gwayo kuba emminnyo egyengei eno, gyeyambisibwa mu kukola amata negigendera mu mata bwekamibwa. N’olwensonga eno, ente ez’amata ziweebwa bulooka y’omunnyo nezikombereza buli wezibeera zaagalira. Bulooka z’omunnyo guno za bbeyi nene era kino kiba kyetaagisa abalunzi okutandika okuzekolera. Wabula n’omutindo ogwo ogwatekebwawo ekitongole ky’abasawo b’ebisolo. ‘’’ Fomyula ezeyambisibwa nga batabula emmere’’’ ‘’ Emmere y’enkoko enzungu nga ntabulire ddala’’ Ebyetaagisibwa ye kyakyuwa kasooli omulungi atabula emmere y’obukoko n’obubaata obuto ziba kilo 100,mu mmere y’ebutulazi kilo 100, mu mmere y’enkoko ezibika kilo 100, mu mmere y’enkoko ezennyama kwezitandikira kilo 100, mu mmere yen oko ez’ennyama ezikomekeleza kilo 100. Ebyennyanja ebise mu mmere y’obukoko n’obubaata obuto kilo 14, mu mmere y’ebitulazi kilo 12, mu mmere y’enkoko ezibika kilo 14, mu mmere y’enkokp ezennyama kwezitandikra kilo 30, mu mmere y’enkoko ez’ennyama ezikomekereza kilo 20. Ebikamulo by’ensigo za pamba mu mmere y’enkoko ento n’obubaata obuto kilo 14, mu mmere y’eebitulazi kilo 12, mu mmere y’enkoko ezibika kilo 20, mu mmere y’enkoko ezennyama kwezitandikira kilo 30, mu mmere y’enkoko ezennyama ezikomekeeza kilo 25. Ebikamulo by’ensigo z’ekitungotungo mu mmere y’obukoko obuto n’embaata ento kilo 14, mu mmere y’ebitulazi kilo 12, mu mmere y’enkoko zibika kilo 20, mu mmere y’enkoko ezennyam ento kilo 30, mu mmere y’enkoko ez’ennyama ezikomekereza kilo 25. Amagumba amase mu mmere y’obukoko obuto ne’embaata ento kilo 4, mu mmere y’ebitulazi kilo 4, mu mmere y’enkoko ezibika mwo toteekamu, mu mmere y’enkoko ez’ennyam ento kilo 12era newezikomekereza kilo 12. Obusonko obuse mu mmere yenkoko ento n’embaata kilo4, mu mmere y’ebitulazi kilo 4 , mu mmere y’enkoko ezibika kilo 12, mu mmere y’enkoko eze’nnyma zona toteekamu. Omunnyo ogwa kikunsi mu mmere ya buli mutendeera wona tekamu kilo 1, Ebirungo bya vitamin [premix] mu mmere ya buli mutendera tekamu ¾ ebya kilo okujako mu mmere y’enkoko ze’nnyama ezikomekereza teekamu kilo 1. ‘’ Emmere y’ente ez’amata’’ Ebyetaagisa mulimu kyakyu wa kasooli kilogulamu 70 mu mmere y’ente ezikamibwa ate era kilo 70 mu mmere y’obuyana. Ebyennyanja ebise mu mmere y’ente ezikamibwa toteekamu, ate mu mmere y’obuyana kilo 5. Ebikamulo by’ensigo za pamaba mu mmere y’ente ezikamibwa kilo 15, ate mummere y’obuyana kilo 13. Ebikamulo by’ekitungotungo mu mmere y’ente ezikamwa kilo 10 ate mu mmere y’obuyana kilo 7. Amagumba amase mu mmere y’ente ezikamibwa kilo2 ½ ate mu mmere y’obuyana era kilo2 ½ . Omunnyo omukole[ mineral salt powder] mu mmere y’ente ezamata kilo 2 ne mummee y’obuyana kilo 2. Ebirungo bya Vitamini [vitamin premix] mu mmere y’ente zamata ½ kilo ne mu mmere y’ennyana nayo ½ kilo. Ebisingawo webuuze okuva eri omusawo w’ebisolo.

Joyce Nanjobe Kawooya

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Luyiika (liter)BulindoFlavia TumusiimeNzikiriza ey'eNiceaSeychellesObulwadde bw 'ensusuTito OkelloEbifa ku ‘amazzi mu byalo mu’ enkulaakulana eya namaddalaFinilandiAbantuBuyonaaniEnergyEYAABWENicholas County, KentuckyPatience Nkunda KinshabaOmujaajaNzikiriza y'AbatumeBubirigiCaayiKatumba WamalaOkubeera olubutoKagadiWolfe County, KentuckyOkusumululwa okw'Omwoyo(Deliverance)EnnambaOlukusenseEbyobuwangwa (Culture)Seziyaamu (Cesium)Milton OboteMexicoIvory CoastMityana (disitulikit)Whitfield County, GeorgiaEnsiMoroccoKenyaMadagascarEnsibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?BrusselsOlupapula OlusookaEnjobeSamuel Wako WambuziMaliEkipulukoZzaabuKkanisa ya Yeso EyannamaddalaZimbabweChadOkukola obulimiro obutonoJessamine County, KentuckyBukakkataMalawiGhanaLulyansoloHo Chi Minh CityNsanyukira ekigambo kino lyricsOkulya emyunguOlukalala lw'abayimbi abakyala mu UgandaJane KiggunduEddagala eriyitibwa EkigajiMozambique🡆 More