Amateeka Agafuga Empandiika Y'oluganda

Empandiika y'Oluganda gye tugoberera yabagibwa mu mwaka gwa 1947.

AMATEEKA AGAFUGA EMPANDIIKA Y'OLUGANDA ENTONGOLE

Empandiika eno erimu amateeka agawerako. Mu kiwandiiko kino tugenda kwogera ku mateeka ana.

  1. Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta ennene
  2. Etteeka erifuga ennukuta empeerezi
  3. Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta R ne L
  4. Ennukuta J ne GY

Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta ennene

Tukozesa ennukuta ennene mu ngeri zino wammanga: 1. Tukozesa ennukuta ennene ku ntandikwa ya sentensi okugeza;

  • Omwana akaaba
  • Enkuba yatonnye n’endala

2.Tukozesa ennukuta ennene ku ntandikwa y’erinnya ery’enkalakkalira okugeza:

  • Namuli
  • Mutebi
  • Kato n’amalala

3.Tukozesa ennukuta ennene singa tuba tuwandiika emitwe emikulu okugeza;

  • OKUBUMBA MU BUGANDA
  • AGAFA E MAKERERE n’emirala.

4.Tukozesa ennukuta ennene singa mu sentensi mubaamu ekigambo eky’olulimi olulala nga tekyagandawazibwa okugeza;

  • Leeta MACHINE eyo
  • Ani abbye CALCULATOR yange?

5.Tukozesa era ennukuta ennene singa mu sentensi mubaamu ekigambo ekyetaaga okussaako essira okugeza:

  • Mu kusoma, EMPISA kintu kikulu nnyo
  • Ongulirayo essaati ENJERU bbiri.

Etteeka erifuga ennukuta empeerezi

Ennukuta empeerezi ezitafaanagana teziddiring'ana mu kigambo.

  • Empeerezi eza nnabansasaana tezitandika era tezikomekkereza kigambo kya Luganda.
  • Empeerezi zino “i” ne “u” tezitandika bigambo bya Luganda.
  • Empeerezi A, E ne O ze zitandika ebigambo by’Oluganda ebitandisa empeerezi.
  • Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta R ne L
  • Tukozesa tutya ennukuta R?
  • Ennukuta R tetandika kigambo kyonna kya Luganda.
  • Empeerezi ebiri nga tezifanagana teziwandikibwa wamu mukigambo ekyo luganda.

Tukozesa ennukuta R singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “i” okugeza;

  • Okusirika
  • Okulira
  • Ebirime
  • Emirembe

Tukozesa ennukuta r singa era ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “e” okugeza;

  • Omupeera
  • Emmere
  • Emmeeri
  • Eriiso n’ebirala.

Tukozesa tutya ennukuta L?

Ennukuta L esobola okutandika ebigambo mu Luganda, okugeza:

  • Luti
  • Lutono
  • Lwasama n’ebirala.

Tukozesa ennukuta eno singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “a” okugeza:

  • Okubala
  • Ekibala

Tuwandiika ennukuta eno singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “o’ okugeza:

  • Omugole
  • Okusola
  • Okukola

Ennukuta L ewandiikibwa singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “u”, okugeza:

  • Okusuula
  • Okukula
  • Okufuula

Ennukukta zombi R ne L teziwandiikibwa za nnabansasaana mu kigambo, okugeza:

Lleeta oba Wulirra.

Ennukuta J ne GY

Ennukuta zino zitabula bangi mu kuwandiika Oluganda. Mu njogera ziwulikika nga ze zimu naye mu mpandiika y’Oluganda zaawukanira ddala era tulina engeri bbiri mwe tuyinza okuzaawulira singa tuba nga tuzikozesezza.

1.Engeri esooka yeeno nti: ekigambo ekirimu amakulu g’ekikolwa okujja (to come), tukiwandiika na nnukuta eya J okugeza; i)Tujja mwattu ii)Munajja enkya iii)Temujjanga ewaffe

2.Ate ekigambo kyonna ekirimu amakulu g’okutwala oba okuggyamu ekintu oba abantu (to remove), tuwandiika nga tukozesa ennukuta GY (esobola okubeera ng'ekigambo mw'erabikira eggumira oba nedda), okugeza: i)Ggyamu engoye ii)Amatooke ago ng’ogaggyamu mu mmotoka weetegereze.

Wabula waliwo ebigambo nga bwe biba byogerwa omuntu awulira nga birimu “gy” ate ne biwandiikibwa n’ennukuta eya “g”, okugeza:

  • Eggi (egg)
  • Oluggi (door)

Tags:

Amateeka Agafuga Empandiika Y'oluganda AMATEEKA AGAFUGA EMPANDIIKA YOLUGANDA ENTONGOLEAmateeka Agafuga Empandiika Y'oluganda Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta enneneAmateeka Agafuga Empandiika Y'oluganda Etteeka erifuga ennukuta empeereziAmateeka Agafuga Empandiika Y'oluganda Tukozesa tutya ennukuta L?Amateeka Agafuga Empandiika Y'oluganda Ennukuta J ne GYAmateeka Agafuga Empandiika Y'oluganda

🔥 Trending searches on Wiki Luganda:

Amaaso agaleeta ebinyinyiSanyu Robinah MwerukaWheeler County, TexasBbayo GgaasiFinilandiEBYENYANJA OMUNTU YENNA OSOBOLEERA DALA OKUBILUNDIRA AWAKA NGA AKOZESEZA PIIPAEnnambaSarah Aguti NyangkoriOmuntuObulamu obusirikituGlanis ChangachirereNigeriaMonica MuseneroKaggoKotido (disitulikit)LiberiyaTogoSaratovBlack SeaFakikya (fact)AmasannyalazeEbitontome bya Charles Muwanga ebya SayansiEMMYEZIYisaaka NetoniTunisiaEssomampimo (Geometry)Ebika by'entababuvobwawamu (Types of Communities)KandidaShilla Omuriwe BuyungoEbirwaza(Diseases)EssomabiramuCentral African RepublicNnalubaaleBalubaale(the Departed Thinkers/Wisepersons of Buganda)Princess Elizabeth of TooroNakapiripirit (disitulikit)Kadimiyaamu(Cadmium)Ian WrightGirimaneEkigeranyabuddeAngolaKamunyeNational Resistance MovementNueces County, TexasAndorraAlgeriaAmazziBikumi binaNakongezalinnyaKkumi na bbiriOmutwe ogulumira oludda olumuEkipulukoPeruSeziyaamu (Cesium)NakasigirwaNovorossiyskBaskin-RobbinsKokolo27Olupapula OlusookaAmakumi ana mu ssatu🡆 More