Cherif Al-Hassane Aidara

Cherif Al-Hassane Aidara (yazalibwa mu 1917 mu Timbedra Mauritaniya: Naafa mu mwezi gwa ntenvu omwaka 2011 mu Darou Hidjiratou, Senegal.) yalimu omusaayi omumauritaniya nomusenegal era nga mukulembeze mu diini lya Shi'i nga we Tinjaniya Tariqa.

Cherif Al-Hassane Aidara yava mu nsi ya Mauritaniya nagenda mu Senegal mu nkomekerero yemyaka gyomu 1930.

Bweyatuuka mu Senegal, yayanirizibwa Thierno Siirajaddine Mohamed Said Ba owe Medina Gounass nomukulu wessaza Seydou Diao oluvanyuma nawasa Maimouna Diao muwala womukulembeze we ssaza.

Yabera mu mukyalo kye ekiyitibwa Darou Hidjiratou nga yazikibwa mu mwezi gwa ntenvu (omwezi gwekumi nebiri) 2011.

Omuzikiti omunene oguyitibwa Al Hassanayni (ekitegeza 'Ba Hassan ba biri') ogwa Hidjiratou gwazimbibwa ekitongole kya Mozdahir International Institute (IMI) ng'omukulembeze ye Cherif Mohamed Aly Aidara. Omuzikiti guno gwazimbibwa mu kitibwa kya Cherif Al-Hassane Aidara ne jajawe Imam Al-Hassane Al Mojtaba Ibn Ali, omuzukulu wa Nabbi Muhammad omuzukulu nakabirye wa Twelve Imams mu Twelver Shiism.

Abengaandaze

Cherif Al-Hassane Aidara taata wa Cherif Mohamed Aly Aidara omukubakulembeze mu diini lya Shi'i era eyatandikawo ekitongole kyobwananyini ekiyitibwa Mozdahir International Institute (IMI). Cherif Al-Hassane Aidara era tata wa Cherif Habib Aidara omukulembeze wekibuga Bonconto Commune.

References

Tags:

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Manjeri KyebakutikaMichael Lulume BayiggaMr LengsAnnet Katusiime MugishaAfirikaSouth SudanButurukiVilniusRachael MagoolaPeace MutuuzoMooskoKirinnyaMediterranean SeaEbyobuwangwa (Culture)Sea of AzovMichael EzraKenyaNakongezakikolwaObunnafu mu mubiriEkisinziiro (Hypothesis)OBWAVU N’OKUNONNYEREZA KU BIBUFAAKO MU BYALO MU’ ENKULAAKULANA EYA NAMADDALAEnnima ey'obutondeOmuwendo ogwenkomeredde(Absolute value)Central African RepublicJohn Chrysestom MuyingoKitagataEbikolwaLungerezaEssomabuzaaleBugandaLugandaLutikko ya NamirembeIrene MuloniBaltic SeaEDAGALA LY'AMANNYI G'EKISAJJA ERYEKINANSIShamim MalendeEkigaji ddagalaPhiona MutesiNooweBotswanaWinnie KiizaAmaanyi g’Enjuba🡆 More