Davinia Esther Anyakun

  Davinia Esther Anyakun (yazaalibwa nga 19 Ogwokuna 1976) mukyala Munnayuganda,munnabyabufuzi.

Abadde Omubaka wa Paalamenti omukyala owa Disitulikiti y'e Nakapiripirit okuva mu 2016. Mmemba w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement, ekibiina ekikulemberwa Yoweri Museveni, Pulezidenti wa Uganda.

Obuto bwe n'emisomo gye

Anyakun yazalibwa nga 19 Ogwokuna 1976 muDisitulikiti y'e Nakapiripirit mu tundutundu lye Karamoja. yatandiika emisomo gye egya Pulayimale ku Nkoyoyo boarding primary era n'atuula ebigezo bye ebya Primary Leaving Examinations mu 1991. Oluvanyuma yegatta ku Kangole Senior Secondary School natuula ebigezo bye ebya Uganda Certificate of Education mu 1995. Oluvanyuma yatuula ebigezo bye ebya Uganda Advanced Certificate of Education mu 1999 okuva ku Mbale secondary school. Mu 2002 yatikkirwa Dipuloma eya diploma in social work and social administration okuva mu Ttendekero lya Makerere Institute for Social Development. Esther Anyukan yayongerayo emisomo gye era mu 2009 yatikkirwa Dipulooma mu byobulamu eya diploma in health administration okuva ku Yunivasite ya Uganda Christian University era nayongerako Diguli esooka eya procurement and logistics okuva ku Yunivasite ya Nkumba University mu 2009.

Emirimu gye egyasooka

Anyukan emirimu gye emitongole yagitandikira mu Ddwaliro lya Amudat mu 2004 ng'addukanya eddwaliro lino nga kino yakikola okutuusa mu 2010. Mu 2010 yegatta ku kitongole kya International Organization for Migration ng'omuddukanya wa Pulojekiti eno. Mu 2013 yakola n'ebitongole omuliAgricultural Cooperative Development International/Volunteers in Overseas Cooperative Assistance ne United States Agency for International Development okutuusa mu 2015. Mu 2016 yalondebwa ng'omubaka mu Paalamenti ya Uganda owa Disitulikiti y'e Nakapiripit.

Emirimu gye nga munnabyabufuzi

Anyakun ye Mmemba omukyala mu Paalamenti owa Disitulikiti y'e Nakapiripiriti. Yayingira Paalamenti ya Uganda mu Gwokutaano 2016 ng'ayavuganyiza ku kaadi y'ekibiina kya National Resistance Movement. Mu Paalamenti yaweerezaako ku kakiiko k'ebyensimbi z'abakozi ba Gavumenti ne ku kakiiko k'ensonga z'ebweru.

Era mmemba mu kibiina ky'abakyala mu Paalamenti ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).

Ebimukwato eby'omunda

Muwalawe Challa Elma Kapel, yawangula empaka z'obwannalulungi ow'ebyobulambuzi owa Uganda mu 2017.

Ebijuliziddwamu

Tags:

Davinia Esther Anyakun Obuto bwe nemisomo gyeDavinia Esther Anyakun Emirimu gye egyasookaDavinia Esther Anyakun Emirimu gye nga munnabyabufuziDavinia Esther Anyakun Ebimukwato ebyomundaDavinia Esther Anyakun EbijuliziddwamuDavinia Esther Anyakunen:Member of parliamenten:Nakapiripirit Districten:National Resistance Movementen:President of Ugandaen:Ugandaen:Yoweri Museveni

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Kkumi na mwendaEssomanjatulaMr LengsFaith MwondhaSsatuEkkajjolyenjovuNovorossiyskDavid WoodardNigeriaOsakaEryokanga n’etonyaAmasannyalazeNzikiriza y'AbatumeEtheldreda Nakimuli-MpunguKaggoLusanvuSaratovOlunyarwandaOkulumwa omutweShelby County, TexasVladimir PutinRadio MuhaburaEkitangaalaArua (disitulikit)Akina Maama wa AfrikaFranc KamugyishaAndorraBuwendaTanzaniaSomervell County, TexasAmambuluggaSão Tomé and PríncipeKabwoyaKkanisa ya Yeso EyannamaddalaRonald MusagalaBbuulweKrakówWinnie ByanyimaKabaka wa BugandaKkalwe (Iron)KololiiniRigaMuwenda Mutebi II, Kabaka wa BugandaUfaPrincess Elizabeth of TooroEkigeranyabuddeNamibiaNsanyukira ekigambo kino lyricsAkafuba bulwaddeOkweralikirira ennyoMariam NaigagaWinnie KiizaEkiyondoBelarusBotswanaNooweTom HollandOmutubaObubulwaEnuuni ezimbye🡆 More